TOP
  • Home
  • Buganda
  • Ekiragiro kya Kabaka ku Masiro kitandise okukola

Ekiragiro kya Kabaka ku Masiro kitandise okukola

Added 10th March 2016

Mu kiragiro kino, abalambuzi bonna tebakkirizibwa okutuusa ng’omulimu guwedde ate bbo Abazaana abalekeddwa mu masiro gano, tebakkirizibwa kukyaza bagenyi, okuyingira olina kusooka kufuna lukusa okuva e Mmengo oluvannyuma lw’okulambika ensonga gy’ogenda okukolayo.

 Katikkiro Mayiga ne Nnaalinnya Namikka

Katikkiro Mayiga ne Nnaalinnya Namikka

EKIRAGIRO kya Kabaka ku masiro g’e Kasubi kyatandikiddewo okukola era eggulo gaasiibye maggale nga teri mmotoka eyingirayo ate nga n’abeebigere abayingirayo bakozesa omulyango omutono ogutunudde mu nnyumba ya Nnaalinnya.

Mu kiragiro kino, abalambuzi bonna tebakkirizibwa okutuusa ng’omulimu guwedde ate bbo Abazaana abalekeddwa mu masiro gano, tebakkirizibwa kukyaza bagenyi, okuyingira olina kusooka kufuna lukusa okuva e Mmengo oluvannyuma lw’okulambika ensonga gy’ogenda okukolayo.

Ku Lwokubiri, Kabaka yawadde ebiragiro ku Masiro n’alagira gaggalwe era n’abakungu okuli Nnaalinnya Beatrice Namikka, Katikkiro w’Amasiro Ssaalongo George Mulumba, Kaggo w’Amasiro ne Mugema w’Amasiro n’abalagira okugavaamu omulimu gukolebwe abakugu n’ab’ennono okuli Wabulaakayole ne Sserumpanise abakwatibwako emirimu gy’okusereka egisigadde.

Kabaka Ronald Mutebi era yayimirizza enkola ya Katikkiro Charles Peter Mayiga ey’okulambuzanga Obuganda omulimu gw’Amasiro we gutuuse ebadde ekolebwa buli ntandikwa ya mwezi n’alambika nti okulambuza kwakukolebwa omulundi gumu ng’Amasiro gawedde.

Obuvunaanyizibwa obujjuvu ku Masiro, Kabaka yabukwasizza Minisita w’ebyobuwangwa, ennono n’obulambuzi Dennis Walusimbi Ssengendo era waakuwanga Katikkiro Mayiga lipoota buli lunaku ku bigenda mu maaso mu Masiro.

BOOGEDDE EBIREMESEZZA OKUMALIRIZA AMASIRO

Minisita Walusimbi yategeezezza nti eby’okwerinda by’Amasiro bigenda kusigala nga biggumivu okusobozesa abakugu abali ku mulimu gw’okuzzaawo Amasiro okukola emirimu gyabwe awatali kutaataaganyizibwa ng’okwo okubaddewo Kabaka kwe yayogeddeko mu bbaluwa ye.

Walusimbi yategeezezza nti agenda kuddamu atuule n’olukiiko oluzimbi wiiki ejja okulaba nga bategeka Pulogulaamu empya okunaatambuzibwa enteekateeka y’okumaliriza Muzibwazaalampanga.

Yagambye nti ebiragiro Kabaka bye yawadde bagenda kubigoberera butiribiri. Yatangaazizza nti ebiragiro tebiggyaako bantu ba Kabaka buvunaanyizibwa kwenyigira mu mulimu gwa kumaliriza Masiro era baakukoowoolwa mu kiseera ekituufu naddala ng’ekiseera ky’ebyetaagisa omuli emmuli, essubi, ebinsambwe n’ebirala kituuse.

Eggulo Nnaalinnya Namikka yasisinkanye abamu ku bakungu mu Masiro wamu n’abakwatibwako emirimu gy’ennono okuli Katikkiro w’Amasiro Mulumba, Nnaava Kironde, Ssewava Sserubiri n’abamu ku Bambejja n’Abalangira mu lukiiko olwategekeddwa mu Lubiri lwa Jjunju oluli mu maaso g’Amasiro g’e Kasubi okwogera ku nsonga z’Amasiro.

Omu ku beetabye mu lukiiko luno ataayagadde kwatuukirizibwa yategeezezza Bukedde nti baalaze essanyu ku kyasaliddwaawo Kabaka kubanga okulwawo okumaliriza Amasiro kibadde tekikoma ku kuswaza Buganda wabula kibadde kiweebuula ne Bassekabaka abaagalamizibwa mu Masiro ago ag’ebyafaayo.

Baalaze ezimu ku nsonga ezibadde ziremesezza Amasiro okuggwa omuli:

  • l Okukoonagana wakati w’abakola emirimu egy’ekikugu n’abakola egy’ennono ekyavaako n’okuwanulayo ‘ebizizi’ (emige okutambulizibwa emmuli z’akasolya k’Amasiro) mu July 2015 wakati mu kuwakanyizibwa abakola emirimu gy’ennono.
  • l Okulwawo ennyo okugula ebintu ebyetaagisa mu kuzimba era baawadde eky’okulabirako kya langi eziyiza omuliro okwokya Amasiro eyalindibwa okumala emyezi egisukka ena ng’abaakola ku kugigula bagamba nti baagiragiriza Germany olwo emirimu gyonna ne giyimirira.
  • l Okulwawo okusasula ensimbi naddala ezikwatagana n’emirimu gy’ennono era mu kiseera kino, ab’ennono (Abagirinnya) abakulirwa Eria Sserumpanise baagaanye okuwaayo ebizizi ebipya bye baamaliriza nga December 1, 2015 nga bagamba nti bamala kusasulwa ssente ezaabikoze eziwera obukadde 80. Kino kitutte emyezi 3 nga teri kitambula olw’ebizizi ebyo.
  • l Okusika omuguwa ku ani alina obuyinza obusalawo ku nsonga z’okuzimba nakyo kibadde kiremesezza. Namikka aludde ng’ayogera nti ebintu ebimu bikolebwa teyeebuziddwaako ate nga y’akulira Amasiro ate nga n’olukiiko lw’ekikugu olukulirwa Jonathan Nsubuga lugamba nti ensonga z’eby’ekikugu tezeetaagisa kumala kutwalibwa wa Nnaalinnya kubanga amaanyi ge gali mu nsonga za nnono.

Kkampuni ya Omega Constructions eyaweebwa kontulakiti y’okuzimba Muzibwazaalampanga yamaliriza omutendera ogusooka mu March 2015 olwo obuvunaanyizibwa (sub-contract) n’abugabanyizaako Wabulakayole avunaanyizibwa ku kusereka kyokka ne wajjawo okusika omuguwa ku nsimbi za Wabulakayole nga Namikka agamba nti zirina kuyita mu ofiisi ye kyokka nga Wabulakayole akiwakanya ng’agamba nti zirina kujja butereevu.

Omulimu gwatabuka nga bagugasseemu abantu abagambibwa nti ssi be baali abatuufu okukola omulimu ogwo, nga batunuulidde kimu – ssente!

Ensonga y’ensimbi ezikola omulimu guno nazo zifuuse ensonga. Ensimbi Gavumenti ze yawaayo ku mulimu guno obuwumbi obubiri zaggwaawo mu May 2015 era abavunaanyizibwa ne bateekamu okusaba kwabwe okw’ensimbi endala obuwumbi bubiri nga zino teziweerezebwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...