TOP
  • Home
  • Buganda
  • Lwaki Oluganda lusaana okufuuka olulimi lw'eggwanga

Lwaki Oluganda lusaana okufuuka olulimi lw'eggwanga

Added 31st July 2016

LEERO nga tujaguza amatikkira ga Kabaka, agoberera enkulaakulana y’eggwanga lino talema kwebuuza oba olulimi lutulemesa okukulaakulana obulungi ku sipiidi eyeetaagisa.

 Kabaka ng’abuuza ku bantu be e Kireka.

Kabaka ng’abuuza ku bantu be e Kireka.

Bya KAVUMA KAGGWA

LEERO nga tujaguza amatikkira ga Kabaka, agoberera enkulaakulana y’eggwanga lino talema kwebuuza oba olulimi lutulemesa okukulaakulana obulungi ku sipiidi eyeetaagisa.

Ekiseera kituuse Palamenti etongoze Oluganda lubeere Olulimi olwokubiri ku Lungereza ng’olulimi lw’eggwanga, olukozesebwa mu bitongole, mu Palamenti ne mu mirimu emitongole.

Pulezidenti Museveni bwe yali alayira mu kisaawe e Kololo nga May 12, 2016, yayogera mu Luganda okumala ebbanga ggwanvu.

Mu kampeyini z’okulonda okuwedde, abaali beesimbyewo ku Bwapulezidenti, baatalaaga eggwanga okunoonya akalulu, naye baayogeranga mu Luganda we baakaluubirirwanga okwogera mu nnimi enzaaliranwa.

Olulimu Oluganda kati terukyali lwa Buganda yokka. Oluganda lwogerwa mu Buganda, mu Busoga, Bukedi, Bugisu, Teso n’ebitundu ebirala byonna Ebuvanjuba.

Oluganda lwogerwa mu Mambuka ga Uganda era bw’otuuka mu bibuga Lira, Gulu, Arua n’ebitundu ebirara ebya West Nile, Oluganda balutegeera bulungi naddala mu bibuga n’obutale.

Oluganda lwogerwa e Bunyoro, Toro, Ankole ne Kigezi.

TERUKYALI LWA BAGANDA BOKKA

Mu kulonda lwa 2001, abeesimbawo baali mukaaga era bonna mu kunoonya akalulu baayogeranga Luganda.

Pulezidenti Museveni ava mu Ankole, Aggrey Awori ava Busamia, Chapaa Karuhanga ava mu Ankole, Francis Bwengye ava mu Ankole, Dr. Kiiza Besigye ava Kigezi, ava mu Buganda yali omu yekka Muhammad Kibirige.

Pulezidenti Museveni emirundi mingi buli lw’ayogera eri abantu ku mikolo emikulu egy’eggwanga, olumala okusoma ebiwandiike mu Lungereza ng’ayogera mu Luganda eri abantu.

Tayogera mu Luswayiri era simuwuliranga ng’ayogera ennimi endala ezoogerwa mu Uganda bw’aba ayagala okutuusa obubaka ne butegeerwa Bannayuganda bonna ng’ate abodde abagwira.

Ababaka mu Palamenti abasinga obungi bamanyi Oluganda, bangi mbawulira ku leediyo nga bateesa mu Luganda.

Ate nkirabye okuviira ddala mu 1996 nti bwe bamala okwogera eri abaamawulire mu Lungereza nga badda mu Luganda.

Baminisita ba Gavumenti emirundi mingi bwe wabaawo kye bategeeza ensi, boogera mu Luganda.

Okufananako nga bwe kiri mu South Afrika, oluyimba lw’eggwanga gye luli mu nnimi z’Abaddugavu ne Afrikaan olwa ba Boers, n’oluyimba lwa East African Community lusaana lubeeremu Oluganda kubanga Oluganda lwogerwa mu bitundu bingi ebya East Afrika.

Bw’ogenda mu bitundu by’Obugwanjuba bwa Kenya n’oyogera Oluganda abantu balutegeera bulungi.

Mu Nairobi ne Mombasa abasuubuzi abava e Uganda boogera Luganda n’Oluswayiri. Mu mambuka ga Tanzania, mu bitundu bye Kiziba e Bukoba, Mwanza, Musoma n’okutuuka e Mutukula wonna ku nsalo, abantu boogera Luganda.

Mu Kibuga Kigali mu Rwanda, Oluganda lwogerwa bulungi ne ku nsalo ya Rwanda ne Uganda. Ne bw’otuuka mu kibuga Bujumbula ekya Burundi n’oyogera Oluganda abantu bakutegeera bulungi.

Mu bitundu by’obuvanjuba bwa Congo (Eastern Congo) mu bifo Bukavu, Kivu n’ensalo yonna ne Uganda abantu Oluganda balwogera bulungi n’ebyobusubuuzi babiddukanyiza mu Luganda n’Oluswayili.

Oluganda lusomesebwa mu yunivasite za Uganda; leediyo nnyingi mu Buganda, Busoga, Bukedi ne Bugisu zoogera mu Luganda.

Okuva mu 1956 okutuusa Obote lwe yalumba Olubiri mu 1966, Oluganda lwalina ekiseera kya ddakiika15 buli kawungeezi ku leediyo ya Bungereza BBC eyaweerezanga amawulire ag’Oluganda mu bitundu bya Afrika ebitali bimu.

Amawulire ago gaasomebwanga omugenzi Peter Kalanzi nga pulogulaamu eyo eyitibwa “Kaliisoliso”.

Nsaba Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka esabe BBC kino kiddemu okubaawo kubanga Abaganda bangi kati mu London abasobola okukola pulogulaamu eyo.

Nsaba n’ababaka ba Palamenti abava mu Buganda ensonga eno bagikoleko n’amaanyi, baleete ekiteeso ekitongoza Oluganda okubeera olulimi lw’eggwanga era kiyingizibwe mu Konsitityusoni ya Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...