TOP
  • Home
  • Buganda
  • Kabaka akambuwadde ku Masiro n'awa ebiragiro ebikambwe

Kabaka akambuwadde ku Masiro n'awa ebiragiro ebikambwe

Added 9th March 2016

Kabaka akambuwadde ku Masiro n'awa ebiragiro ebikambwe

 Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II

KABAKA nga tannawa biragiro ku Masiro, yasoose kutuukirirwa abantu ab’enjawulo omuli Abataka, Abalangira n’Abambejja abaamulaze obuzibu bwe bawulira mu Masiro ago obuyinza okugalemesa okuggwa amangu.

Mu bubaka obuyingira omwaka, Kabaka Ronald Mutebi II yakirambika nti Amasiro g’e Kasubi galina okumalirizibwa mu mwaka 2016 era okukambuwala kyaddiridde okumuyitiramu ebigenda mu maaso nga biraga nti omwaka guno gusobola okuggwaako ng’Amasiro tegawedde.

Ensonda e Mmengo zaategeezezza nti ku Mmande, Kabaka yasiimye n’agenda mu Lubiri e Mmengo n’asisinkana abamu ku bakwatibwako ensonga eno wamu n’abawabuzi.

Mu be yasisinkanye mwabaddemu Minisita w’enkuluze era omuwabuzi omukulu mu Lubiri Ambassador William Bill Matovu, Minisita w’ebyobuwanga ennono n’obulambuzi Dennis Walusimbi Ssengendo, Omuwandiisi wa Kabaka ow’ekyama Peter Mpanga, Katikkiro Charles Peter Mayiga n’abalala.

Olwamaze okubasisinkana, Kabaka n’asalawo ekiddako.

Yasazeewo okuyimiriza enkola y’okulambuzanga abantu omulimu gw’Amasiro we gutuuse eyatandikibwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ebadde ebeerawo ku ntandikwa ya buli mwezi ng’ennaku z’omwezi 1 n’alambika nti, “Omulimu Katikkiro aligulambuza abantu omulundi gumu nga guwedde”.

Kuno Kabaka yagasseeko okuyimiriza abaami b’omu Masiro, Katikkiro w’Amasiro Ssaalongo George Mulumba, Nnaalinnya Beatrice Namikka, Mugema w’Amasiro ne Kaggo w’Amasiro era n’agattako nti, “Baliyitibwa ng’Amasiro gawedde okuddaabirizibwa”.

Mu bbaluwa Kabaka gye yawandiise eggulo yategeezezza nti: Emirimu gy'okuzimba amasiro gano gitambudde kasoobo era gitaataaganyiziddwa nnyo kubanga abantu ssi bangi abamanyi ekibadde kirina okukolebwa era ddi?

Emirimu egisigadde gya bakugu era gijja kukolebwa abo abaakwasibwa emirimu egyo. Wabulaakayole n’Abagirinnya bajja kugikwanaganya era bakole ekyetaagisa.

Mu kiseera kino Amasiro gajja kuba maggale olw'okusobozesa abakugu okukola ekyetaagisa.

OLUTALO LWA KATIKKIRO NE NNAALINNYA LWAKAMBUWAZZA KABAKA

Olwokusatu oluwedde lwe lwabadde olulambula olw’omulundi ogwa 28 bukya Mayiga atandika nkola y’okulambuza abantu buli ntandikwa ya mwezi.

Mu kusooka ennambuza zino zaakozesebwanga okusonda ettoffaali kyokka ennambula ezisembyeyo zibadde zifuuse za mbirigo; nga Nnaalinnya Namikka ne ttiimu ye balaga obutali bumativu eri Mayiga ne ttiimu ya Bayinginiya abavunaanyizibwa ku mirimu egy’ekikugu ku nnyumba enkulu mu Masiro - Muzibwazaalampanga.

Okusika omuguwa kwatandika mwaka guwedde era Abazaana abalabirira Amasiro baatuuka n’okwekalakaasa ne baggyawo emikeeka Katikkiro gye yalina okufukamirako mu Muzibwazaalampanga n’afukamira mu ttaka mu lulambuza olwaliwo nga September 1, 2015.

Ennambuza ezaddako nazo zibadde za kaweereege era mu kulambula kwa February 1, 2016 Nnaalinnya Namikka yayimirira mu maaso ga Katikkiro n’amutegeeza nti: Abakugu mbawadde ennaku ttaano, bwe baba tebalina kye batandiseeko nga nze omulimu ngwekwatiramu.

Wabula ennaku zaggwaako era talina kye yakolawo nga kigambibwa nti yali amaze okufuna okuwabulwa nti enkola y’okwekalakaasa Kabaka tagyagala. Kyokka okulaga obutali bumativu kwagenda bugenzi mu maaso era entikko yaabwo yabaddewo ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde March 1, 2016.

Katikkiro olwabadde okutuuka mu Masiro yagenze butereevu mu nnyumba Muzibwazaalampanga era wadde eno tewakkiriziddwaayo bannamawulire, Bukedde yafunye akatambi akalaga Namikka ng’atadde Katikkiro ku nninga ku nkola y’emirimu ey’akasoobo eremesezza okumaliriza Amasiro.

Namikka yasoose kulaga butali bumativu ku ngeri ‘ebizizi’ ebyali bikoleddwa ‘Abagirinnya’ (Sserumpanise ne Wabulaakayole) abakkirizibwa mu nnono, ate gye byawanulwayo akulira ttiimu y’abakugu Jonathan Nsubuga nga tagoberedde bulombolombo.

Yagasseeko okubuuza amaanyi Nsubuga gy’agaggya okufutyanka emirimu egikolebwa ab’ennono ne watabeerawo amukomako!

katikkiro Mayiga ne Nnaalinnya Namikka kabaka abawadde ebiragiro

 Yayogedde ne ku butaagaliza n’effubitizi lye yayogeddeko ng’erigootaanyizza omulimu kubanga mu kuggyayo ‘ebizizi’ okutambulizibwa essubi nga bagamba nti ssi be baali bateekeddwa okukola omulimu, kyokka ebika bwe byasabibwa okuweereza abantu abatuufu ate ne biweerereza ddala abo abaali bakoze omulimu ogwayonoonebwa!

Katikkiro bwe yaweereddwa omukisa okwogera talina kye yayanukula ku bigambo bya Namikka wabula yawadde buwi bweyamu nti, “Omulimu guno gwakuggwa…. Ssaabasajja Kabaka awangaale!” olwo n’assa ekigali mu bibbo n’agenda mu kidaala abantu abalala we baabadde balindidde.

Namikka bwe yagenze mu kidaala yamazeewo akaseera katono ne yeekandagga n’agenda mu nnyumba z’Abazaana n’aleka Katikkiro mu kidaala. Nti bino byonna Kabaka babadde babimunnyonnyola era okumalawo okusika omuguwa okubaddewo, kwe kusalawo okussa ebbali ababadde mu kusika omuguwa omulimu gukwasibwe Minisita Dennis Walusimbi, abakugu n’Abagirinnya gusobole okutambula.

Abamu ku bali mu Masiro baategeezezza Bukedde nti ng’oggyeeko omulimu okutambula akasoobo, olutalo wakati wa Namikka ne Mayiga lweyongeramu amaanyi nga Namikka agamba nti emirimu gy’ateekeddwa okukola ate Katikkiro agiwa bantu balala naddala abavunaanyizibwa ku mirimu egy’ekikugu abakulirwa Nsubuga.

Obukuubagano buno bubadde buzingiramu n’olukiiko olwakwasibwa omulimu gw’okuzimba amasiro gano olukulirwa Hajji Kaddu Kiberu. Wabula Kabaka yeebazizza Katikkiro n’olukiiko lwa Kaddu Kiberu olw’omulimu omunene ogukoleddwa.

Mu byamalirizibwa kuliko bbugwe n’ennyumba z’Abazaana wabula Muzibwazaalampanga eyatandikibwa okuzimbibwa nga January 2013 ku mulembe gwa Ying. J.B Walusimbi akyalemye.

Mayiga bwe yakwata Ddamula mu May 2013 yalaalika nti atandikira ku Masiro era okusonda Ettoffaali ne kutandika era bbuggwe w’Amasiro bwe yaggwa ku kudda ku kizimbe Masengere.

AB’ENNONO N’ABAZAANA NABO BANYIIVU

Bino we bijjidde ng’abakola omulimu ogw’ennono mu kuzimba Amasiro abamanyiddwa nga Abagirinnya balina obutali bumativu era baagaanye okuwaayo omulimu gw'ebizizi ebiwanikibwa mu kasolya ka Muzibwazaalampanga nga bagamba nti babanja obukadde 80 ezirina okubasasulwa.

Erias Sserumpanise nga yeyakulemberamu Abagirinnya okukola ebizizi bino yategezezza nti amaze ebbanga nga yeetawula e Mmengo okufuna ensimbi ez'obukozi bwabwe kyokka nga teri kavaayo.

Kabaka nga tannawa kiragiro kipya ku Masiro, Sserumpanise yabadde amaze okusisinkana Mayiga nti bakiraba ng’abakungu abatassa kitiibwa mu mulimu ogukolebwa ab’ennono y’ensonga lwaki n’ensimbi ze baba beetaaga bamala kuzisimbira kaggo ate nga ssente z’abakugu bazibaweerawo nga baakazisaba.

Abazaana mu masiro nabo baludde nga beemulugunya ku ngeri gye bayisibwamu omuli okubulwa eby'okulya n'okunywa nga bagamba nti kiva ku kuba ng’ensimbi zonna ezikungaanyibwa mu Masiro okuva mu balambuzi abagendayo zitwalibwa Mmengo ne basigala nga beerya nkuta!

Abataka abamu beemulugunya ne ku ngeri Sharifah Kirimuttu Omukongozi wa Kabaka Kintu okusindiikirizibwa ku nkomerero y'omwaka 2015 bwe yagenda mu Masiro okulambika abakozi ku bikulu bye balina okukola kyokka abakungu okuva e Mmengo nga bali wamu n’abaserikale ne bamukanyuga ebweru nga bagamba nti bye yali akola byali bya sitaani.

Kirimuttu yategeezezza Bukedde nti ensonga ezo zonna zibadde zeetaagisa Kabaka okusitukiramu kubanga “Nnyinimu bw’atakwata mu kisibo, embuzi zifa nnaganga!” 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...