TOP

Abaami ba Kabaka babiri bafudde

Added 11th February 2015

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga atenderezza omumyuka owookubiri owa Pokino ng’omusajja abadde omukozi, omuwulize, aweereza Kabaka we obuteebalira okutuusa ku ssaawa esembayo w’aviiridde mu bulamu bw’ensi eno.

Bya DICKSON KULUMBA 

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga atenderezza omumyuka owookubiri owa Pokino ng’omusajja abadde omukozi, omuwulize, aweereza Kabaka we obuteebalira okutuusa ku ssaawa esembayo w’aviiridde mu bulamu bw’ensi eno.

Bino byabadde mu bubaka, Katikkiro bwe yatisse Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki mu kuziika  Hajji  Isaac Semujju abadde omumyuka owookubiri owa Pokino (Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Buddu) eggulo ku kyalo Butale e Masaka.

Mayiga yasabye Bannaddu “ okubeera abakozi n’okuweerera abaana nga Hajji Semujju olw’engeri gy’abadde akola okusobola okuzzaawo ekitiibwa kya Buddu nga bwe kyalinga edda.”

Hajji Semujju abadde atawaanyizibwa obulwadde bw’ensigo era nga bwamunyiikirira  omwezi oguwedde  n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago gye yafiiridde mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri nga  February 10, 2015.

Okuziika kwetabiddwaako Omumyuka wa Pulezidenti,  Edward Ssekandi, ababaka ba Palamenti, abaami b’amasaza n’abalala.

Ate  Vincent  Biriko Yiga  abadde yaakalondebwa ku bwami bw’eggombolola ya Kabaka ey’e Butayunja mu ssaza ly’e Busujju, yafudde eggulo ku makya  mu ddwaaliro e Mulago.

Yiga  abadde mutuuze ku kyalo Kiggwa, mu ggombolola y’e Butayunja nga yafuna  obulwadde obw’amangu n’addusibwa mu ddwaaliro e Mityana ku Ssande gye yaggyibwa  n’aweerezebwa mu ddwaaliro e Mulago era nga w’afiiridde abadde abuuzaayo wiiki bbiri okutuuzibwa mu ofiisi eyo.

Aziikibwa leero ku  ssaawa 10.00 mu biggya bya bakadde be e Kiggwa,  Busujju.

Abaami ba Kabaka babiri bafudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...