TOP
  • Home
  • Buganda
  • Abataka basisinkanye ku nsonga za Buganda dickson kulumba

Abataka basisinkanye ku nsonga za Buganda dickson kulumba

Added 2nd October 2016

ABATAKA ab’ebika mu Buganda balaze obwetaavu bw’okwongera okusomesa abantu ku nsonga z’ettaka naddala ery’Obwakabaka okwewala okwekalakaasa n’okutwala Kabaka mu kkooti, ebikolebwa abavubuka mu kiseera kino.

 Omutaka Kayiira Gajuule, Omutaka Mbuga Kasirye Kyadondo, Mawesano ne Nakigoye (owookubiri okuva ku ddyo) nga baakamaliriza olukiiko lwabwe e Bulange- Mmengo ku Lwokuna.

Omutaka Kayiira Gajuule, Omutaka Mbuga Kasirye Kyadondo, Mawesano ne Nakigoye (owookubiri okuva ku ddyo) nga baakamaliriza olukiiko lwabwe e Bulange- Mmengo ku Lwokuna.

ABATAKA ab’ebika mu Buganda balaze obwetaavu bw’okwongera okusomesa abantu ku nsonga z’ettaka naddala ery’Obwakabaka okwewala okwekalakaasa n’okutwala Kabaka mu kkooti, ebikolebwa abavubuka mu kiseera kino.

Bino byabadde mu lukiiko lwabwe olwatudde e Bulange ku Lwokuna bwe baabadde boogera ku bigenda mu maaso mu Bwakabaka.

Abataka okwogera bino kiddiridde omuvubuka agamba nti wa kibiina kya Nkobazambogo okugenda e Bulange ku Lwokusatu lwa wiiki eno nga balaga obutali bumativu ku ngeri Katikkiro, Charles Peter Mayiga n’ekitongole kya Buganda Land Board gye bakuttemu ensonga z’ettaka ekyavuddeko okutwala Kabaka mu kkooti n’okwekyayisa abantu ba Ssaabasajja ababeera ku ttaka ly’Obwakabaka.

Omuvubuka Male Mabiriizi yagenda mu kkooti omwezi oguwedde ng’awawaabira Kabaka ku nsonga z’ettaka.

Omutaka Mbuga Kasirye Kyaddondo yategeezezza nti, “ Ensonga zino zeetaaga okwogerwako naye eddagala tulizudde nti tulina okuddayo okutambuza buli nsonga ya Buganda mu nnono yaayo nga bw’erina okutambuzibwa.

Buli ekikolebwa mu Buganda kya nnono okuli ettaka ate n’obukulembeze mu mitendera gyonna bwa nnono.” Baagasseeko nti ensonga z’ettaka zirina okutunulwamu n’okukakasa nti buli nsonga esooka kukkaanyizibwako nga w’etuukira ewa Kabaka nga yeekenneenyezeddwa okwewala okuleka amaloboozi agalaga obutali bumativu.

Ku by’ettaka, bakkaatirizza nti wateekeddwa okubaawo okusomesa okw’omuggundu, abantu mu Buganda bakenkuke ensonga z’ettaka kubanga kye kyobugagga ekisinga amaanyi Buganda ky’erina.

Mu birala bye baakoonyeeko, gwe musomo gwe baategese nga November 11, 2016 ku Hotel Africana, okusomesa bazzukkulu baabwe ku bikwata ku nnono n’obuwangwa bwa Buganda nga bwe birina okutambuzibwa nga guli wansi w’Omulamwa “ Ennono ya Buganda gy’evudde, weeri ne ggyeraga.”

Omutaka Muteesasira Keeya Ttendo Namuyimba akulira ekika ky’Engo yagambye nti buli kika kyasabiddwa abantu 20 nga buli omu wakusasula 50,000/- ne 100,000/- ng’era bano be bagenda okuddayo mu bika byabwe basomese bannaabwe.

Mu lukiiko luno mwe baasisinkanidde ab’ekibiina ky’Olulimi Oluganda nga bano baabasabye okwongera amaanyi okulusomesa abantu n’okulambika empandiika yaalwo eri abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....