TOP
  • Home
  • Buganda
  • Abataka bagenze mu Masiro Kabaka n'abagobayo

Abataka bagenze mu Masiro Kabaka n'abagobayo

Added 21st April 2016

KABAKA awabudde Abataka obutaddamu kutuuza nkiiko mu Masiro kubanga yagaggala okutuusa nga gamaze okuggwa.

 kabaka ng'ayogera gye buvuddeko

kabaka ng'ayogera gye buvuddeko

KABAKA awabudde Abataka obutaddamu kutuuza nkiiko mu Masiro kubanga yagaggala okutuusa nga gamaze okuggwa.

Kino kiddiridde Abataka aboobusoloya okugenda mu Masiro ku Ssande ne batuuzaayo olukiiko nga bateesa ku nsonga ez’enjawulo omuli n’abasiige abava mu bika eby’enjawulo abateekeddwa okubeera mu Masiro.

Abataka baakulembeddwaamu omukubiriza w’Olukiiko lwabwe Omutaka Kayiira Gauule abalala kuliko Omutaka Muteesasira, Omutaka Walusimbi, Omutaka Mukalo, nga bali wamu n’akulira omulimu gw’okuzimba Amasiro, Joathan Nsubuga n’abantu abalala.

Abataka okugenda mu Masiro, baamaze kufuna bubaka kuva wa mukongozzi wa Ssekabaka Kintu, Sharifa Kirimuttu eyareese obubaka bwe ku bintu ebiteekeddwa okukolebwa ebika eby’enjawulo n’engeri gye birina okukolebwamu.

Oluvannyuma Omutaka Gajuule yagenze n’asisinkana omuwandiisi wa Kabaka ow’ekyama, Peter Mpanga n’amutegeeza ebibadde mu Masiro, wabula Mw. Mpanga m’amutegeeza nti Kabaka yabadde amaze okuwa ekiragiro eri Abataka bano obutaddamu kutuusa nkiiko mu Masiro kubanga yagaggala.

Kabaka era yayongedde okulungamya nti n’abantu ng’abakongozzi n’abagwa mu biti ebirala abaliko emirimu gy’ebyobuwngwa gye balina okukola mu Masiro tebateekeddwa kusulamu wabula bakole emirimu gino nga bava bweru w’Amasiro.

Kino kyaddiridde abamu ku bakola emikolo mu Masiro okwagala okusula mu Masiro okumala ekiseera kyonna okutuusa bwe banaamaliriza okugakola kyokka ne bawabulwa nti byonna bye bakola babikole nga bava bweru waago.

Omutaka Gajuule bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yagambye nti tayinza kugyogerako kyokka abamu ku baabaddeyo baakakasizza ebyabaddewo n’ekiragiro kya Kabaka ekyaweereddwa.

Mu kusooka, Abataka nga batudde mu lukiiko, omukongozzi Kirimuttu, yasabye omutaka Mukalo okuleeta essanga ly’e Njovu ate ne Mugema w’embiri addemu okugema Olubiri luno (Amasiro).

Abataka abalala baaweereddwa obuvunaanyizibwa obubakwatako nga Muteerasira yalagiddwa okuddamu okuluka ebizizi kuba Mugema teyakola mikolo gyali giteekeddwa kubikolwako nga tebinnawanikibwayo.

Bwe batuuse ku mpagi Sserugattika eyateekebwa mu Masiro, omukongozzi yategeezezza nti yasoba kubanga nayo Mugema teyagikolako mikolo.

Bino byonna biddiridde Kabaka okuyimiriza Katikkiro okuddamu okulambuza abantu Amasiro buli ntandikwa ya mwezi n’agamba nti, kino kiriddamu ng’Amasiro gamaze okuggweera ddala obulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...