TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu beeyiye ku mukolo gw'amazaalibwa ga Kabaka ag'emyaka 60: Gubadde gwa byafaayo

Abantu beeyiye ku mukolo gw'amazaalibwa ga Kabaka ag'emyaka 60: Gubadde gwa byafaayo

Added 13th April 2015

AMAZAALIBWA ga Ssaabasaja Kabaka wa Baganda ag’emyaka 60 gaataddewo ekyafaayo mu Buganda!

 Bya Ahmed Mukiibi, Dickson Kkulumba ne Lillian Nalubega.

AMAZAALIBWA ga Ssaabasaja Kabaka wa Baganda ag’emyaka 60  gaataddewo  ekyafaayo  mu Buganda!

Ekyafaayo  kino ye Likoda Ssaabasajja gy'ataddewo nga Kabaka wa Buganda asoose mu byafaayo bya Buganda eby’emyaka kumpi 700 okukuza amazaalibwa ag’emyaka 60 egy’obukulu  kubanga Bassekabaka bonna 35  abaamusooka  okutuula ku Nnamulonda,  tewali yaweza wadde emyaka 50 ku nsi.

Ebyafaayo biraga nti Ssekabaka Muteesa I  eyafiira ku myaka 47 mu 1884  ye yali akyasinze okuwangala mu Bakaba bonna  aba Buganda nga Mutebi II tannatuula ku Namulondo. Ssekabaka Mutesa II azaala Kabaka Mutebi ye yafiira ku myaka 45 mu 1969.

Emikolo gy’amazaalibwa ga Kabaka Mutebi II gyabadde  minyuvu okufa obufi olwa nnasisi w’omuntu abajjuza Bulange n’efuuwa, abalala ne bakwatirira oluguudo lwonna olwa Kabaka njagala olwa mayiro ennamba (okuva ku Lubiri okutuuka ku Bulange)  n’abamu  ne bayimirira ku  mabbali ng’enguudo endala ezeetolede ku Bulange  ezagaddwa  Poliisi n’amagye  ga UPDF nga tewali mmotoka  ekkirizibwa kuyitamu.

Enduulu ey’oluleekeleeke yasaanikidde Bulange ku ssaawa 10:25, Kabaka  ng’ali ne Nabagereka bwe batuuse ne bagenda butereevu ku  kizimbe  ekipya ttuku  ‘Masengere”, ekyazimbiddwa ku ssente ezisoba mu buwumbi butaano ezaasondeddwa Abaganda n’abantu ba Kabaka okuva ebweru wa Buganda nga bayita mu Pulojekiti eya 'Ettoffaali".

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayigga yagambye nti “Masengere” kye kirabo   ky’amazaalibwa  bantu  ba Buganda  kye bawadde  Kabaka waabwe.

Zaabadde essaawa 10:30  ez’oku makya  Kabaka   n’asala akaguwa okukiggulawo mu butongole Masengere eno, ezimbiddwa mu bbanga lya mwaka gumu gwokka era oluvannyuma n’agirambula wakati mu ssanyu n’okwejjaga.

Museveni amutonedde kapyata ya bukadde 450

Pulezidenti Museveni  naye yayongedde ebbugumu  mu mikolo  bwe yasitukidde mu  mmotoka ensajja  Kapyata  ey’ekika kya “2015 Toyota Land Cruiser V8”  n’agiwa Ssaabasajja Kabaka  ng’ekirabo  ky’amazaalibwa.

Kapyata eno enzirugavu yonna ng’etemagana nga mukene,  eggula  ddoola okuva ku 80,000 okudda waggulu ( mu ssente za Uganda  okuva mu bukadde nga 230) ng’ekyali mu kkolero, ekitegeeza nti bw’eba esasudde emisolo gya URA esobola okweggwera mu bukadde nga 300.

Mmotoka eno, Pulezidenti yagitidde Omumyuka wa Pulezidenti Edward Sekandi eyagikwasizza Ssabasajja wamu ne Kaadi yaayo n’obubaka wa Pulezidenti Museveni  obw’okumuyozaayoza okutuuka ku myaka 60 n’okumwagaliza obuwangaazi.

Omukolo gwetabiddwaako abanene

Ng’oggyeeko Masengere ne mmotoka Kapyata eya Museveni,  Omukama wa Toro, Rukirabasaija Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV ow’emyaka naye yayongedde ebbugumu mu mikolo  gino egyalagiddwa obutereevu ku Bukedde TV  okuva lwe gyatandise okutuka lwe gyawedde, bwe yeegasse ku Kabaka  Mutebi II olwo enduulu n’esaanikira Bulange.

Rukirabasaija Oyo eyazaalibwa nga  16 April 1992, agenda kuweza emyaka 23  ku Lwokuna olujja ng’emikolo emikulu giri mu Lubiri lw’e Fort Portal.

Obwakaka bwa Bunyolo, Nkole, Busoga,  Japadhola  nabwo baakikiriddwa Bakatikkiro, ate Germany ne Buyindi zaakiikiriddwa  ababaka baazo mu Uganda.

 Olulyo olulangira lwaweddeyo nga Jjajja w’Obusiraamu Omulangira Kasim Nakibinge Kakungulu, Omulangira Namugala, Omulangira David Wassajja, Omulangira Crispin Jjunju Kiweewa, Bannalinya Nnaabaloga, Kagere, Nassolo , Abambejja Ssangalyambogo, Nkinzi n’abalala nabo  tebaalutumiddwa mwana.

Abaaliko bakatikkiro nabo tebaalutumidde mwana!

Abaaliko ba Katikkiro ba Buganda, Joash Mayanja Nkangi, Dan Mulika, eyali Katikkiro Apolo Nsibambi,  Omumyuka wa Saabawolereza Steven Kavuma, Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago, Dr. Kizza Besigye,  ababaka ba Palamenti abakiikirira ebitundu bya Buganda, bassentebe ba LC5, 3 ne bammeeya b’ebibuga nabo baabaddewo nga beegasse ku Baminisita ba Kabaka, ab’amasaza n’abataka abakulu b’obusolya.

Abayimbi ab’amannya abeegattira mu kibiina ekya ‘Buganda all Stars’ omwabadde Bobi Wine, Catherine Kusasira, Irene Namatovu, Karim Ssava, Matthias Walukaga, Hajjati Sophie Nantongo, Annet Nandujja n’abalala beeyimbidde Kabaka oluyimba olw’Amazaalibwe.

Abaana b’amasomero ag][enjawulo wamu n’ebibiina by’abakuba engoma n’ebivuga  eby’ekinnansi nabo baabesabeesezza Kabaka n’abagenyi.

Kabaka  yasiimye musajja we Paul Ssaaka omuyiiya w’ennyimba ez’ekinnansi gwe yawadde Satifiketi wamu n’ekibiina ky’abasawo bannakyewa ekya Buganda Health Volunteers  ekya Dr. Fiona Kalinda nabo be yawadde Satifiketi

Emikolo  gyatuuse ku ntiko ku ssaawa 7:30, Kabaka bwe yasazze Kkeeki y’amazaalibwa ng’ali ne Rukirabasaija Oyo  nga Kkeeki eno yabadde mu kifaananyi eky’ekizimbe Masengere.

 Emikolo olwawedde, Ssabasajja n’agabula abagenyi be ekijjulo makeke mu Lubiri abantu be ne banywa ne balya ne basindisa n’ebigere.

 

Ebifaananyi bya Steven Musoke, Rogers Kibirige ne Dickson Kulumba

Posted by Bukedde on Monday, April 13, 2015

Abantu beeyiye ku mukolo gw''amazaalibwa ga Kabaka ag''emyaka 60: Gubadde gwa byafaayo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...

Derrick Kakooza, eyateeba ggoolo ey'obuwanguzi ku Mauritania.

Hippos erwanira World Cup

Leero mu Africa U-20 Cup of Nations (Quarter) Cameroon -Ghana,1:00 Burkina Faso - Hippos, 4:00 ez'ekiro ...

Dorothy Nambi ng’ayigiriza omwana alina obukosefu okulabirira ennimiro.

Kw'olabira omwana alina obu...

Alwawo okwogera. Tasobola kuyiga bintu bya bulijjo ng’okuseka, okuba n’emikwano. lAtya nnyo naddala abantu abatali...