TOP

Engeri Nnaabagereka gy'akyusizza Buganda

Added 31st July 2015

Mu bbanga lino, Omutanda mw’afunidde ne Nnaabagereka Sylvia Nagginda, akoze ekinene okukyusa Buganda okugizza ku ntikko.

Bya LILIAN NALUBEGA

LEERO giweze emyaka 22 bukya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alinnya ku Nnamulondo ya bajjajja be.

Mu bbanga lino, Omutanda mw’afunidde ne Nnaabagereka Sylvia Nagginda, akoze ekinene okukyusa Buganda okugizza ku ntikko.

Ebyafaayo bya Buganda biraga Bannaabagereka bazze bakola emirimu mingi naye ng’egisinga bagimalira mu Lubiri.

Kyokka ku mulembe guno Omutebi, Sylvia Nagginda akyusizza enkola eno kuba emirimu gy’omu Lubiri agasseeko okufuluma ebweru waalwo, ebweru wa Buganda n’emitala w’amayanja. Obadde okimanyi nti ono ye Nnaabagereka asoose okukola ofiisi e Bulange Mmengo?

Ebimu kw’ebyo Nnaabagereka by’akoze era bye yeenyumirizaamu, kwe kutandikawo ekitongole ky’ebyenkulaakulana ekimanyiddwa nga Nabagereka Development Foundation. Muno mwe yayita okutandika ‘Ekisaakaate’ mu 2007 ekiyigiriza abaana abato okuba abantu ab’obuvunaanyizibwa, abamalirivu, abalamu, abatetenkanya, abamanyi ennono n’obuwangwa bwabwe era abawa buli muntu ekitiibwa.

Nnaabagereka (mu busuuti eya bbulu) n’abakyala ba Mothers’ Union gye buvuddeko

Alafuubanira nnyo okulaba ng’atumbula embeera z’abaana abawala naddala abo abakyali mu masomero. Kino akikola ng’atunuulira amasomero agali mu mbeera embi n’agayamba okuzimba n’okugawa ebyetaagisa.

Amasomero nga Masooli Church Of Uganda Pulayimale n’amalala agalyefaananyirizaako agasakiridde era n’agazimbira. Okugeza ng’ebiyigo eby’omulembe wamu ne ttanka z’amazzi amayonjo okuyamba abaana abawala ng’abasomesa okwekuuma, obuyonjo wamu n’okubafunira ebyokukozesa mu mbeera zaabwe ez’ekikyala.

Kino kibayambye okubeera abasanyufu n’obutasubwa kusoma nga batya mu bibiina olw’embeera eyo.

Nnaabageraka afubye okulaba ng’ayigiriza abayizi n’abantu baabulijjo okumanya engeri y’okuterekamu emmere nga beetegekera ebiseera eby’ekyeya. Enkola eno yagitandikira ku masomero ng’akolagana n’abekitongole kya ‘Technology for Tomorrow e Makerere’.

Agenda alaga abantu engeri y’okuzimbamu ebyagi ebitereka emmere, okuzimba ttanka ez’omulembe okukuuma amazzi amayonjo ate n’okukubiriza abaana okumanya engeri y’okwekuumamu nga bayonjo naddala nga bavudde mu kaabuyonjo.

Atadde nnyo essira mu kulaba ng’akuuma n’okutumbula Obuwangwa bwaffe n’ennono. Kino kyamuwaliriza n’okutandikawo enkola ey’Ekisaakaate mw’akumaakumira abaana abawala n’abalenzi n’abamanyisa ebyo bye bataamayigidde mu maka ga bakadde baabwe.

Nnaabagereka ng’agema abaana

Ebyobuwangwa bingi ebigenze biragajjalirwa mu bantu by’afubye okulaba ng’abisiga mu baana abato.
Abazadde bangi bajjumbidde enkola eno era mu biseera ebijja Buganda ejja kuba yanjawulo kuba omusingi agutemye.

Yeenyigidde nnyo mu kubangula abakyala n’abaana engeri y’okulimamu ensuku nga mu kino yeegomba okulaba ng’abantu ba wano baddamu okulima emmere ey’amatooke mu ngeri gye bayinza okugiganyulwamu.

Enkola ey’okusimba olusuku lwa Nnaabagereka agissizzaako essira. Mu bitundu bingi gy’alambudde ensuku zino zisimbiddwa ng’alaga abantu engeri entuufu ey’okulima ensuku ez’omulembe.
Atunuulidde nnyo ebyobulamu mu ngeri ey’enjawulo. Nnaabagereka ayagala okulaba ng’abantu ba Beene baba balamu.

Akunga abantu okulaba ng’abaana abawere bagemebwa endwadde zinnamutta era kino akitwala nga kikulu nga kw’atadde n’okukubiriza abazadde okulabirira abaana baabwe mu by’endya.

“Okugemesa omwana nga muto oba omutangidde endwadde nnyingi ezandimulumbye ng’akuze oluusi eziyinza okutaataaganya mu nkola y’emirimu gye n’okuzingamya enkulaakulana,” Nnaabagereka bulijjo bwatyo bw’akalaatira abantu.

Nnaabagereka amanyisizza abakyala abazaala engeri y’okwekuumamu nga balamu ate n’okukendeeza ku muwendo gw’abo abafiira mu ssanya. “Twesanze ng’abakyaala bangi balemwa okuzaala abamu ne bafa olw’okuba nga baba tebeetegekedde kiseera kino.

Omukyala bw’amanya by’aneetaaga ng’azaala naddala mu ddwaaliro ate n’afuba n’okulaba omusawo, waakiri emirundi egitakka wansi w’ena ng’ali lubuto, n’emikisa gye egy’okuzaala omwana omulamu gibeera waggulu.

N’olwekyo emisomo mingi tugituusizza ku bantu eyo mu bitundu ebitali bimu era nga bafunyewo enjawulo,” Nnaabagereka buli lw’asisinkana abakyala okubasomesa ku nteekateeka y’amaka bw’alabula.

Ng’ayita mu misomo egikwata ku nteekateeka y’amaka, ayongedde okuzuula ebiruma abafumbo ebivaako abamu okwawukana ate n’abalala ne babeera awaka ng’empuliziganya tewali.

“Nga Maama wa Buganda nneenyumiriza nnyo mu kulaba nga abakyala bongera okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka, okulabirira abaana, okuyonja amaka n’okutema empenda ez’okuyingizaamu ensimbi mu maka gaabwe awatali kulinda baami kubawa,” Nnaabagereka bw’alabula abakyala.

Okutunda Buganda mu mawanga amalala nakyo akitwala nga kyanjawulo. Kino abantu ba Buganda basobola bulungi okukituukako nga bayita mu kwenyigira mu misomo egitali gimu egitegekebwa wano ewaffe ate n’ebweru wa Buganda ne Uganda.

Nnaabagereka akikkaatiriza nti ssinga tufuba okwenyigira mu misomo egyetabwamu amawanga amalala ku miramwa egy’enjawulo, amawanga agaba geetabyemu n’eyo amawulire gye gatuuka baba basobola bulungi okumanya nti waliyo eggwanga eryo.

Kino era kyongera okutuganyula mu ngeri y’okusaka emikwano egiyamba okutukwatirako mu nkulaakulana’. “Bangi ku batuwa obuyambi okugeza nga mu kitongole kya NDF n’ebirala tubafuna nga tuyita mu makubo nga ago”.

Mu kaweefube wa Kabaka Mutebi okubangawo enkolagana n’Obwakabaka obulala, Nnaabagereka akikoze ng’asinziira ku mirimu emingi gy’akola. Akyalidde bak’abakulembeze ab’ennono mu bitundu byabwe gye bali.

Era mu ngeri y’emu kimuwa amaanyi okwongera okumanya enzirukanya y’emirimu n’enneeyisa yaabwe era nga bino byonna bimwongera okunnyikiza ebyo by’aba akola kuno olw’okutwala Buganda mu maaso.

Nnaabagereka anywwezezza enkolagana ye ne Bannamasole. Awaayo ekiseera n’abakyalira ne kimuyamba okwongera okumanya ebyaliwo ku mirembe gya Bassekabaka.

Okuyamba abakadde n’abaana abatalina mwasirizi. Kino kibayamba nabo okumanya nti newankubadde balinga abaasigala bokka awatali banganda, naye balina ababaagala.

Ateekateeka okuzimba amaka g’Ekisaakaate amatongole ku ttaka eryamuweebwa Omutanda e Ssisa mu Busiro, okwongera okubangawo enkolagana n’abantu abatwetoolodde mu Buganda ne Uganda okutwaliza awamu, okutumbula ebyobulamu mu maka gye tuva ne mu bifo ebitwetoolodde. ate n’ebintu ebirala bingi.

Ssaabasajja ng’ajaguza Okuweza emyaaka abirimu ebiri ku Nnamulondo, nga tusinziira kw’ebyo Nnaabagereka byakoze n’amakubo gatemye okutuukiriza ebyo byaasuubira okukola nti waggya kubaawo okutebenkera n’okuwanirira Omumuli gwa Buganda naddala mu nkulaakulana.

Abantu ba Buganda Nnaabagereka bulijjo abakubiriza okwongera okuba obumu, Okukuuma ennono zaabwe n’obuwangwa ate era n’okukuuma Nnamulondo nga Kabaka y’ali ku Ntikko.

Engeri Nnaabagereka gy’a kyusizza Buganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.