TOP

Janet Museveni aggaddewo Ekisaakaate

Added 19th January 2015

MUKYALA JANET Museveni ye yabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’okuggalawo Ekisaakaate kya Nnaabagereka eky’omulundi ogwomwenda.

Bya LILIAN NALUBEGA

MUKYALA JANET Museveni ye yabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’okuggalawo Ekisaakaate kya Nnaabagereka eky’omulundi ogwomwenda.

Omukolo guno gwabadde ku ssomero lya St. Lawrence Crown City e Kavule ku lw’e Masaka olunaku lw’eggulo.

Muky. Museveni yeebazizza Nnaabagereka olw’okutegeka Ekisaakaate n’agamba nti omuntu atamanyi mirandira gye tamanya na nsibuko ye n’agattako nti Nnaabagereka ng’ayita mu Kisaakaate ayambye nnyo abantu naddala abaana okumanya ennono zaabwe.

Yayogedde ku mize emibi mu baana mu nsangi zino n’agamba nti gisusse ng’abaana naddala abawala beenyigira mu nsonga z’okwegatta nga tebanneetuuka ekivaamu obulamu bwabwe okwonooneka n’ebafiirwa n’ebiseera byabwe eby’omu maaso.

Nnaabagereka yategeezezza nti mu Kisaakaate basomesa abaana bonna awatali kufa ku mawanga mwe basibuka. Bonna babasomeseza wamu nga baana ba ggwanga . Yakiggumizza nti abaana

Nnaabagereka ( mu gomesi) ne Muky. Museveni (amuddiridde) mu kuggalawo ekisaakaate.

basobolera ddala okukyukira mu kiseera ekitono kye bamala mu Kisaakaate ne baleka emize emibi gye babadde nagyo.

Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Nelson Kawalya eyakiikiridde Katikkiro, yagambye nti beenyumiriza nnyo mu Kisaakaate kya Nnaabagereka n’akiggumiza nti eno y’emu ku ngeri ejja okuyitibwamu okuzza Buganda ku ntikko.

Yannyonnyodde nti mu kiseera kino Ekisaakaate kyetaaga okufuna ekifo eky’enkalakkalira era nga banaatera okutema evvuunike ku ttaka Kabaka lye yabawa erisangibwa mu Ggombolola y’e Sissa omulimu gutandike okukwajja.

Nnaabagereka oluvannyuma yalambuzza abagenyi be ebintu ebyakoleddwa abaana okuli okuluka, emirimu ng’okufumba, okukola obuyonjo n’ebirala.

Janet Museveni aggaddewo Ekisaakaate

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...