TOP
  • Home
  • Buganda
  • Buloba Kabaka gy'akulizza Amazaalibwa kifo kya byafaayo

Buloba Kabaka gy'akulizza Amazaalibwa kifo kya byafaayo

Added 13th April 2017

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II, yasiima Amazaalibwa ge ag’omulundi guno, agakulize mu muluka gw’e Buloba ku ssomero lya Lubiri High School e Nabukalu - Lukwanga.

 Essomero lya Lubiri High awagenda okubeera emikolo gy’Amazaalibwa ga Kabaka.

Essomero lya Lubiri High awagenda okubeera emikolo gy’Amazaalibwa ga Kabaka.

Buloba muluka ogusangibwa mu Ggombolola ya mumyuka Wakiso, mu ssaza ly’e Busiro.

Omuluka guno gutudde ku bugazi bwa sikweya mayiro 15, gulina ebyalo 5 okuli; Buloba Bunwa Kapeeka Zooni, Bwotansimbi Kiweesa Sserugoye zoone, Kasero Kirimamboga Ttoni, Kalambi -Kiwumu ne Bukasa Bukulu zooni.

Buloba muluka mukulu mu Bwakabaka bwa Buganda, era gulina ebyafaayo ebiwerako omuli n’omugga Mayanja gwe bagamba okuba nga gwazaalibwa buzaalibwa.

ERINNYA BULOBA

George Willian Nsubuga, ow’Omuluka gw’e Buloba agamba; Erinnya Buloba, lyava ku mugga Mayanja ogwo ogugambibwa nti gwazaalibwa muntu, abantu bangi baagendangayo n’amalobo okuloba ebyennyanja n’ensonzi.

Oluusi abaana be bbanga ku bakadde baabwe okugenda okuloba ebyennyanja, kale nga bwe babanoonya nga tebabalaba nga babuuza ku bannaabwe abali okumpi nti gundi alazewa? Nga baddamu nti "Baagenze Kuloba." N’abantu abakulu nga b’atera okwogera nti kaηηende ndobe ku byennyanja, olwo erinnya Buloba ne likala ku kitundu kino.

EBIFO BY’EBYAFAAYO EBIRI MU BULOBA

1. Omugga Mayanja nga guviira ddala Sseguku ne gutuukira ddala ku mugga Kiyira, guwanuuzibwa nti gwazaalibwa muntu era balongo, waliwo Mayanja Wasswa ne Mayanja Kato, gwe gwawula disitulikiti y'e Wakiso ne Mpigi, era gwawula amasaza Busiro ne Mawokota. Gugaawulira e Naziri -Buloba era ne gwawula Busiro ne Busujju. Omugga guno era gwe gwawula ggombolola ya Mumyuka Wakiso ne Ssaabagabo Nsangi.

2 Olusozi Bwotansimbi. Kuno kwe kuli emyeso egyayesebwanga Bassekabaka ab'edda, ku lusozi kuno bajjangako okwesa, era ku mayinja kwonna kuliko ebinnya by'omweso ebyasigalako. Ssaalongo Issa Malunda, ssentebe wa Bwotansimbi Kiweesa Ssrugoye Zooni awasangibwa olusozi luno agamba nti, Ekituluma ekifo kino baakigula, naye obuwangwa bwaffe bugenda kuzikirira kuba bagenda kuzimbawo amayumba.

Omukyala eyagula olusozi luno mmwegayirira atulekereewo ekifo kino, naye kye mmanyi bw’anaatuuka okuzimba ayinza okusendawo, ebyafaayo byaffe ne bisaanawo. Nsaba Mengo eveeyo erwanirire ebifo byaffe eby’ennono kuba kino nakyo kirabika kirugenda”. Ku lusozi wano Ssekabaka Winyi okuva e Bunyoro bwe yali ajja e Buganda, naye we yatuukira n’asooka ayesa ku mweso, yajja n'embwa ze era ebigere byazo we zaasitama nabyo weebiri. Waliwo n’ekyoto kye baakumanga okufuna ekitangaala n’oluzzi mwe baanywanga amazzi, naye kati lwakalira.

Omugga Mayanja e Naziri - Buloba, wano we gwawulira disitulikiti y’e Wakiso ne Mpigi era we gwawulira amasaza Mawokota ne Busiro.

3 Ekifo Wanga, kya buwangwa mu kika ky’Aboobutiko era bagendayo okukolerayo emikolo gy'ekika kyabwe.

4 Omuti Sserukululengejja, awaaziikibwa Omutaka Mukiibi Ssebukko, Jjajja w’ekika ky’Olugave, n’abaana be mu kiswa ekiriwo, era Aboolugave nabo bagendawo okukolerawo emikolo. Omuti guno omugavu omunene kwe kuva ensibuko y’omubala gw’Abolugave ogwa “sseruku lulengejja simanyi lulingwira” Ku muti guno kuliko emiti etaano okuli; omuvule omunene we waaziikibwa Mukiibi, emiti ebiri emitonotono be baana be, ate omuti omutono ye mukyala we Nabunnya. Era waliwo n'olubiri lw’Aboolugave omusibuka Jjajjaabwe Mukiibi Ssebukko.

5 E Buloba we wali n'obutaka bwa Namasole Nansikombi azaala Ssekabaka Kamaanya e Kasengejje, obusangibwa ku kyalo Bunwa mu LC ya Buloba Bunwa Kapeeka, Nansikombi ye yali omuzaana wa Ssekabaka Ssemakookiro azaala Ssekabaka Kamaanya.

LUBIRI HIGH SSOMERO LYA SSAABASAJJA

Sarah Nagujja Kikomeko akulira essomero lino agamba bwati; Essomero lino lisangibwa ku kyalo Nabukalu okumpi ne Buloba. Lino ssomero lya Ssaabasajja, yasiima ne tulitandikawo mu 2010 naye abadde tajjangako ku ssomero lye, kale emikolo gy’Amazaalibwa ge okubeera wano mukisa munene era lw’agenda okuliggulawo mu butongole.

Twatandikawo n’ebizimbe ebitonotono, naye kati tulina ebizimbe eby’amaanyi bye tuzimbye, era ekizimbe kino ekinene kye tumalirizza kye tutegese okukwasa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng’ekirabo ky’amazaalibwa ge ag’emyaka 62, era tukakasa ajja kukisiima.

Ekizimbe ky'essomero kifaanana Twekobe e Mmengo. Twayagadde okuggyayo obubonero bwa Buganda. Twayagadde abantu bwe batuuka ku ssomero lya Lubiri High, bamanye nti ddala bali mu Buganda.

EBYAFAAYO BY'ESSOMERO LYA LUBIRI HIGH

Lino ssomero lya Ssaabasajja Kabaka wa Buganda nga lyatandikawo ku mirembe gya Ssekabaka Muteesa I mu Lubiri e Mmengo, oluvannyuma lw'Abazungu okujja mu ggwanga okusomesa eddiini. Lyatandikibwawo kusomesa Abalangira n'Abambejja okufuna obugunjufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengedo alayiziddwa ku...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

Muka Muzaata ataddewo obukw...

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata...

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo  akulir...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...