TOP

Owa Buganda Land Board addizza minisita w'ebyettaka omuliro

Added 5th May 2017

AKULIRA ekitongole kya Buganda Land Board (BLB) Kyewalabye Male alumbye Minisita w’ebyettaka Betty Amongi ku kiragiro kye yawadde akakiiko ka pulezidenti akanoonyereza ku by’ettaka, kanoonyereze ku nkola ya ‘Kyapa mu ngalo’ n’agamba nti by’ayogerako tabimanyi.

 kiyamba oyo ali ku ttaka kubanga kirinnyisa n’ebbeeyi y’ettaka ate ne bw’obeera oyagala okwewola mu bbanka oyanguyirwa. “Njagala okutegeeza Bannayuganda ettaka lyabwe ze Mayiro 9,000, Buganda k’erudde ng’ebanja Gavumenti. Lino Mmengo ly’egabako ebyapa, lusuku lwa Kabaka lwe yasazeewo agabanyizeeko abantu be ng’ayita mu kubawa ebyapa.” Kizito bwe yategeezezza. Siraje Kizito owa Bukedde ng’asiibula Kiwalabye Male, akulira Buganda Land Board bwe yabadde tannalinnya mmotoka ye ku Lwokuna. Yakedde ku ‘Ekyenkya’ kya Bukedde Ttivvi.

kiyamba oyo ali ku ttaka kubanga kirinnyisa n’ebbeeyi y’ettaka ate ne bw’obeera oyagala okwewola mu bbanka oyanguyirwa. “Njagala okutegeeza Bannayuganda ettaka lyabwe ze Mayiro 9,000, Buganda k’erudde ng’ebanja Gavumenti. Lino Mmengo ly’egabako ebyapa, lusuku lwa Kabaka lwe yasazeewo agabanyizeeko abantu be ng’ayita mu kubawa ebyapa.” Kizito bwe yategeezezza. Siraje Kizito owa Bukedde ng’asiibula Kiwalabye Male, akulira Buganda Land Board bwe yabadde tannalinnya mmotoka ye ku Lwokuna. Yakedde ku ‘Ekyenkya’ kya Bukedde Ttivvi.

“Minisita ono by’ayogerako tabimanyi, abakugu mu minisitule ye basooke bamusomese naddala ku bikwata ku nkola ya liizi alyoke abyogereko,” Kyewalabye bwe yategeezezza.

Yabadde ayogera n’aba Bukedde ku kitebe kya Vision Group ku Lwokuna, ku ngeri akakiiko gye kaatandiseemu emirimu gyako.

Yagambye nti kikyamu minisita okulagira okunoonyereza ku nkola ya liizi ate ng’enkola eno eri mu minisitule ye yennyini ey’ebyettaka gy’akulembera.

Yagambye nti okugaba liizi si kipya kubanga kibaddewo okuva mu 1964, palamenti ya Uganda lwe yateekawo ekitongole kya BLB nga Uganda yaakamala okufuna obwetwaze.

Yagasseeko nti, minisita asaanye okusooka yekkaanye enkola y’okugaba liizi agitegeere kubanga ebitongole bingi ebigaba liizi ate nga liizi eri ne mu ssemateeka wa Uganda.

“Ekyapa mu ngalo kyaleeteddwa kwanguyiza bantu abaapunta ettaka lyabwe nga tebalirinaako bwannannyini okusobola okufuna obwannanyini,” Male bwe yategeezezza.

Yagambye nti kya nnaku minisita okukola sitatimenti ng’eyo kubanga tewali kyapa kigabibwa kuva Mmengo nga Gavumenti temanyi kubanga sitampu ekubwa ku kyapa ya gavumenti n’omusolo gwonna gusasulwa mu Gavumenti.

Yagasseeko nti akakiiko bwe kaba kaakunoonyereza ku ‘Kyapa mu ngalo’ nga bwe kaalagiddwa, abakungu ba ddembe okutuukirira BLB n’ebannyonnyola.

Mu bintu minisita bye yabadde yeebuuza n’okutuuka okuwa ekiragiro akakiiko kanoonyereze ku kiri emabega wa ‘Kyapa mu ngalo’ y’engeri ettaka lya Mayiro ate gye baatandise okuligabako liizi.

Male yagambye nti, omuntu ne bw’abeera aweereddwa liizi ku ttaka lya Mayiro, tekyuka esigala Mayiro kubanga tebaligabaako bwannannyini bwa nkomeredde.

Ye akulira okuteekerateekera n’okupunta ettaka mu BLB, Bashir Kizito yategeezezza nti, akakiiko okukola okunoonyereza bakyaniriza n’essanyu kubanga kigenda kuyambako Bannayuganda okumanya byonna ebikwata ku ttaka.

“Tubadde tumenyeka nnyo kubanga omulimu gw’okusomesa abantu ku ttaka tubadde tugukola ffekka. Naye kati akakiiko kagenda kuyambako okusomesa Bannayuganda,” Kizito bwe yategeezezza.

Yagaseeko nti, liizi kiri mu ssemateeka wa Uganda era enkola ya ‘Kyapa mu ngalo’ terina tteeka lyonna ly’emenya era nabo aba BLB, tebalina tteeka lye bamenye. Yagasseeko nti, ekyateekesaawo BLB mu 1964, kwali kugaba liizi ku ttaka abazungu lye baali baddizza Uganda.

Yagambye nti ebitongole okuli BLB, Uganda Land Commission, District Land Boards, Namirembe Diocesan Development Organisation ne Kampala Archdiocese Land Board bikkirizibwa okugaba liizi ku ttaka lye birinako obuyinza era kiri mu mateeka.

Yagasseeko nti mu tteeka ly’ebyettaka erya 1998, n’omuntu alina obwannannyini ku ttaka lya Mayiro asobola okugaba liizi ku ttaka lye.

“Endagaano ya 1900, yagabira abantu batono obwannannyini ku ttaka. Eno enkola Katikkiro gye yatongozza, egenda kuyamba abo abatalina bwannannyini okubufuna ku ttaka kwe bali era omuntu wa ddembe okugaana oba okukkiriza.” Kizito bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, omuntu anaaweebwa liizi, bw’enaaba eweddeko wa ddembe okugizza obuggya oba okuddayo ku nkola y’okuwa obusuulu, ekyapa ne kisazibwamu wabula n’ategeeza nti okubeera n’ekyapa kiyamba oyo ali ku ttaka kubanga kirinnyisa n’ebbeeyi y’ettaka ate ne bw’obeera oyagala okwewola mu bbanka oyanguyirwa.

“Njagala okutegeeza Bannayuganda ettaka lyabwe ze Mayiro 9,000, Buganda k’erudde ng’ebanja Gavumenti.

Lino Mmengo ly’egabako ebyapa, lusuku lwa Kabaka lwe yasazeewo agabanyizeeko abantu be ng’ayita mu kubawa ebyapa.” Kizito bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....