Bya DICKSON KULUMBA
KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti ebyenjigiriza n’okujjumbira obulimi bye bigenda okuyamba okusitula ebizinga by’e Buvuma mu nkulaakulana byatyo n’akubiriza abantu b’ekitundu kino okubyettanira.
Bino Katikkiro yabyogeredde ku lugendo lwaliko okutikkula abantu ba Kabaka mu ssaza ly’e Buvuma ettoffaali ery’okukola emirimu egy’enjawulo egy’enkulaakulana mu bwakabaka lwe yatandise ku lwokubiri.
Mu kulambula ekitundu kino yalinnye ekidyeri okuva e Kiyindi bwatyo n’agoba ku mwalo e Kirongo ku ssaawa taano era olwavudde wano n’agenda ku St. Mary SS eryazimbibwa omuserikale wa Kabaka Vincent Ssemakula era ono n’awaayo 400,000/- ng’ettoffaali abantu abalala ne baleeta 98,800/-
Ssaalongo Ssemakula ng’alambuza Katikkiro olusuku.
Olwavudde awo yayolekedde mu maka g’omutaka Ssaalongo Antonio Ssemakula ng’ono alina olusuku olusussa yiika 20 era Katikkiro Mayiga n’asomooza abantu bonna e Buvuma okuba ng’ono okusobola okukuza ekitundu.
Mayiga yagambye nti “ Bukya nzaalibwa situukangako ku bizinga by’e Buvuma era bulijjo ntegeezebwa ng’abantu beeno bwe batali balimi wabula abavubi kyokka nsanyuse nnyo okusanga nti Ssemakula yeenyigidde mu bulimi, mugende mu maaso kuba mulina okwekolera okuva mu bwavu.”
Ku mbuga y’eggombolola Ssabaddu Busamuzi waasondeddwawo ettofaali lya bukadde 2,020,000/- oluvannyuma Katikkiro n’ayolekera embuga y’essaza lino, Majjo gye yatulizza omwami w’essaza lino Patrick Nsubuga Kirumbalumba n’abamyuka be mu ntebe y’okukulembera essaza lino.
Abakulembeze mu kitundu kino okwabadde omubaka Migadde, Nantume Egunyu, Ssentebe wa Disitulikiti, Adrian Ddungu n’abalala babadde wamu n’abakungu ba Buganda Twezimbe abakung’aanya ettofaali.
Katikkiro akungaanya ttoffaali e Buvuma