TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmengo ereeta ekitongole ekirondoola empeereza y'amasaza

Mmengo ereeta ekitongole ekirondoola empeereza y'amasaza

Added 6th April 2015

MINISITULE ya gavumenti ez’ebitundu e Mmengo yaakubangawo ekitongole ekirondoola enkola n’enzirukanya y’emirimu mu masaza n’ekigendererwa ky’okutumbula enkulaakulana mu bitundu bino.

 Bya DICKSON KULUMBA 

MINISITULE ya gavumenti ez’ebitundu e Mmengo yaakubangawo ekitongole ekirondoola enkola n’enzirukanya y’emirimu mu masaza n’ekigendererwa ky’okutumbula enkulaakulana mu bitundu bino.

Minisita Omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki yategeezezza nti ekirowoozo kino bazze bakifuna okuva mu bantu ab’enjawulo okuli n’akakiiko akakola okunoonyereza ku nkola y’emirimu mu masaza.

Kawuki yagambye nti “ Ekitongole ekinaalondoola emirimu mu masaza kyakubeeramu bakamisona kyokka ne Baminisita mu minisitule eno bajja kutuukanga ku masaza n’amagombolola okulaba bwe gatambuzibwa.”

Ebisuubirwa okuva mu nkola eno kwe kulaba ng’Abaami ku mitendera gyonna batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obwabalondesa.

Obwakabaka bumaliridde okulaba ng’enkulaakulana eva wansi ku byalo okutuukira ddala waggulu, okulung’amya abaami ku biki bye basaanye okukola wamu n’okufunira obukulembeze buno ebikozesebwa mu ofiisi.

Amasaza gano gatuunuuliddwa okuba nnamuziga y’ebyenfuna by’Obwakabaka kwe bitambulira n’okukomya omuze gw’okulindirira Mmengo okuyamba amasaza.

Mu kiseera kino, Mmengo erina enkola y’amagombolola okukiika e Bulange okugula satifikeeti ez’ekikungo ng’eyitibwa ‘Luwalo lwaffe.’

Ensimbi eggombolola lye zikung’aanya kwakuggyibwangako ebitundu 25 ku 100 biddeyo ku magombolola bikole enkulaakulana era ensimbi ezireetebwa eggombolola, ziraga obujjumbize n’obukozi bw’abakulembera eggombolola eyo.

KYAGGWE ANYWA AKENDO MU MASAZA AMALALA

Mu kaweefube w’okutumbula enzirukanya y’emirimu mu masaza, Minisitule eno yateekawo empaka wakati mu masaza okulaba essaza erisinga okussa mu nkola, enkola z’Obwakabaka era mu January 2015, akakiiko akaakola omulimu gw’okusala empaka zino kangozebwa ne kawaayo lipoota yaakyo mu March 2015 nga Kyaggwe ly’essaza eryakira amalala.

EBYASOBOZESA KYAGGWE OKUWANGULA

Essaza lino lirina Pulojekiti ez’enjawulo omuli ey’obulambuzi okuli ebiyiriro bya Ssezzibwa, Olusozi Ddindo, Olubiri lwa Kintu e Manjira nga wano we yatuukira ng’ava e Abisiniya, Olusozi Nammengo- Kyampisi, ewa Ham Mukasa n’ebirala. Ekyuma ekifulumya empapula, Olusuku, emmwaanyi, amasomero, ekibira kya kalitunsi, ekitta vvu ( bbanka), awayigirizibwa ebyuma bikalimagezi ate n’embuga nnyonjo.

Ekimu ku bintu ebyatunuulirwa kwe kubeera nti enkiiko z’essaza zituula era kyazuulwa nga Kyaggwe etuuza enkiiko, ekisenge omutesezebwamu kiyonjo ddala, embuga ennyirira era bagitaddeko ekifo omuva ensimbi ate balina enteekateeka y’enkulaakulana ey’emyaka etaano.

Mu ngeri y’emu, ebitongole  ebisinga obungi bikola, abakiise mwebali ate enkolagana n’ebitongole ebirala weeri ng’eno ye yolekera ku nkozesa y’ettaka ly’amagombolola ennungi.

Embuga y’essaza lino esangibwa mu Ggulu- Mukono ng’eno yettanirwa nnyo abantu era ebaganyudde naddala abo abeetaaga okusomesa abayizi ng’essaza libafunira sikaala.

Amagombolola nago gatereddwaamu Pulojekiti ez’enjawulo okugeza e Nakisunga wagenda kuzimbibwawo ekisaawe ky’essaza ekisuubirwa okuwemmenta obukadde 500 nga kiwomeddwaamu omutwe Omubaka Rev. Peter Bakaluba Mukasa nga wano Kyaggwe w’ekyaliza emipiira gy’amasaza.

Kyokka akakiiko akaakola okunoonyereza kuno nga kakulemberwa Male Busuulwa kaawa essaza lino amagezi okukola kw’ebyo ebibula mu lukiiko olutesezebwamu wamu n’okunyweza engabana y’obuyinza mu baami abasatu abatwala essaza lino okuli Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo n’abamyuka be.

EBYASEMBEBWA AKAKIIKO

l Kasaba minisitule ya gavumenti ez’ebitundu  okuyamba abakulembeze bano ng’ebabangula mu misomo egy’enjawulo.

l Enkola ey’okulondoola ebintu eby’enjawulo ebikolebwa mu masaza n’okusala empaka okukolebwa buli myezi mukaaga.

l Wassibwewo entegeka endala ez’okuvuganya mu masaza okugeza abavubuka, obuyonjo, ebibiina ebitali bimu era nga gye buvuddeko Katikkiro Charles Peter Mayiga yakakasa nti omwaka ogujja okuvuganya mu kulima emmere mu masaza kugenda kutandikibwa.

l Ng’akakiiko bwe kalondola amasaza, enkola y’emu esaanye okusibwa wansi ne mu magombolola wamu n’okusaba amasaza gakyaliraganenga okusobola okuyigira ku malala. 

ENSENGEKA Y’AMASAZA NGA BWE GAKOLA EMIRIMU

Kyaggwe, Kyaddondo,Ssingo, Mawokota, Bugerere, Buweekula, Mawogola, Gomba, Kabula,Busujju, Butambala, Buddu, Busiro, Kkooki, Buluuli, Ssese, Buvuma, Bulemeezi.

 

Mmengo ereeta ekitongole ekirondoola empeereza y’amasaza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...