TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Regional Tier Mmengo egiwa byoya bya nswa - Mayiga

Regional Tier Mmengo egiwa byoya bya nswa - Mayiga

Added 31st July 2014

Nga tukuza Amatikkira ga Ssaabasajja ag’omulundi ogwa 21, Katikkiro Charles Peter Mayiga alaze ensonga ttaano lwaki Mmengo yagaana okukkiriza enfuga eya ‘regional tier’ n’alambika Buganda ey’enkya bw’eneebeera mu mboozi ne Dickson Kulumba



Nga tukuza Amatikkira ga Ssaabasajja ag’omulundi ogwa 21, Katikkiro  Charles Peter Mayiga alaze ensonga ttaano lwaki Mmengo yagaana okukkiriza enfuga eya ‘regional tier’ n’alambika Buganda ey’enkya bw’eneebeera mu mboozi ne Dickson Kulumba

Kiki ky’ojjukira ku Matikkira ga Kabaka era lwaki ng’Obuganda tusaanye okugakuza?

Okukuza Amatikkira ga Kabaka kubeera kuggumiza nsonga egamba nti Buganda Bwakabaka era Kabaka kye kitikkiro kyabwo.

Mu bulamu obwa bulijjo tukuza emikolo egy’enjawulo naddala amazaalibwa, naffe tujjukira Amatikkira ng’akabonero k’okuzzibwawo kw’Obwakabaka bwa Buganda.

Bwe buno Obwakabaka bwe mwali mwagala okuddawo?

Obwakabaka bwe twali twagala tebunnaddawo kyokka obeerawo ne by’otandikirako. Olukiiko lwa Buganda lulina okukola emirimu gyalwo gye lulina okutuukiriza okuteeka ebiteeso ne bikola ku mbeera z’abantu. Olukiiko lw’Abataka nalwo lulina okukola egyalwo nga bwe kyabanga edda. Ate Obwakabaka bwandibadde bukola ku nsonga zaabwo ne tutalinda kukaabirira buyambi ku nsonga ez’enjawulo. Naye mu kulaba kwange wadde kiri bwe kityo tutambuddeko, buli kimu kizimbibwa mpolampola.

Kimaze okweyoleka oluvannyuma lw’emyaka kati egisusse 28 nti Buganda tejja kufuna nfuga ya Federo, kyokka enkola ya ‘Regional Tier’ mw’eri mu nnongoosereza ya Ssemateeka wa 2005. Lwaki Buganda tekkiriza n’esooka egenda n’enkola eno?

Buganda yeekengera enkola ya ‘Ligyoni ttiya’ mu nsonga ttaano; engeri Katikkiro gye yalambikibwa okulondebwamu ekontana n’ennono zaffe; obuyinza obuweebwa Pulezidenti mu Ssemateeka okweddiza ekitundu kyonna mu Uganda singa abeera alabyeyo obuzibu kibi nnyo.

Ensonga y’ettaka yali ekwatiddwa bubi ng’ettaka mu Buganda teriri mu mikono gyayo; tewaliiwo ngeri ya ssimba erambulula engeri gavumenti eno (eya ligyoni) mw’eyinza kuyita okufuna ensimbi ezigitambuza nga kino Abaganda bakiraba ng’abagenda okudda mu kusabiriza n’okukubanga amavi awantu (mu gavumenti eya wakati) okufunawo ssente. 

Ekirala mwalimu akawaayiro nga kalese Disitulikiti mu Buganda nga ziyita butereevu e Mmengo ne zigenda e Nakasero ( Gavumenti eya wakati). Ng’ate twali twagala Disitulikiti zonna mu Buganda zituuke e Mmengo aziyunge ku gavumenti eya wakati. Bwe weetegereza ng’okugaba obuyinza nga bino tobirina obeera na byoya bya nswa! 

Gavumenti ya wakati yakkiriza okusasula abakulembeze b’ensikirano  obukadde butaano buli mwezi ng’omusaala. Mmengo yagaana ssente zino okusasulwa Kabaka naye  mu kulaba kwo yandisasuddwa mmeka?

Ffe nga Buganda tetwetaaga musaala gulabibwa ng’okuyamba omukulembeze okugenda okugula ennyaanya mu katale. Kye twetaaga gwe mutemwa ogusobozesa gavumenti ya Kabaka okutambuza emirimu gyayo, okugeza okukola ku byobulamu, okulongoosa amasomero n’okutumbula ebyenjigiriza, ebyobulimi n’ebirala. 

Mu nnono yaffe, Kabaka talina musaala era mwe tuyinza okumulabirira y’Enkuluze. Eno buli kadde omutemwa gwayo tuguteekateeka era omwo Gavumenti bw’eba  mw’eteeka ssente, kitegeerekeka.

Mu South Afrika, balina enkola nnungi nti buli mwaka, Gavumenti ebeera n’omutemwa oguweebwa Obwakabaka bw’ebitundu ebyo ne buddukanya emirimu gyabwo kubanga ate mwe muva ensimbi ezigenda waggulu n’olwekyo enkola singa y’ekolebwa wano kibeera kirungi.  Gavumenti n’evaayo n’etegeeza nti mu bajeti yammwe ey’omwaka guno, mu byobulamu, tugenda kuteekamu ensimbi bwe ziti n’ebirala bwe bityo, ekyo kiba kirungi

Singa obukadde obutaano bw’aggyibwayo ne buteekebwa mu pulojekiti ez’okwekulaakulanya, Buganda yandibadde terina w’etambuddeko?

Obukadde obutaano buno tebulina kye bwandikoze, ate bwandikoze pulojekiti ki ddala okuggyako okugula ennyaanya mu katale?

Abantu abamu ennaku zino balina ekirowoozo nti Obwakabaka bwaffe bwandikutte ekkubo ng’erya Aga Khan, Obwakabaka bwe businga kubeera mu busuubuzi. Ggwe olowooza otya?

Enkola Aga Khan gy’atambuzaamu emirimu gye nnungi kubanga alina eby’okwekulaakulanya bingi. Alina kkampuni za yinsuwa, ez’amawulire n’endala. Wabula obutafaananako naffe, Buganda erina w’esangibwa ku maapu y’ensi yonna, ye Aga Khan ekikye eringa ddiini naye enkulaakulana gy’atuuseeko naffe tugirowoozaako.

Okubeera n’Obwakabaka obulina ebintu eby’enjawulo omuva ensimbi ezirabirira emirimu gyabwo nga kino singa kitukibwako, tubeera mu kwesiima kwa maanyi okusinga Aga Khan atalina kifo kyankalakalira nti buno bwe Bwakabaka bwe.

Bw’otunuulira entandikwa ya Aga Khan eva mu 1959, bwe yali e Tanzania eyo era bwe yali ku kabaga k’amazaalibwa ge ne basalawo okukung’aanya buli kyabugagga kyonna kye balina ne bakiteeka wamu, obukomo obwa zaabu n’ebirala era oluvannyuma  mwe mwava ensimbi ezikoze obugagga obwo bwonna bw’alina. Naffe  enkola ey’ettoffaali tusuubira ejja kutuyamba okuzimba Buganda okudda ku ntikko.

Abantu abamu balowooza nti Mmengo yateekamu obugayaavu: Buganda erina ettaka ddene naye terikozesebwa sso nga  twanditaddeko ffaamu , obukolero obutono n’obulimi obw’omulembe.Ggwe olowooza otya?

Ettaka Obwakabaka lye bulina, erisinga liriko abantu ate nno bwe bawulira mayiro 350 na lino ekyakazzibwa ne kirowoozebwa nti Obwakabaka bulina ettaka ddene naye nga si bwe kiri. Nkakasa nti ebyogeza abantu bwe batyo kwe kubeera nti baagala nnyo okulaba Buganda ekulaakulana wabula waliwo ebyetaaga okusookerwako era kaweefube aliwo ensangi zino kwe kuzzaawo ebyo ebirabika ebiragira ddala nti Buganda Bwakabaka, okugeza Amasiro, Embiri  n’ebirala.

Tekijja kukola makulu okulima obummonde ng’ate Kabaka asula mu Lubiri olulabika obubi, Amasiro nga gaggya, Bassekabaka bakubwa enkuba. Enkulaakulana tugiriko nnyo era ebiseera eby’omu maaso ebya Buganda bitangaavu, tujja kugguka we twagala.

Mu kulaba kwo biki mu kiseera kino ebifuula Obwakabaka bwa Buganda obw’omugaso eri abantu baabwo?

Okusooka Kabaka kitaffe w’ali era atufaako nga bwolaba nti amaka okuggumira nga taata mw’ali. Tulina Ebika era Kabaka ye Ssaabataka ekitegeza nti ennono yaffe eriko agirabirira. Emirimu mingi Obwakabaka bwe giwa abantu baabwo nga bw’otunuulira wano ku Bulange- abavubuka bangi baweereddwa emirimu. Ebyobulamu bifiiriiddwaako nnyo - Nnaabagereka mumulaba byonna by’akola ate mu byenjigiriza, Kabaka yatandikawo Muteesa I Royal University nga byonna byakutumbula embeera z’abantu be. Bino biraga nti Obwakabaka bulina omugaso munene eri abantu baabwo. Mu Kabaka mwe tukumidde olulimi lwaffe, Oluganda kyandibadde kisoboka okusaanawo singa Kabaka teyadda.

Buganda ne Uganda bwe bwandibadde bufumbo, kiki ekisobola okubuwangaaza?

Ekiyinza okuwangaaza obufumbo buno, kuwahhana kitiibwa. Ne bwe buba obufumbo buno obwa bulijjo, bwe watabeerawo kuwahhana kitiibwa, tebuwangaala. Okuwahhana ekitiibwa kitegeeza nti owuliriza munno ky’agamba. Tukimanyi nti obuyinza obw’ebyobufuzi buli mu gavumenti eya wakati, Buganda bw’egigamba nti ffe twagala kufugibwa bwe tuti, ebeera erina okuwuliriza kye tugamba naffe bwe tutyo naye si kufukaamiriranga muntu buli kiseera.

Oluvannyuma lw’endagaano y’okutegeeragana ne Gavumenti eya wakati  kati ate Abaganda baagala ki?

Ensonga y’okubanja byonna Ebyaffe ngiriko nnyo kyokka sseetaaga buli kadde kubeera mu kaleegabikya ka kubanja. Nkola ebirina okutambula kyokka nga bwe mmanja. Era omuntu okugamba nti ebintu byonna ebibanjibwa birina okujja mu mwaka gumu olw’okuba nze ndiwo, abeera yeerabidde era ng’abuuse ensonga nnyingi ezizze zibeerawo mu ggwanga lino naddala Obwakabaka bukya buzzibwawo.

Omwaka oguwedde, ekirabo ky’Amatikkira kwali kuteeka mukono ku ndagaano wakati wa Mmengo ne Gavumenti eya wakati. Kirabo ki kye tuba tusuubira omulundi guno?

Ekirabo ekisooka kye tufunye ye bbugwe ku Masiro e Kasubi okuggwa, Amasiro g’e Wamala kumpi gawedde, bino biraga ennono n’amagezi gaffe ag’enkukunala. Ebyapa 213 twabifuna mu ndagaano eri gye twassaako omukono omwaka guli. Kabaka yalambudde Bugerere, ekizimbe Masengere tukitandise nga kyekirabo ndowooza ekiriba ekya 2015. Amatikkira g’omwaka ogujja we ganaatuukira osanga Kabaka anaaba alambudde Buluuli.

Obubaka bwo obusembayo eri abantu ba Buganda

Nneebaza abantu ba Buganda olw’okujjumbira bye tuzze tubagamba kubanga mu kulambula kwe nkola mu ttoffaali okwetooloola Amasaza gonna okuggyako Buvuma n’e Ssese, nsanze ng’abantu bali ku mulamwa gw’ebyo bulijjo bye tubagamba ne kindaga nti bategedde kye balina okukola okuyimirizaawo Buganda.

Bwe mbeera ku ttoffaali, sibeera ku ssente zokka ng’abantu abasinga bwe balowooza wabula mbeera ndaba embeera y’abantu mwe bali, ntuusa obubaka bwa Kabaka eri abantu be, okubagamba okunywerera kw’ebyo by’abagamba, okufaayo okukulaakulanya Obwakabaka.

 

Regional Tier Mmengo egiwa byoya bya nswa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuserikale atwala Kakooza okulinnya Kabangali.

Poliisi ekutte bana ababba ...

POLIISI ya CPS mu Kampala ekutte abavubuka abeenyigira mu kusala ensawo n’okubba abantu n’ebaggalira oluvannyuma...

Kamulegeya (ku kkono) n'omugenzi Kayongo.

ENSONGA 10 EZIGOBYE NDIRANG...

Supreme Mufuti, Sheikh  Ndirangwa yalekulidde nga kigambibwa nti e Kibuli waliyo obutakkaanya mu bukulu. Tukuleetedde...

Omusumba Serverus Jjumba.

Abasumba bavumiridde ebikol...

ABASUMBA okuli ow’essaza ly’e Masaka n’Omulabirizi wa West Buganda bavuddeyo ne bavumirira ebikolwa eby’okutyoboola...

Martin Kiiza akulira ekibiina ekya National Children Authority ng'annyonnyola ku mbeera y'abaana mu kiseera ky'omuggalo

Omuwendo gw'abaana abakabas...

  EKITONGOLE ekikola ku nsonga z'abaana ekya National Children Authority (NCA) kiwadde lipooti ku ngeri embeera...

Kalinge

Avunaaniddwa lwa kusaba sse...

OMUKOZI mu minisitule y'ensonga z'omunda mu ggwanga asimbiddwa mu kkooti e Nakawa n'aggulwako omusango gw'okusaba...