TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ETTOFFAALI: Katikkiro azzaako South Afrika ne Netherlands

ETTOFFAALI: Katikkiro azzaako South Afrika ne Netherlands

Added 12th September 2014

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga akomyewo okuva emitala w’amayanja gye yatikkulidde abantu b’e Bungereza, Sweden, Canada ne Amerika ettofaali ly’okuzza Buganda ku ntikko n’ategeeza nga bw’azaako okutikkula ab’e South Afrika, Netherlands, okudda e Dubai ne mu mawanga gye yaakava kubanga aleese enteeka

Bya DICKSON KULUMBA

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga akomyewo okuva emitala w’amayanja gye yatikkulidde abantu b’e Bungereza, Sweden, Canada ne Amerika ettofaali ly’okuzza Buganda ku ntikko n’ategeeza nga bw’azaako okutikkula ab’e South Afrika, Netherlands, okudda e Dubai ne mu mawanga gye yaakava kubanga aleese enteekateeka zigenda mu maaso okuddayo.

Mayiga yategeezezza Bukedde nti “ Tujja kwongera okutuuka mu bifo byonna kubanga abantu ba Kabaka basaasaanye yonna era tujja kubanoonya okwenyigira mu ntegeka z’okukulaakulanya Obwakabaka era olugendo lwe tuvaako lutambudde bulungi,” bwe yayogedde ku lugendo lw’amazeeko wiiki essatu nnamba.

Bino yabyogedde yaakatuuka ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe mu kkiro ekyakesezza olw’okutaano nga yajjidde mu nnyonyi eya British Airways.

Kamalabyonna yategeezezza nga bwali omusanyufu olw’ennyaniriza gye yayaniriziddwaamu n’ategeeza nga bwe yabannyonnyodde ku nsonga ez’enjawulo omuli eby’enjigiriza, eby’obulamu, obulimi, obulambuzi, ettaka nga bwe biyimiridde, ne beeyama okwongera okwenyigira mu nkulaakulana yaabyo.

Yayaniriziddwa abakungu ku lukiiko lwa Buganda Twezimbe okwabadde Evaristo Seguya- akulira akakiiko akazimba Masengere, Fred Kasozi Mamba, Ronald Kirumira, Mubarak Ssenyonjo n’abalala.

Abamu ku be yakomyewo nabo kwabaddeko omumyuka we asooka Amb. Emmanuel Ssendaula, Minisita w’ebyobulamu Dr. Ben Kiwanuka Mukwaya, Omulangira Chrispin Kiweewa Jjunju, Ssentebe wa Buganda Twezimbe John Fred Kiyimba Freeman, David Ntege.

Abalala beyagenda nabo kuliko Julius Ssempala, Omuwanika wa Buganda Twezimbe Gaster Lule Ntakke, Baminisita okuli Dr. Twaha Kawaase, Ritah Namyalo Kisitu, Charles Bwenvu, Kyewalabye Male owa Buganda Land Board, Anthony Wamala, Ssaalongo Mukiibi Muzzanganda, Geoffrey Sserunjogi.

Mu mawanga gonna mwe batuuka, Kiyimba yategeezezza nti baafunyeeyo ensimbi ezisukka obukadde 435 n’ategeeza abantu ba Buganda nti okusonda ettofaali kukyagenda mu maaso nga ku lw’okusatu olujja lya kukunganyizibwa ku Bulange ate enkeera nga September 18, 2014, Katikkiro waakutandika okutikkula ab’e Ssese.

ETTOFFAALI: Katikkiro azzaako South Afrika ne Netherlands

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...