TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Kabaka alambise emirimu Ssaabalangira omuggya gy'aba asookerako

'Kabaka alambise emirimu Ssaabalangira omuggya gy'aba asookerako

Added 16th March 2015

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II alagidde Ssaabalangira omuggya Godfrey Musanje Kikulwe addemu okuwandiika emituba gyonna egikola olulyo olulangira okusobola okuggyamu ababeerimbikamu.

Bya DICKSON KULUMBA

  • Atandika na kuggya Balangira ba ‘Kicupuli’ mu lulyo Olulangira 

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II  alagidde Ssaabalangira omuggya Godfrey Musanje Kikulwe addemu okuwandiika emituba gyonna egikola olulyo olulangira okusobola okuggyamu ababeerimbikamu.

Olulyo lw’Abalangira lulimu emituba 35 kyokka mu kiseera kino bwino aliwo alaga nti giri emituba 52, Kabaka gye yeebuuza  gye giva nga mu kwewandiisa kuno buli mutuba gwakulaga obuvo bwagwo n’owoomutuba gye yajjamu okugukulembera.

Mu kino, Kabaka yawadde nsalessale wa myezi ena ng’omulimu guno gutereezeddwa. Kaweefube agendereddwaamu okugogola olulyo, okutumbula obumu n’enkulaakulana era nga waakuteekebwawo olunaku buli Mutuba lwe gunajjanga n’abantu baagwo okusisinkana Ssaabalangira.

Nga February 19, 2015, Kabaka yalonda Omulangira Musanje nga Ssaabalangira omuggya ng’adda mu bigere bya Ying. Moses Kayima abaddewo okumala kumpi emyaka mwenda.

Omulangira Musanje yannyonnyodde ebirala by’agenda okutandikirako naddala okulaba ng’akumaakuma Abalangira bonna n’okulongoosa enkolagana ne gavumenti ya Kabaka e Mmengo kubanga enkola y’okuwakanya buli kimu, tesobola kutwala mu maaso nkulaakulana.

Ekigango bwe kirabika

Musanje agamba nti, “Enkola egenda kubeera ya kusembeza buli omu, okumuwuliriza, okuwa ekitiibwa buli omu mu bukulu bwe bw’alimu kubanga ffenna tuli bawereeza eri eggwanga lyaffe Buganda. N’olwekyo, nsuubiza enkolagana ennungi ne Katikkiro Charles Peter Mayiga kuba naye yakisuubiza bwe nnali naye e Kyaggwe ku mikolo gy’ettoffaali.”

Okusobola okutambuza emirimu, agenda kutondawo ofiisi ey’enkalakkalira okuddukanya obuvunaanyizibwa n’okuwuliriza buli nsonga.

Yateesseewo Olwokusatu ng’olunaku lw’okubeeranga ku Kigango (awakung’aanirwa Abalangira) ekisangibwa ku luguudo Balintuma e Mengo.  Wano we bagenda okukolera ku nsonga eziruma Abalangira.

ENTEEKATEEKA ZA  SSAABALANGIRA

Ssaabalangira Musanje ayongerako nti omulimu gwayolekedde munene kyokka waakuleetera buli Mulangira okugwenyigiramu nga mu kino, agenda kulaba nga watondebwawo obukiiko obw’enjawulo okuli ak’ebyensimbi, obuwangwa, empisa n’obulala okusobola okulambika obulungi b’akulembera.

Mu birala, Musanje byateekateeka okusookerako n’olukiiko lwe kwe kulaba  nga balambula Amasiro gonna n’ebifo by’obuwangwa mu lulyo Olulangira, embeera mwe biri  n’okukwatagana n’ekitongole ky’ettaka e Mmengo okukuuma ebifo by’obuwangwa kubanga ebimu, bisengeddwaako.

Ebifaananyi ekisiige ekiraga Ekigango nga bwe kigenda okuzimbibwa kirabike.

Mu kaweefube w’okunyweza obukulembeze bw’olulyo Olulangira, Kabaka yadibya enkola y’okulondera akakiiko akafuzi mu kika kino mu Kigango bwatyo n’alonda abantu abalala bataano nga March 4, 2015 okukwatiza ku Ssaabalangira.

Abaalondeddwa kuliko; Omumyuka asooka owa Ssaabalangira nga ye Walugembe Njobe Kazawula, Omumyuka owookubiri Fred Kateregga, Omuwandiisi- Margaret Namaalwa, Nnaalinya Maria Kyasooka n’alondebwa okukiikirira Bannaalinnya mu masiro wamu ne Kalemeera Nakikulu Kabangala ng’ono akiikirira bavubuka.

Mu kiseera kino, pulaani y’okuzimba ekigango ekiri ku mulembe yaggwa okukubwa, emyaka esatu emabega era nga Musanje yeeyamye okulaba nga kitandikibwa okuzimbibwa ng’omu ku kaweefube w’okubaweesa ekitiibwa n’okusenda oluggya lw’ekigango okukolawo ekifo ekisanyukirwamu, kibeere nga kiyingiriza Abalangira ensimbi.

Ssaabalangira agamba nti “Nneetegereza nga tulina oluggya lwaffe wano nga lugazi era kye ng’enda okutandikirako, kwe kulusenda, wafaanane bulungi, kibeere ekifo ekiyinza okukozesebwa abalina emikolo, tufunemu ssente kubanga kiri walungi ng’omuntu asobola okuva e Namirembe, Lubaga n’ebifo ebirala ne bakolera wano emikolo gyabwe.

Kino ng’enda kukitandikirawo mu myezi gino egisooka. Ensawo y’Abalangira erina okubeeramu ssente.”

 

‘Kabaka alambise emirimu Ssaabalangira omuggya gy’aba asookerako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...