
Katikkiro Charles Peter Mayiga
KATIKKIRO Charles Peter Mayiga alagidde ebitongole by'Obwakabaka okuteekawo essaawa emu buli lunaku kisobozese abakozi baabyo okukola dduyiro nga kino kyakutumbula enkola y'emirimu.
"Emizannyo kye kimu ku bintu ebyongera okutugatta nga tukolera wamu nga ttiimu.... Ate ng'oggyeeko ekyo gituyambala okubeera abalamu obulungi okusobola okukola emirimu. N'olwekyo kiyise nti buli kitongole kiwengayo abakozi baakyo akadde okukola dduyiro," Katikkiro Mayiga bwe yagambye.
Katikkiro Mayiga era yasabye abakozi b'ebitongole okulaba nga bakolagana wamu n'okubeera ambaasada wa munne mu bantu.
Bino yabyogedde atongoza empaka z'emizannyo gy'ebitongole by'Obwakabaka e Bulange-Mmengo ku Lwokuna nga September 15,2016.
Emizannyo gino gyatandikibwa omwaka oguwedde nga giwomeddwaamu ekitongole ky'emizannyo era Buganda Land Board ye yatwala ekikopo oluvannyuma lw'okusinga ebitongole byonna.
Minisita w'emizannyo e Mmengo, Henry Ssekabembe yasabye ebitongole okutwala empaka zino ng'ekikulu era bazeetegekere kuba ziteereddwamu emizannyo 17 era zitandika wiikendi eno.