TOP
  • Home
  • Buganda
  • Mukuume eddembe naddala mu kiseera ky'okulonda - Mayiga

Mukuume eddembe naddala mu kiseera ky'okulonda - Mayiga

Added 8th February 2016

Katikkiro agambye nti kino okukikola abazadde balina okukuza abaana n'empisa kuba omuntu akuziddwa n'empisa aba n'ensonyi ate nga waabuvunaanyizibwa.

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ajjukizza Obuganda okukuuma emirembe naddala mu kiseera ky'okulonda n'ekiseera ng'okulonda kuwedde.

Katikkiro agambye nti kino okukikola abazadde balina okukuza abaana  n'empisa kuba omuntu akuziddwa n'empisa aba n'ensonyi ate nga waabuvunaanyizibwa.

Bino kamalabyonna wa Buganda abyogeredde mu lukiiko lwa Buganda olusoose omwaka guno olugguddwawo enkya ya leero (Mmande) omukubiriza w'olukiiko Nelson Kawalya.

Mu kusooka omwami wa Ssabasajja okuva ebweru, atwala essaza lya Mid West mu America, Luzzi Dick Kakande alayiziddwa munnamateeka Richard Mulema Mukasa ne yeeyama okugondera n'okuweereza Kabaka awatali kumutiirira.

Katikkiro Charles Petere Mayiga mu kiseera ky'ekimu ayanjulidde olukiiko obuwanguzi Ssaabasajja bwe yatuuseeko, bwe yawangudde omusango gw'okumugaana okugenda e Bugerere.

Katikiro Mayiga agambye nti buli muntu alina eddembe okwetaaya mu nsi ye, n'olwekyo Kabaka okumugaana okulambula abantu be mu Bwakabaka bwe nga okugenda e Bugerere kwali kutyoboola ddembe lye era n'asaba kireme kuddibwamu.  

Bya Pius Kyandya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...