
Kabaka ng’akwasa owa St. John Paul Mugwanya Complex engule y’amasomero ga pulayimale ey’empaka za Buganda e Wakiso ku Lwomukaaga.
KABAKA alagidde Oluganda okusomesebwa ku mitendera gyonna mu masomero g’omu Buganda, abayizi baluyige bulungi. “Enteekateeka empya ey’ebyenjigiriza tugiwagire naye ng’olulimi Oluganda luli ku mwanjo.
Bwe tuba tulonda ennimi ez’okusomesa mu masomero gaffe, Oluganda lubeere ku mwanjo,” Kabaka bwe yagambye n’agattako nti buli muntu avunaanyizibwa ku kukuuma olulimi kuba olulimi ly’eggwanga.
Okwogera bino, yabadde ku kitebe ky’ekibiina ekigatta abakulu b’amasomero ga siniya ekya WAKISHA e Wakiso ku Lwomukaaga ng’akwasa engabo eri abawanguzi b’empaka z’amasomero ezitegekebwa Obwakabaka mu kuyimba, amazina ne katemba.
Hands of Grace SSS ye yatutte engabo y’amasomero ga siniya ne cceeke ya 1,500,000/- ate essomero lya St. John Paul Mugwanya Complex yagenze n’engabo y’aba pulayimale ne cceeke ya 1,500,000/-.
Kabaka yakuutidde abazadde okugulira abaana baabwe ebitabo ebiwandiikiddwa mu Luganda kuba nabyo birimu ebyamagezi ebyenkanankana n’eby’Olungereza.
Kabaka yasiimye abawandiisi b’ebitabo by’olulimi Oluganda okuli Micheal Bazzebulala Nsimbi, Solomon EK Mpalanyi, Edward Kawere ne Joseph Lule (bonna bagenzi) ssaako Polof. Livingstone Walusimbi ne Dr. Masagazi Masaazi olw’okusomesa Oluganda.
Beene yasoose kuggulawo kisaawe ekyazimbiddwa WAKISHA nga kibbuddwaamu Ssekabaka Kyabaggu.
Yayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, ssentebe wa Wakiso Matia Lwanga Bwanika, Ssebwana Charles Kiberu Kisirinza, ababaka; Hannington Wakayima Nsereko Musoke ne Medard Lubega Sseggona, RDC Ian Kyeyune era ng’omukolo gwetabyeko Abaamasaza, Abaamagombolola, abayizi, baminisita b’e Mmengo ne Bannabusiro bangi.