TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Wassibwewo akalulu k'ekikungo ku kyapa mu ngalo - Beti Kamya

Wassibwewo akalulu k'ekikungo ku kyapa mu ngalo - Beti Kamya

Added 11th May 2017

MINISITA wa Kampala Beti Kamya alaze akabi akali mu nkola ya ‘Kyapa mu ngalo” eyaleeteddwa ekitongole kya Buganda Land Board (BLB) n’agamba nti bwe kiba kyetaagisa wateekebwewo akalulu k’ekikungo Abaganda beesalirewo enkola gye baagala ku ttaka lyabwe.

 Beti Kamya

Beti Kamya

Kamya yagambye nti, Mmengo nga tennaba kuleeta nkola eno, yandibadde esooka okusomesa bantu n’ebalaga ettaka lye boogerako lye baagala okugabako liizi ey’emyaka 49.

Yalambuludde ebyafaayo by’ettaka mu Buganda n’agamba nti mu ndagaano ya 1900, Ssekabaka Chwa yaweebwa mayiro 350 bwe yakisa omukono abaana be ne bagabana ettaka era mutabani we omukulu George Mawanda n’atwalako ekitundu ekisinga obunene.

Edward Muteesa n’atwalako, kyokka Muteesa bwe yazaama, abaana be ne bagabana ettaka ne Kabaka Ronald Muwenda Mutebi n’atwalako.

Kamya yagambye nti, nga bamaze okugaba ettaka mu baana okuva ku Chwa okutuuka ku Kabaka Mutebi, ettaka liba terikyawera mayiro 350 libeera ttono ddala n’agattako nti, Mmengo esaanye okulaga ettaka lye boogerako erinaagabwako liizi.

“Kituufu waliwo ettaka lya Kabaka era waddembe okuligabako liizi, okulitunda oba okugabirako omuntu kyokka bwe kituuka ku ttaka lya Buganda, Abaganda balina okuwulirizibwa.” Kamya bwe yagambye.

Yagambye nti waliwo ettaka eddala Gavumenti lye yaddizza Mmengo okuli mayiro 8 ery’Amasaza, yiika 45 ez’Amagombolola, ettaka lya Bannamasole ow’e Kanyanya n’e Makindye ne Mayiro 9,000 ezitakyawera olw’Amasaza agaakutulwa ku Buganda.

Kamya yagambye nti, Mmengo bw’eba eyogera ku ttaka ly’Abaganda, lirina kugenda mu Lukiiko ne liteesebwako so si kulwanjulira bwanjulizi byasaliddwaawo. Abaganda bwe baba tebamatidde bituukiddwaako mu Lukiiko kuba olukiiko lulondebwa Kabaka, wateekebwewo akalulu ak’ekikungo.

Yagaseeko nti kikyamu Kabaka ne Katikkiro okusalawo ku ttaka ly’Abaganda kuba tebalirinaako buyinza.

“Ettaka ly’Abaganda busika bwaffe Omuzungu yali abutuggyeeko ne bukomawo omuli mayiro 9,000, ery’Amasaza, ery’Amagombolola busika bwaffe abaagabana baagabana 8,000 era abasinga bali e Mmengo bajjajjabwe baagabana eryasigala 9,000 ly’abo abataagabana.” Kamya bwe yategeezezza.

Yagaseeko nti, Katikkiro Charles Peter Mayiga munnamateeka era akimanyi bulungi nti ettaka lya liizi ligwa akatale buli lunaku oluyitawo omuguzi bw’amanya ebbanga erisigaddeyo nga ttono takuwa ssente ate n’ettaka lya liizi toyinza kulisikiza mwanawo naye tebakinnyonnyola bantu.

“Nze njagala bannyinnyonnyole ttaka ki kwe bagaba ebyapa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...

Eyanzaalamu abalongo ansuddewo

NZE Sylvia Nayiga, mbeera mu zzooni I e Kawaala mu Kampala. Omusajja anneefuulidde oluvannyuma lw’okunzaalamu abalongo....

Pulaani y'okulonda mu 2021 ...

KU Lwokuna nga January 14, 2021 lwe lunaku lw’okulonderako ababaka ba Palamenti mu ggwanga lyonna. Omulamuzi Simon...

OC asse omutuuze e Lugala -...

OLUTALO poliisi mwe yakubidde omutuuze amasasi n’afiirawo lwatandise na kusobya ku mukazi eyakedde okugenda okukola...