TOP

Ettoffaali likoze makula meereere

Added 31st July 2016

Ettoffaali likoze makula meereere

 Masengere

Masengere

ENSIMBI ezisoba mu buwumbi 10 ze zaakakuηηaanyizibwa mu nkola y’okusonda ssente okukola emirimu gy’enkulaakulana mu Bwakabaka emanyiddwa nga Ettoffaali.

Katikkiro Charles Peter Mayiga agamba nti ekigambo ttoffaali yakifuna ng’akiggya ku Katikkiro wa Buganda eyawummula, Ying. JB Walusimbi ng’ono bwe yali amukwasa ofi isi y’Obwakatikkiro bwa Buganda nga May 13, 2013 yagamba nti, “Buli Katikkiro alina ettoffaali ly’ateeka ku Buganda ate ekiseera kye bwe kituuka okuwummula, n’omulala n’akola bwatyo.” Ekigambo kino kyakulaakulanyizibwa ne muvaamu enkola y’okukunga abantu okukwatira awamu nga basonda ensimbi ez’okukola emirimu mu Bwakabaka. Omukolo ogwasooka gwali Mityana- Ssingo ne basonda ssente ezisoba mu bukadde 80 nga September 20, 2013.

Okuva olwo, Mayiga n’olukiiko lwa Buganda Twezimbe batalaaze Uganda n’ebweru okutikkula ettoffaali, Obwakabaka budde ku ntikko. Katikkiro yagambye nti “Okuzimbibwa kwa bbugwe w’amasiro g’e Kasubi, okuyooyoota enju z’Abazaana mu masiro ate n’okuteekamu amasannyalaze g’enjuba byonna bivudde mu ttoffaali.” Ebirala kuliko okumalirizibwa kw’ekizimbe Masengere ekyali kimaze emyaka 40 nga kiyimiridde ne kikwasibwa Kabaka ku mazaalibwa ge nga April 13, 2015. Obumu bweyongedde era Mayiga agattako nti okutandikibwa kwa ttivvi y’Obwakabaka ky’ekimu ku bibala by’ettoffaali.

Dr. Masagazi Masaazi ng’ono yaliko Minisita w’Ebyenjigiriza e Mmengo era nga kati y’akulira eggunjiro ly’Obusomesa mu yunivaasite e Makerere, yagambye nti “Katikkiro Mayiga ‘attoffaaliwazza’ Obuganda ne Uganda nga kati mu buli nsonga abantu bakwatira wamu era tumwebaza.

”Ate munnamateeka Peter Mulira yagasseeko nti ettofaali y’emu ku ngeri y’okukulaakulanya Obuganda kuba n’edda, ebizimbe okuli embuga z’amasaza, amagombolola n’ebirala byazimbibwa gavumenti ya Kabaka ku nsimbi zaayo. Ate ye Noah Kiyimba, Minisita w’amawulire era omwogezi w’Obwakabaka, agamba nti Ettoffaali liva mu nkola ya Bulungibwansi kuba n’ennyanja ya Kabaka yasimibwa mu kukwatira wamu ssaako bbugwe ku Lubiri lw’e Mmengo eyakolebwa ebika.

Nga Mayiga tannaleeta ttoffaali, Walusimbi yattukiza ‘Ggwangamujje’ ku lw’amasiro, agaali gakutte omuliro mu 2010. Mu mbeera eyo abantu ba Kabaka e Boston mu Amerika beekolamu ekibiina ‘Ggwangamujje’ ne bagulira Obwakabaka ambyulensi okutumbula ebyobulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...