TOP
  • Home
  • Buganda
  • Omubaka Simeo Nsubuga asabye Kabaka azzeewo enkola y'okusolooza ettoffaali

Omubaka Simeo Nsubuga asabye Kabaka azzeewo enkola y'okusolooza ettoffaali

Added 5th April 2017

Omubaka Simeo Nsubuga asabye Kabaka azzeewo enkola y'okusolooza ettoffaali

 Omubaka Simeo Nsubuga

Omubaka Simeo Nsubuga

OMUBAKA w’e Kassanda South mu Palamenti, Semeo Nsubuga asabye Kabaka asiime enkola y’ettofaali eddewo kubanga yakola ebirungi bingi mu nkulaakulana y’Obwakabaka nga tennayimirizibwa omwaka oguwedde.

Nsubuga yagambye nti “ Amazima galina okuvaayo ebintu bye tusobodde okufuna enkulaakulana Buganda gye tuseeko naddala mu mulembe guno Omutebi naddala mu nkola ey’ettofaali weyabererawo.

Kyetusaba ettofaali liddewo nga tusaba Kabaka asiime enkola eno eddemu etambule. Nga ffe Bannassingo tuli beetegefu kubanga gwe tunuulira ekizimbe ekyo Masengere, Bbugwe w’amasiro e Kasubi n’ebirala tebibangawo.”

Enkola y’ettofaali yatandikira Ssingo era Nsubuga ng’ava e Ssingo agamba nti “ Kyokka bakama baffe kyebabeera bakola kwe kulambika enkola eno bwenakolebwa, buli muntu amanye bwe n'atambuzibwa oba batugambe nti wiiki nnamba Katikkiro ajja kujja eyo e Ssingo mwetegeke, ffe nga tukola omulimu ogutwetaagisa.”

Bino abyogeredde ku mukolo amaggombolola okuli Mut I Bukuya 1,575,000, Myanzi,    870,000/-,Kikandwa 1770000/-, Kiganda  750,000/- okuva e Ssingo ne Muti I Mazinga Ssese 916,000/- kwebaletedde Oluwalo e Mmengo ku Lwokubiri April 4,2017 nga bano bakulembeddwamu Omumyuka wa Mukwenda asooka David Musoke nga wonna wamu baleese ensimbi obukadde mukaaga.

Minisita w’ettaka, obulimi n’Obutonde bw’ensi , Ying. Martin Kasekende nga yeyakiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mukolo guno yategezezza nti ensonga wakugimutusaako okulaba ng’etunulwamu bwatyo neyebaza Bannassingo olw’okujjumbira enkola y’oluwalo lwaabwe.

Ying. Kasekende yasabye abantu ba Kabaka nti “ Mujjumbire okwewandiisa ku ttaka ly’Obwakabaka kubanga y’emu ku ngeri egenda okubayamba okutukkiriza n’okunyweza enkola y’Oluwalo eri Obwakabaka.”

Ye Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki yakubiriza abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna okwetegekera Olunaku lwabwe olunakuzibwa mu ssaza ly’e Mawokota nga May 20,2017.

Ku Lwokubiri lwa wiiki ejja nga April 11,2017, eggombolola  Ssabawaali Gombe- Kyadondo yegenda okukiika mu nkola y’Oluwalo era Omwami Dr. Eric Sserugo yasabye abantu mu kitundu kye okuvaayo n’amaanyi nga basonda ssente ezinabafuula eggombolola esinga mu nkola y’oluwalo mu mwaka guno

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...