
Museveni ne Kabaka e Mmengo mu Lubiri.
TOSOBOLA kwogera ku matikkira ga Ssaabasajja ag’omulundi ogwa 23 nga toyogedde ku Pulezidenti Museveni eyazzaawo Obwakabaka buno oluvannyuma lw’emyaka 30 nga buvuddewo.
Omutaka Kavuma Kaggwa ow’e Kyaggwe agamba nti, Pulezidenti Museveni yakola kinene mu kuzzaawo Obwakabaka era asaana kuzimbirwa kijjukizo e Mmengo ku kitebe ky’Obwakabaka.
“Okuva Obwakabaka lwe bwaddawo nga July 31, 1993 ebintu bingi ebituukiddwaako era ebisaana okujjukira. Buli Kabaka lw’alabika eri Obuganda kiwa abantu essanyu n’emirembe era ne kyongera n’okugatta abantu ba Buganda.
Museveni olw’omulimu gwe yakola kireetedde Buganda okukola enkulaakulana omuli ebizimbe nga Masengere ne Muganzirwazza, n’okutandikawo emikutu gy’ebyempuliziganya nga leediyo ne ttivvi.
Ebizimbe galikwoleka nga Masengere ne Muganzirwazza, bivudde mu nkolagana ennungi eriwo wakati w’Obwakaba ne Gavumenti ya wakati.
Wansi w’obukulembeze bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Abaganda bagenda kuzzaawo Amasiro g’e Kasubi agaali gayidde.
Buli lwe ndaba Ssaabasajja ng’alabiseeko mu bantu, olaba ekitiibwa n’essanyu Museveni bye yakomyawo ebyali byatwesamba ekiseera Obwakabaka kye bwamala nga tebuliiwo. Abantu bazimba ebiyitirirwa ne batyabula amazina n’okuwaayo amakula.
Mu kiseera kino enkolagana nnungi nga tewakyali muntu atangira Kabaka kulambula masaza ge okuli Buruuli ne Bugerere.
Okumanya nga Buganda efunye ebyengera ku mulembe guno, April ku misinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka kyasukka. Enkumi n’enkumi z’abantu abeetabamu byankakasa nti ddala Obote yali atukoze ekizibu.
Kye nalaba e Mmengo ku misinde nkigeraageranya ku nnamungi w’omuntu eyayaniriza Sir Edward Mutesa II, ng’ava mu buwahhanguse mu 1955.
Ng’eyaliwo nga Muteesa assa omukono ku ndagaano ya 1955 siyinza kukyerabira. Nali muyizi mu Namilyango College.
Bino byonna buli lwe mbiraba, nzijukira Pulezidenti Museveni eyazzaawo Obwakabaka nga July 31, 1993 e Naggalabi Buddo. Yakola kinene mu lukuhhana lwa bannamagye olwatuula e Gulu bwe yalagira Obwakabaka buddewo wadde ng’abasinga baali bagaanyi.
Nzijukira ekiseera Obwakabaka kye bwamala nga tebuliiwo okuva mu 1966 okutuuka 1986, Abaganda baali tebakyasobola wadde okuyimirira okumpi n’Olubiri nga n’ekitebe ky’Obwakaba e Mmengo kijjuddemu magye.
Teebereza ku mulembe gwa Obote ne Idd Amin okuddira Olubiri lwa Ssaabasajja ne balutuuma Malire Barracks. Ekitebe ky’Obwakabaka ne bakifuula ekitebe ky’amagye.
Ani yali amanyi nti tuliddamu ne tufuna obukulembeze okuviira ddala ku mutongole ku byalo, aba ggombolola n’abaami b’amasaza. Olw’essanyu lino ye nsonga lwaki tujaguza Amatikkira ga Kabaka buli mwaka.
Buli lwe ndaba byonna bye tutuuseeko bukya Obwakabaka buddawo mu 1993 nneebuuza ekintu kye tusobola okukola ng’Abaganda okwebaza Pulezidenti Museveni bye yatukolera okuzzaawo Obwakabaka.
Jjukira nti Abaganda baalwanira wamu ne Museveni mu lutalo lw’okwenunula ne baggyako Obote.
Nteesa nti abantu ba Buganda basaanidde okuzimba ekijjukizo kya Museveni.
Era nsiima n’okuzimba ebijjukizo by’abantu abalala abakoleredde Buganda nga Ssekabaka Muteesa 1, eyayita abaminsane mu 1875.
Ssaabasumba Joseph Kiwanuka Omuddugavu eyasooka okufuuka omusumba, Apollo Kivebulaaya eyabuulira Obukrisitaayo e Zaire, Burundi, Rwanda ne Semei Nyanzi eyabunyisa enjiri mu mambuka ga Uganda”, Omutaka Kavuma bwe yategeezezza.
BANNABYABUFUZI KYE BAGAMBA
Godfrey Kiwanda Ssuubi minisita omubeezi ow’ebyentambula: Ekijjukizo ekikulu kwandibadde kulaga bye tutuuseeko bukya tufuna Bwakabaka.
Okuzimbira Museveni ekijjukizo ng’omuntu sandikiwagidde, kuba era sisuubira nti kye kiruma Obuganda.
Kye mpagira kwe kulaba nga buli lwe tuba tukuza Amatikkira essaza gye tugakulizza gye twandibadde tuteeka ekijjukizo.
Haji Abdu Nadduli minisita wa guno na guli:
Wadde nga Museveni okusooka teyajja kuzzaawo Bwakabaka, kyokka bwe twasisinkana mu 1981 twamwagazisa ekintu era n’atukakasa nti talina buzibu bwonna.
Mu kiseera kino Obwakaba bwakomawo , ebintu bya Buganda bikomyewo omuli n’ebyapa by’ettaka. Mpagira nnyo eky’okuzimba ekijjukizo kya Museveni.