TOP

Ebyavuddeko Kabaka okusuula baminsita

Added 12th October 2015

ENKYUKAKYUKA Kabaka ze yakoze nga tezinnalangirirwa, Katikkiro Charles Peter Mayiga yasoose kuweereza bubaka ku ssimu za Baminisita obubalaalika okwetegekera ebijja.

Bya DICKSON KULUMBA 

ENKYUKAKYUKA Kabaka ze yakoze nga tezinnalangirirwa, Katikkiro Charles Peter Mayiga yasoose kuweereza bubaka ku ssimu za Baminisita obubalaalika okwetegekera ebijja.

Obubaka buno bwabadde bugamba Baminisita nti: Mubeere bulindaala essaawa yonna waliwo enkyukakyuka Kabaka z’asiimye okulangirira. 

Ekyaddiridde bunkenke mu baweereza ba Kabaka.

We zaaweredde essaawa 10 ez’olweggulo obubaka buno bwabadde butuuse ku ssimu zaabwe n’ekyaddiridde ly’essanyu mw’abo abaagudde mu bifo kyokka mulimu n’abaanakuwadde olw’okulekebwa ebbali n’abaakyusiddwa ne batwalibwa mu bifo bye batunuulira ng’ebiyabayaba.

Enkyukakyuka zino ezazze mu kiseera nga tezisuubirwa zaalese ebbali Omuwanika Eve Nagawa Mukasa wamu n’Omumyuka owookubiri owa Katikkiro Hajji Mohamood Ssemambo Ssekimpi.

EBYAVUDDEKO OKUWUMMUZA NAGAWA NE SSEKIMPI

Nagawa aweerezza mu kifo ekyo okumala emyaka musanvu (okuva 2008-2015) era okwawukanako ku Ssekimpi, okuwummuzibwa kwe kubadde kusuubirwa.

Ensonda zategeezezza nti Nagawa abadde mugonvu era mu myaka ebiri egisembyeyo, entambula ezimu z’abadde ateekeddwa okugendako ng’asaba n’akiikirirwa. Egimu ku mikolo gy’abadde tatera kubeeramu gy’egyokusonda Ettoffaali.

Gye buvuddeko, Nagawa yafuna akabenje bwe yagwa n’anuuka okugulu era yamala ekiseera nga n’empapula ezeetaaga okuteekebwako emikono bazimutwalira wuwe e Mukono. Nagawa ye mukyala eyasooka okulya ekifo ky’Obuwanika ku mulembe Omutebi era bangi babadde bamativu n’emirimu gy’akoze, kyokka mu kiseera kino obukosefu bubadde bumutawaanya. Olw’obwetaavu bw’ensimbi ezinaayamba okutambuza emirimu gy’Obwakabaka, Kabaka yaweereddwa amagezi okunoonya omuntu asobola okutambula mu buli kasonda ka nsi n’okukozesa amaanyi amangi mu kuffeffetta ssente.

Enteekateeka eno nti yasanze ne Nagawa yaweerezza obubaka obusaba okuwummula bwe kuba nga kwe kusiima kwa Beene olw’obukosefu bw’alina.

Kyokka ku Hajji Ssekimpi, abantu abeesigika mu Bulange baategeezezza Bukedde nti wadde abadde aweereza, naye abadde n’obutali bumativu era afubye enfunda eziwera okubutuusa ew’Omutanda.

Enkwatagana wakati we ne Katikkiro Mayiga nti ebaddemu ebirumira era ekimu ku bintu Ssekimpi by’abadde yeemulugunyaako y’engeri kumpi gye yalekebwamu ebbali ku nkulaakulanya y’Amasiro g’e Kasubi.

Wadde Ssekimpi y’abadde Minisita avunaanyizibwa ku Masiro, ensonga enkulu mu kugakulaakulanya zaasalwangawo nga tategedde n’asigala kukiikiriranga Mayiga ku mikolo gy’okulambuzanga abantu Amasiro we gatuuse. Okulambuza kuno kubadde kubeerawo buli ntandikwa ya mwezi nga 1, era Mayiga bw’aba taliiwo, Ssekimpi y’abadde alambuza abantu.

Kigambibwa nti enkwatagana yaabwe obutabeera nnungi, kirina akakwate ku bigambibwa nti abakulembeze b’Obusiraamu e Kibuli baali bamutadde ku lukalala lw’abo be baagala Kabaka alowoozeeko bw’aba alonda Katikkiro, kyokka Kabaka n’asiima n’alonda Mayiga mu May 2013. Ssekimpi olwo, yaweebwa kya mumyuka owookubiri owa Katikkiro ara avunaanyizibwa ku Minisitule y’Obuwangwa, Ennono, Embiri, Amasiro n’Obulambuzi.

Ensonda e Mmengo zaategeezezza nti: Munda muli, Owekitiibwa (Ssekimpi) abadde awulira ng’ataweebwa buyinza bumala kutambuza Minisitule, nga ne Baminisita ababeezi abali wansi we abalaba ng’abaweebwa amaanyi okusinga ye ge bamuwa. Ssekimpi abadde avunaanyizibwa ku Bamisita ababeezi babiri okuli Ow’obuwangwa Yusuf Wamala Ggaganga n’Owoobulambuzi Rita Namyalo Kisitu.

Mu mbeera eno mw’abadde akolera, nti yateekayo okusaba kwe ewa Kabaka ng’ayagala naye awummule obuwereeza yeemalire ku bizinensi ze. Mu nsonga ze yateeka mu kusaba kwe mwe muli ebbanga eddene ly’aweerezza. 

Ye nnannyini kibanda ekikyusa ssente ekya Prime Forex Bureau mu Kampala.

Oluvannyuma lw’enkyukakyuka zino, endala ezisuubirwa okuddako kwe kukyusakyusa n’okulonda Bammemba b’Olukiiko oluggya.

AB’E KIBULI BOOGEDDE KU NKYUKAKYUKA

Omwogezi w’e Kibuli Hajj Mohamad Kisambira yagambye nti okuwummuzibwa kwa Ssekimpi takulabamu buzibu kubanga n’eyamuddidde mu bigere Haji Twaha Kawaase muntu waabwe.

Yagambye nti balina obwesige mu bantu abapya abaalondeddwa kyokka bwe baba baweereza balina okukimanya nti Katonda y’abasobozesa okuweereza era tebalina kumwerabira.

Kyokka Sheikh Nuhu Muzaata Batte yagambye nti, Ssekimpi abadde muweereza mulungi era omwesigwa wabula eky’okukkiriza okugendanga mu Masiro n’akwata mu ‘bigali’ kye babadde basangamu obuzibu kubanga kikontana n’Obusiraamu.

EBIKULU ebiri mu nkyukakyuka

Omuwendo gwa Baminisita guvudde ku 21 ne gutuuka ku 25

Ow’ebyenjigiriza, n’Obulimi n’Omuwanika bafunye abamyuka

Katikkiro aweereddwa abamyuka basatu okuva ku babiri b’abadde nabo.

Bataano ku baminisita ababeezi ababaddeko, basigadde mu bifo byabwe. 

Ababadde Baminisita ababeezi babiri kati Baminisita abajjuvu okuli Noah Kiyimba ne Mariam Nkalubo Mayanja. 

Baminisita babiri abapya baggyiddwa mu Lukiiko lwa Buganda

EBIFO EBYAZZEEMU ENKYUKAKYUKA

Dr. Twaha Kawaase ye Mumyuka Owookubiri owa Katikkiro n’ebyenjigiriza. Abadde wa byanjigiriza byokka.

Apollo Nelson Makubuya ye Mumyuka Owookusatu owa Katikkiro ne Ssemateeka. Abadde ku nsonga za Ssemateeka zokka.

Robert Waggwa Nsibirwa kati ye Muwanika. Abadde Minisita ow’okuteekerateekera Obwakabaka.

Noah Kiyimba kati ye Mwogezi, amawulire n’abagenyi. Abadde Minisita Mubeezi mu woofiisi ya Katikkiro.

Dennis Walusimbi Ssengendo kati wa Buwangwa, Ennono n’Obulambuzi. Y’abadde Omwogezi w’Obwakabaka, Amawulire Kabineti, Olukiiko, Abagenyi n’Emirimu.

Christine Mugerwa Kasule kati ye wa Kabineti n’Olukiiko. Abadde wa kikula ky’abantu ne Bulungibwansi.

Dr. Prosperous Nankindu Kavuma kati ye Minisita Omubeezi ow’ebyenjigiriza.

Hajji Amisi Kakomo ye Minisita Omubeezi ow’obulimi.

 

Richard Mulema Mukasa ye Minisita omubeezi ow’ebyensimbi.

EBIKWATA KU BAMINISITA ABAPYA:
Dr. Prosperous Nankindu Kavuma:
  • Azaalibwa Ying. Gerald Majera Lukwago  n’omukyala Angel Nalubega e Kiwawu Busujju. Yazaalibwa February 6, 1978 era wa myaka 37. 
  • Yeddira Nkima era Mukatoliki.
  • Mwana wa mwenda ku baana 13 abazaalibwa bakadde be. 
  • Alina Ddiguli ssatu era eyookusatu ey’ebyennimi (PhD) yagifuna mu 2013 mu University of Western Cape. Mufumbo era bba ye David Kavuma omukugu mu kubudabuda abantu mu kitongole kya  Mildmay Uganda. 
  • Balina abaana bana; abalenzi basatu n’omuwala omu.
  • Munnankobazambogo nga yali Ssenga wa Zambogo wakati wa 1998-99 mu Yunivasite e Makerere.
  • Yaliko omukiise mu Buganda Youth Council ng’akiikirira essaza ly’e Busujju mu 2007-2009.
  • Mu 2010 Kabaka yamulonda okukiikirira Ekibiina ky’Abavubuka ekiyitibwa Ssuubi Lya Buganda okutuusa leero.
  • Ssentebe w’olukiiko olutegeka ensirika z’abakulembeze b’abavubuka mu Buganda.
  • Mmemba ku lukiiko olufuzi olwa Buganda Royal Institute
  • Musomesa mu yunivaasite y’e Kyambogo.
  • Omwezi oguwedde Katikkiro Mayiga yatambudde naye ku lugendo lw’e South Afrika.
Richard Mulema Mukasa: 
  • Yazaalibwa omugenzi Baker Kibuuka Mukasa n’omukyala Immaculate Nakabiito e Mitondo- Kalisizo- Buddu. Yeddira nvubu era Mupolotesitante. Musajja mufumbo era mukaziwe ye Doreen Nankinga Kyazze nga balina abaana babiri era batuuze e Kitiko Mutungo. Yasomera Kijjabwemi, Kisubi (SMACK) ne Makerere era Munnamateeka.
  • Yakolako mu Katende, Sempeebwa Advocates, n’akolako mu Muwema & Mugerwa Advocates oluvannyuma ne batandika Kigozi, Sempala, Mukasa & Obonyo Advocates.
  • January 2011 yatandika obuwereeza e Mmengo ng’omu ku babaka ba Kabaka 10 mu Lukiiko lwa Buganda. 
  • Mu lukiiko luno awereeza  ng’omuwandiisi w’akakiiko k’ensonga za Buganda ez’ebweru waayo
Hajji Amis Kakomo:
 
Musajja musuubuzi nga ye nnannyinni Nam Enterprises. Munywevu nnyo e Kibuli ng’abeera Kawempe.


 

 

Ebyavuddeko Kabaka okusuula baminsita

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...