TOP
  • Home
  • Buganda
  • Kabaka asaze omusango gw'ekika ky'Engeye

Kabaka asaze omusango gw'ekika ky'Engeye

Added 26th January 2016

Ensala ya Kabaka ku musango guno eddiridde enkaayana mu kika ky’ Engeye.

 Omutaka Mayanja Ntate (atambulira ku miggo)ng’afuluma e Bulange - Mmengo. Ku kkono ye Robert Kasule, jingo Bazannye (ku ddyo) ne Yakobo Kityo.

Omutaka Mayanja Ntate (atambulira ku miggo)ng’afuluma e Bulange - Mmengo. Ku kkono ye Robert Kasule, jingo Bazannye (ku ddyo) ne Yakobo Kityo.

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asaze omusango gw’ekika ky’Engeye n’aggya ab’omutuba gwa Maseruka ne buzzibwa mu mutuba gwa Kalute nga muno mwe mulina okuva Kasujja, omukulu w’ekika ky’Engeye.

Ensala ya Kabaka ku musango guno eddiridde enkaayana mu kika ky’ Engeye.

Yayanjuddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga e Bulange- Mmengo eggulo ku Mmande mu maaso g’enjuuyi zombi ez’ekika ky’Engeye ezibadde zittunka mu kkooti ya Kisekwa okumala ebbanga okuli Omutaka G.W Kibirige n'Omutaka Yakobo Mayanja Ntate.

ENSALAWO YA KABAKA:

Nsomye n’obwegendereza fayiro y’omusango ogwo n’okujulira kw’abawawaabirwa wamu n’okusemba kw’akakiiko kange akampa amagezi ku misango gy’Ebika.

Nzikiriziganya ku nsalawo ya kkooti ya Kisekwa ng’esingisa abawawaabirwa kati abajulize omusango.

Nnyongera okukkiriziganya ne kkooti ya Kisekwa nti Ssekabaka Daudi Chwa II yakakasa Festo Mayanja ku bukuumi bw’Obwakasujja okutuusa ng’Ekika kyanjudde Kasujja ow’ennono okuyita mu Mutuba gwa Kalute.

Nzikiriziganya n'ensala ya kkooti ya Kisekwa nti olumbe lw'omutaka Alikadi Zibukuyimbwa eyali omukulu w’Ekika ky’Engeye ow’ennono eyazaama mu 1927 terwabizibwanga era tasikirwanga nga Kasujja omukulu w'ekika ky’Engeye.

Nolwekyo bonna ababaddewo nga Bakasujja babadde bakuumi ba ntebe y'Obwakasujja. Nzikiriza ensala ya kkooti ya Kisekwa era njikakasizza wamu n'ebiragiro ebigenderako. Okujulira nkugobye, fayiro ngikomezzaawo.

OLUDDA LWA MAYANJA NTATE LWAJULIRA KU BINO ERA KABAKA BY’AGOBYE:

Kkooti ya Kisekwa awatali kwetemamu ekkiriziganya n'abawaabi era eragira omutaka ow'omutuba gwa Kalute, atuuze Bazzukkulu be aba Kalute balonde omusika wa Alikadi Zibukuyimbwa, Kasujja ow'ennono ayanjulwe ewa Ssaabasajja Kabaka nga bayita mu makubo amatuufu n'oluvannyuma asumikibwe mu mitendera gyonna egiyitibwamu mu kika ky’Engeye.

Kkooti eragidde Omutaka Mayanja Ntate aleete ebitabo byonna n'ebiwandiiko eby'ekika ky’Engeye bye yaggya ew'Omukadde Festa Nabisubi abikwase Kisekwa mu bbanga lya nnaku 30 okuva leero omusango lwe gusaliddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...