TOP

Kabaka azzizzaawo okulanya

Added 28th February 2017

KABAKA azzizzaawo okulanya okubadde kwakoma emyaka 12 emabega n’ategeeza nti kwali kwayimirizibwamu olw’ensonga y’okulongoosa n’okuddaabiriza embiri.

 Kabaka (wakati) ng’ali n’abeddira Olugave mu Lubiri e Mmengo. Amuddiridde ku ddyo ye muyimbi Mesach Ssemakula.

Kabaka (wakati) ng’ali n’abeddira Olugave mu Lubiri e Mmengo. Amuddiridde ku ddyo ye muyimbi Mesach Ssemakula.

KABAKA azzizzaawo okulanya okubadde kwakoma emyaka 12 emabega n’ategeeza nti kwali kwayimirizibwamu olw’ensonga y’okulongoosa n’okuddaabiriza embiri.

Yagambye nti,“Empisa ey’okulanya nnungi era yadda nnyo mu Buganda, Abataka n’ebika bye bakulembera bulijjo edda bakiikanga okusobola okutuukiriza enjogera nti akiika embuga amannya ensonga.

Naye olw’ensonga ezikwatagana ku kulongoosa n’okuddaabiriza embiri, emikolo egy’okulanya gyayimirizibwamu naye kati tuli basanyufu olw’okuddamu okwaniriza ebika era ng’Aboolugave mmwe mulidde empanga.”

Bino Kabaka yabyogeredde mu Lubiri e Mmengo ku Lwomukaaga ku mukolo abeddira Olugave kwe baalanyidde mu maaso ge okumutegeeza ebigenda mu maaso mu kika.

Omutanda yayongedde n’agamba nti, “Tusanyuse okumanya ebifa mu kika ky’Olugave n’okulaba abantu baffe bangi be tubadde tuludde okulaba. Tubeebaza emirimu gye mukola n’obuwagizi bwamwe eri Obwakabaka ne Nnamulondo. Kirungi ffena okukolera awamu kiryoke kisobozese abantu baffe okwekulaakulanya n’okweggya mu mbeera zaabwe.”

Yabakuutidde okukuuma ennono n’obuwangwa awamu n’obutonde bw’ensi n’agamba nti amanyi bulungi obukulu bw’ekika kino mu nnono n’obulombolombo bwa Buganda bw’atyo n’asiima emirimu emikulu egikolebwa abasiige mu kika kino eri Obwakabaka.

KABAKA ASIIMYE OMUTAKA GRACE SSEMAKULA:

Mu ngeri ey’enjawulo njagala okusiima ennyo Omutaka Grace Ssemakula. Obulamu bwe bwonna bwetooloolodde ku kwagala Buganda ne Nnamulondo ng’agirwanirira n’okugikolera.

Tukimanyi nti ng’akyali muvubuka era munnamawulire, yali omu ku baalwanirira okwefuga kwa Buganda ne Uganda.

Mu myaka egyaddirira okuggyawo Obwakabaka yali musaale mu kukunga abantu ng’ayita mu lupapula lwe olwa Ngabo.

Wano jjuuzi mu myaka gya 1980, ye n’Abataka banne beetaba mu nteeseganya nnyingi ne gavumenti eya wakati okuzzaawo Obwakabaka.

Mu nkiiko ezasooka ng’Obwakabaka buzzeewo, yali muteesa mulungi era ng’aluhhamya n’okuwa amagezi amalungi ku buli nsonga.

Ebbanga lino lyonna abadde muwulize, abadde mukozi nnyo ate nga muntu wa mmizi.

Mu kwogera kwe okwamusomeddwa Mukyalawe Irene ‘Najjuma,’ Ssemakula yagambye nti asabira Kabaka lukye lumu ng’alina obuyinza obujjuvu.

Omutaka Fred Katende Kasana (akulira Omutuba omuva Ndugwa) yasomye alipoota omuli ebigenda mu maaso mu kika okuli okununula obutaka bwaabwe, okuyigiriza Aboolugave okugoberera enkulaakulana y’amaka entuufu nga ku kino Kabaka yalagiddwa ekifaananyi ekyakubwa ekiraga amaka g’Omuganda bwe galina okufaanana.

Kasana yagambye nti “ Ebintu ebyo byetwakanunulako twabitaddeko Abayima okwewala ensobi ezakolebwa emabega, okutumbula eby’obulambuzi, tugenda kusimba emiti okukuuma obutonde bw’ensi ng’era tukolagana ne bannaffe Abajapani abalina ekifo we bakuumira Olugave obutasaanawo.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...