TOP
  • Home
  • Buganda
  • Nnaalinnya awadde Katikkiro nsalessale wa nnaku 4 ku by'Amasiro g'e Kasubi

Nnaalinnya awadde Katikkiro nsalessale wa nnaku 4 ku by'Amasiro g'e Kasubi

Added 2nd February 2016

Namikka eyatuuse ekikeerezi ku mukolo Mayiga kwe yalambulizza Obuganda omulimu ogukolebwa mu masiro gano yagambye nti “ Ebigambo byanzigwako era ng’enda kw’ogera bitono.

 Mayiga ng'aliko byagamba Nnaalinya Namikka oluvannyuma lw'omukolo gw'okulambuza Obuganda ebikolebwa e Kasubi. Ekif: Dickson Kulumba

Mayiga ng'aliko byagamba Nnaalinya Namikka oluvannyuma lw'omukolo gw'okulambuza Obuganda ebikolebwa e Kasubi. Ekif: Dickson Kulumba

NNAALINNYA w’Amasiro g’e Kasubi, Beatrice Namikka awadde Katikkiro, Charles Peter Mayiga nsalessale wa nnaku nnya okutuusa Olwokutaano February 5, 2016 nga bwe wataabeerawo ky’ongerwa ku nju Muzibwazaalampanga, agenda kweddiza omulimu guno.

Namikka eyatuuse ekikeerezi ku mukolo Mayiga kwe yalambulizza Obuganda omulimu ogukolebwa mu masiro gano yagambye nti “ Ebigambo byanzigwako era ng’enda kw’ogera bitono.

Katikkiro Mayiga yazzeemu okusaba abatwala Amasiro g'e Kasubi okulaba nga bakwatagana, omulimu guggwe omwaka guno nga Kabaka bwe yalagira.

 

Omulimu guno gukandaliridde era abaguliko mbawadde okutuusa ku Lwokutaano, Katikkiro bw’obeera tosobola kubagambako, ng’enda kugwekwatiramu...” Nnaalinnya yakozesezza omukolo guno n’ayanjula Abalangira Abagabe, Kabaka be yamuweereza okumuyambako ku mulimu gw’e Kasubi okuli Ssemakookiro, Moses Walugembe ne Nakibinge n’abalala ababeera mu masiro, yabasabye okubeera obulindaala singa Olwokutaano lutuuka.

Katikkiro w’Amasiro g’e Kasubi, Ssaalongo Mulumba ye yasoose okwogera n’agamba nti, “Ssebo Katikkiro Abaganda tusaanye okweggyamu enkola y’okuteesa ku ky’okukola ate oli ekimuli ku mutima ne kibeera kirala.

Mayiga ng'afuluma Muzibu Azaalampanga.

 

Enkola eno ezzizza Buganda emabega era buli lukya eginnyika.” Ebigambo by’abakulu bano ababiri abavunaanyizibwa ku masiro byewuunyisizza bangi ate abalala ne baseka n’okukuba mu ngalo empolaampola.

Mayiga bwe yatuuse okwogera, yeebazizza Namikka olw’ebigambo eby’obuvumu by’ayogedde n’okulaga okuyaayaana okulaba ng’Amasiro gamalirizibwa nga Kabaka bwe yalagira nti galina okumalirizibwa omwaka guno.

Katikkiro nga yakatuuka ku Masiro e Kasubi nga February 1, 2016.

Minisita w’ebyobuwangwa, amasiro n’obulambuzi, Denis Walusimbi Ssengendo yasoomoozezza abantu okugoberera obuwangwa bwabwe kuba kwe kutambulira buli kintu era n’ekirwisizaawo omulimu, kwerabirwa kw’ennono.

SSENTEBE W’OLUKIIKO OLUZIMBA ANNYONNYODDE:

Oluvannyuma lw’ebigambo bya Nnaalinnya, Ssentebe w’Olukiiko oluvunaanyizibwa ku kuzzaawo Amasiro gano, Hajj Kaddu Kiberu yategeezezza nti ye ng’ali mu buvunaanyizibwa buno, tagenda kukkiriza kukola mulimu gutatuuse.

Muzibu Azaalampanga efaanana bweti. Abakulira Amasiro tebakyakkiriza bannamawulire kutuuka mu kifo kino kyolaba. Ebifaananyi byonna bya Dickson Kulumba

 

Yagambye nti obuvunaanyizibwa bw’omulimu guno buli ku ye wadde nga tasasulwa naye ayagala kukola kintu kituukiridde.

Yayongeddeko nti balina okukimanya nti waliwo n’ebirala bingi ebikolebwa mu kiseera kino n’ebinaakolebwa nga byali tebyateekebwa mu mbalirira ne pulaani eyakolebwa mu kusooka ng’ate ebintu bya Muzibwazaalampanga bizibu tebyaliko buwandiike bwakugoberera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...