TOP

Kabaka asiimye okugenda e Bulemeezi

Added 27th August 2014

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okukwasa abawanguzi b’empaka z’ennyimba n’emizannyo eziwakanirwa amasomero mu Buganda engabo ng’omukolo omukulu gugenda kubeera ku St. Janan SS e Bombo ekisangibwa mu ssaza ly’e Bulemeezi- Luweero ku lwa September 13,2014.

Bya DICKSON KULUMBA NE LILIAN NALUBEGA

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okukwasa abawanguzi b’empaka z’ennyimba n’emizannyo eziwakanirwa amasomero mu Buganda engabo ng’omukolo omukulu gugenda kubeera ku St. Janan SS e Bombo ekisangibwa mu ssaza ly’e Bulemeezi- Luweero ku lwa September 13,2014.

Ng’alangirira omukolo guno ku Bulange e Mmengo ku Lwokusatu, Minisita w’ebyamawulire e Mmengo, Dennis Walusimbi Ssengendo yategeezezza nti empaka zino zigendereddwaamu okutumbula ebitone by’abayizi mu nnyimba n’emizannyo bw'atyo n'asaba Obuganda bwonna okujja mu bungi ku mukolo guno.

Empaka z’omulundi guno zaatambulira ku mulamwa “ Tweyambise empisa zaffe ez’ennono okulwanyisa Siriimu asitudde enkundi nate”.

Okusinziira ku kamisona mu minisitule y’ebyenjigiriza e Mmengo, Aloysius Matovu Joy, essomero St. Peters Junior School lyawangula engabo eno.

Ku ngabo endala St. Janan yawangula eyitibwa Muteesa Luwangula era nga bonna ku mulundi guno kwebajja okukwasibwa ebirabo byabwe bino.

Mu ngeri enteekateeka z’okutuuza omumyuka wa Cansala wa Muteesa I Royal University ziwedde nga Polof. Arthur Sserwanga waakutuuzibwa mu kifo kino nga Septermber 3,2014 ku kitebe kya Yunivasite eno ekikulu e Kirumba- Masaka e Buddu.

Omwogezi wa Yunivaasite eno, Siraje Kizito yategeezezza nti Polof. Sserwanga azze mu kifo kya Polof. Bukenya abadde akolanga omumyuka wa Cansala okutuusa olukiiko olufuzi bwe lwalonze Sserwanga.

“ Omukolo guno gugenda kubeera gwa kitiibwa kubanga tusuubira Cansala wa Yunivasite eno Ssabasajja Kabaka, ate Polof. Sserwanga musajja muyivu ddala ng’asuubirwa okuyimusa omutindo gw’ettendekero lino,” Minisita Omubeezi mu ofiisi ya Katikkiro nga mu kiseera kino y’akolanga Minisita w’ebyenjigiriza Noah Kiyimba bwe yategeezezza.

Olukung'aana lwayogereddwaamu Kangawo Freddie Ntege Ssekamere, akulira St. Janan, Mike Kironde era nga lwetabiddwaako Juliet Najjuma, Ann Nalubega wamu ne Steven Kamya abategeka omukolo gw’e Luweero.

Kabaka asiimye okugenda e Bulemeezi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu