TOP
  • Home
  • Buganda
  • Abataka si bamativu olwa kkooti ya Kisekwa okukola akasoobo

Abataka si bamativu olwa kkooti ya Kisekwa okukola akasoobo

Added 12th January 2016

MMENGO erina okusalira amangu amagezi eky’ebika okweyunira kkooti enzungu ne birekawo kkooti ya Kisekwa okugonjoola ensonga enkulu ze birina kubanga kirese abazzukulu basobeddwa.

 Omusango gw'ab'Empewo gumaze emyaka mingi mu kkooti ya Kisekwa. EKIF: DICKSON KULUMBA

Omusango gw'ab'Empewo gumaze emyaka mingi mu kkooti ya Kisekwa. EKIF: DICKSON KULUMBA

MMENGO erina okusalira amangu amagezi eky’ebika okweyunira kkooti enzungu ne birekawo kkooti ya Kisekwa okugonjoola ensonga enkulu ze birina kubanga kirese abazzukulu basobeddwa.

Wiiki ewedde nga January 9, 2016 abamu ku b’ekika kya Nakinsige okuli ne Katikkiro waabwe abaabadde bakuhhaanidde ku butaka bwabwe e Mirembe baazirise poliisi bwe yabaleetedde ekiwandiiko kya kkooti ekibagaana okubeera mu kifo kino.

Robert Sempa nga muzzukkulu wa Kyeyune agamba nti, “Enkola eno ey’ensonga z’ebika okuyingizibwa mu kkooti enzungu ne tuva ku nnono omuyitibwa okugonjoola obutakkaanya mu bika, kirina obulabe bunene kye bwolekeza ebika byaffe era nga kyetaaga okusalirwa amagezi mu bwangu.”

Aduumira poliisi y’e Mbalala - Mukono, Rugubwa Kizito ye yasomye ekiragiro kya kkooti y’e Mukono ekyaweebwa omulamuzi Robert Mukanza nga kiyimiriza okutuuzibwa, okusisinkana n’okumanyagana ku butaka e Mirembe nga kkooti erina okusooka okuwuliriza okusaba kw’oludda oluwakanya Ronald Kiwanuka Ssekirime ng’omukulu w’ekika.

Ekika kino kirina amasiga 16 kyokka nga 14 gali mabega wa Ssekirime gwe batwala nga Kyeyune (omukulu w’ekika kino) kyokka amalala okuli Kafuuma kino bakiwakanya.

Sipiika wa Nakinsige, Ishaq Majwala agamba nti, Kkooti ya Kisekwa yawa ensala yaayo ku Kyeyune omutuufu nga ye Ronald Kiwanuka Ssekirime kubanga mu nnono yaffe, Kyeyune ava mu ssiga lya Ssemmanda ng’ate bannaffe baagala obukulu ekitali mu buwangwa bwaffe.”
Majwala ayongerako nti oluvannyuma lw’okusalawo kuno mu 2014, Kyeyune yagenze mu maaso n’okwetaba mu mirimu gy’olukiiko lw’Abataka abakulu b’ebika mu Buganda era mu November 2015 yasisinkana Kabaka n’agattako nti, “Awo kiki ekitugaana okweyagalira mu nnono yaffe.”

Omutaka Yusuf Walusimbi Mbirozankya mu kwogera ku nkaayana mu bika n’abazzukulu okweyongera okugenda mu kkooti enzungu agamba nti, “ Ekinaatereeza ebika kwe kutambulira ku nnono nga kitegeeza buli alina obutakkaanya asaanye okugoberera enkola ze tulina ez’ennono, okugenda mu kkooti kiraga nti waliwo obuzibu bwetwolekedde mu maaso eyo.”

Mbirozankya era awa amagezi nti ensonga nga zigenze mu kkooti ya Kisekwa, kisaanye zireme kutwala bbanga ddene olwo abalina obuzibu bafune okulamulwa okulungi era baleme kukemebwa kugenda mu kkooti enzungu ezitalina kinene kye zimanyi ku bika.

ABEKKOBE NABO  BATTUNKA  MU KKOOTI:

Omuzzukulu Male Mabirizi yatwala Mmengo mu kkooti enkulu ng’agiranga okulemeza Omutaka Byekwaso ku bukulu bw’ekika ky’Ekkobe ng’ate kkooti ya Kisekwa yasala mu 2001 nti Augustine Kizito Mutumba ye Namwama omutuufu kyokka okuva olwo tatuuzibwanga nga Mmengo ekolagana ne Byekwaso ye gw’ayita, ensowole.

Mabirizi agamba nti, “Kkooti eno yawulira omusango KD/08/98 era abalamuzi mwenda ne bakkaanya nga September 26, 2001 era ne baluhhamya obukulembeze bw’ekika mu nnono ya bajjajjaffe.

Abataka b’ekika ky’Ekkobe abaalagirwa okutuula baatuula ne bakkaanya nga tebeesazeemu nti Omutaka Augustine Kizito Mutumba ye Namwama owa 40 era kkooti ya Kisekwa n’emukakasa.

Yatuuzibwa mu nnono ya bajjajjaffe era n’atandika emirimu era emirundi mingi n’akolagana ne Kabaka ne bawanyisiganya n’ebiwandiiko. Ekyewuunyisa, oli gwe balangirira nti Nsowole yasigala naye akyakiika e Mmengo kyokka Mengo n’etabaako ky’ekola kumukomako era bwe yafa ne mutabani we n’atandikira oli we yakoma!

Mmengo tugiwandiikidde emyaka 15 egiyise naye balemeddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaabwe, kye twava twagenda mu kkooti enkulu, Katikkiro Mayiga gy’ayita Kkooti enzungu, tufuneyo ebiragiro ebinaabawaliriza okukola omulimu gwabwe.”

ABEMMAMBA ENNANGIRA BAKOZE OMUKOLO:

Ab’emmamba ennangira bakoze omukolo mu maka ga Polof. John Nagenda e Namulanda okulaba bw’etwala mu maaso ekika kyabwe.

Katikkiro wa Buganda eyawummula, Ying. JB Walusimbi yasinzidde ku mukolo guno n’agamba nti ebika tebikyalambikibwa nga byeyongedde kwetemamu.

Ying. Walusimbi yagambye nti, “Mu kiseera kyange nga ngezaako okulaba nga wabeerawo obumu mu bika n’abantu ba Kabaka okutwalira awamu kyokka omulamwa guno kirabika nga gwerabirwa bannaffe beefunyiridde ku birala.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakulembeze ba Rwampara ku mukolo.

Balaze ebiyinza okuvaako ab...

AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Rwampara, Muky. Kelen Tukamuhirwe ategeezezza nti ng'abayizi beetegeka...

Kkwiini ow'emyaka 94  ne bba Philip 99.

Ebintu 8 Kkwiini wa Bungere...

KKWIINI Elizabeth yagattibwa n'Omulangira Philip (mu kiseera kino ali ku ndiri mu ddwaaliro) nga November 20, 1947...

Fr. Anthony Kakumba Mwanje mu Mmisa eggulo.

'Mweyambise ekisiibo mudde ...

BWANNAMUKULU w'ekigo ky'e Kitovu  Fr. Anthony Kakumba Mwanje awabudde Abakristu ababadde beesambye Omukama olw'okwetaba...

Omulabirizi Kityo Luwalira ng'asaba eggulo mu Kkanisa ya St. Apollo Kivebulaaya  e Bukondo.

Mudde eri Katonda kubanga l...

OMULABIRIZI w'e Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira  akuutidde Abakulisitaayo okudda eri Katonda kubanga ly'ekkubo...

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...