TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obukadde 182 ze zaakasondebwa mu nkola y'oluwalo

Obukadde 182 ze zaakasondebwa mu nkola y'oluwalo

Added 18th May 2015

ENSIMBI obukadde 182 ze zaakasondebwa mu nkola amagombolola mu Buganda mwe gakiikira e Mmengo okugula satifikeeti ez’ekikungo mu nkola y’okutuukiriza oluwalo lwagwo mu kuwagira emirimu gy’Obwakabaka.


Bya DICKSON KULUMBA

ENSIMBI obukadde 182 ze zaakasondebwa mu nkola amagombolola mu Buganda mwe gakiikira e Mmengo okugula satifikeeti ez’ekikungo mu nkola y’okutuukiriza oluwalo lwagwo mu kuwagira emirimu gy’Obwakabaka.

Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki agamba nti, “ Enkola ya luwalo lwaffe yagendererwamu kwongera kuyingiza bantu ba Kabaka mu kuyimirizaawo emirimu gy’ Obwakabaka nga bajjajjaffe bwe baakolanga Enkola eno yatongozebwa Katikkiro Charles Peter Mayiga nga January 13, 2015 n’eggombolola y’e Makindye era ng’amagombolola agasukka 15 ge gaakakiika ng’abaddukanya enkola eno ey’okuwagira eggwanika lya Buganda. Buli ggombolola mu Buganda ligenda kuweebwa olunaku kwe linaakiikiranga e Mmengo, olw’enkalakkalira okutandika n’omwaka ogujja.

Ku mulundi gw’enkola eno ogusembyeyo nga April 28, 2015, amagombolola okuli; Masuulita, Wakiso, Kakiri ne Namayumba okuva e Busiro be bakiika n’omugatte gw’ensimbi 11,333,000/- Omukungu mu kitongole kya satifikeeti e Mmengo, Lawrence Muganga yategeezezza nti abantu balaze obujjumbize mu kugula satifikeeti era bagenda kwongeramu kaweefube w’okukunga buli muntu wa Buganda okugula waakiri satifikeeti buli mwaka.

Ku nkomerero y’omwaka, ensimbi ebitundu 10 ku 100 zigenda kuzzibwa ku magombolola okutambuza ku mirimu gyayo wamu n’okuyooyoota ebizimbe by’Obwakabaka nga Bulange.

Bino we bijjidde nga Mmengo eri mu kutegeka lunaku lwa Gavumenti ez’ebitundu olugenda okubeerawo nga May 30,2015 ku mbuga y’essaza ly’e Kyaggwe e Mukono.

Ku lunaku luno, abaami b’amasaza lwe bagenda okweyanza obwami mu maaso ga Kabaka era nga Kawuki yagambye nti olunaku luno lugenda kwongera okulaga abaami nti ebyalo, emiruka, amagombolola n’amasaza bye birina okulabirira enzirukanya y’emirimu gy’Obwakabaka.

Obukadde 182 ze zaakasondebwa mu nkola y’oluwalo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amanda

Emigaso gy'amanda

Emigaso gy'amanda Ng'oggyeeko okugafumbisa, amanda gazuuliddwaamu emigaso. Gazigula olususu n'okugoba enkanyanya....

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...