TOP

Minisita asiimye Ssekiboobo ku nkulaakulana

Added 8th April 2015

MINISITA wa Gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki asiimye Ssekiboobo Alex Kigongo Kikonyogo n’abaami ba Kabaka abalala b’aweereza nabo mu Kyaggwe olw’enzirukanya ennungi ey’essaza erimu okuteekawo pulojekiti ez’enkulaakulana, okusomesa abantu ba Kabaka n’okulongoosa embuga y’essaza n’eba ng

MINISITA wa Gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki asiimye Ssekiboobo Alex Kigongo Kikonyogo n’abaami ba Kabaka abalala b’aweereza nabo mu Kyaggwe olw’enzirukanya ennungi ey’essaza erimu okuteekawo pulojekiti ez’enkulaakulana, okusomesa abantu ba Kabaka n’okulongoosa embuga y’essaza n’eba ng’etemagana.

Kawuki yakulembeddemu abaami ab’amasaza okugenda e Kyaggwe okulambula n’okusoma okuva ku Ssekiboobo ne Bannakyaggwe ebyasobozesa essaza lino okusinga mu mpaka z’okuzuula ssaza ki erisinga mu bintu eby’enjawulo n’obukulembeze.

Mu bannakyaggwe bye balaze Ab’amasaza mwabaddemu etterekero ly’eby’obuwangwa ery’ekitongole ky’essaza eky’eby’obulambuzi, Pulojekiti y’ekifo ekiwummulirwamu, bbanka y’obwegassi, essomero lya Ssekiboobo P/S, ekitongole ekikola ku ssikaala za Kabaka n’ebirala.

Minisita asiimye Ssekiboobo ku nkulaakulana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Endabirira y'akamwa n'amannyo.

▶️ Olabirira otya akamwa n'...

▶️ SSAAYANSI W'OBULAMU; Olabirira otya akamwa n'amannyo.  

Yiga okukola emisubbaawa awaka.

▶️ Yiga okukolera emisubbaa...

▶️ Yiga okukolera emisubbaawa awaka ofune ensimbi.

Dr. Specioza Wandira ng'annyonnyola.

▶️ Dr. Specioza Wandira aku...

▶️ Dr. Specioza Wandira akubirizza abantu okugenda babageme Covid 19.

Natalie E. Brown

Omubaka wa Amerika mu Ugand...

OMUBAKA wa  Amerika mu Uganda Natalie E. Brown ayagalizza  Abasiraamu ekisiibo  ekirungi n'agamba nti kino kibeera...

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...