TOP
  • Home
  • Buganda
  • Katikkiro atongozza oluguudo Neebalamye Mayanja oluva e Seguku okudda e Naggalabi

Katikkiro atongozza oluguudo Neebalamye Mayanja oluva e Seguku okudda e Naggalabi

Added 16th May 2017

Katikkiro atongozza oluguudo Neebalamye Mayanja oluva e Seguku okudda e Naggalabi

 Katikkiro ng'atongoza oluguudo Neebalamye Mayanja olugenda e Naggalabi

Katikkiro ng'atongoza oluguudo Neebalamye Mayanja olugenda e Naggalabi

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga atongozza oluguudo Nnebalamye Mayanja oluva e Seguku okudda e Naggalabi n'alagira Disitulikiti zonna mu Buganda okukuuma n'okukulaakulanya ebifo by'Obuwangwa mu bitundu byabwe.

Oluguudo luno lwa Byafaayo mu Buganda ng'Omulangira agenda okufuuka Kabaka, lyayitamu okugenda e Naggalabi okutikkirwa.

Ssentebe wa Disitulikiti ye Wakiso, Matia Lwanga Bwanika ategeezezza nti bwerunaamalirizibwa obulungi lwakuwemmenta obuwumbi 15.2 bwatyo neyebaza abantu mu kitundu kino olwa kaweefube gwe bataddemu okulaba nti oluggudo luno lukolebwa

Omukolo gwetabiddwako Baminisita ba Kabaka,Omubaka Ssempala Kigozi, Ssentebe wa Divizoni y'e Ndejje Sulaiman Ssejjengo, Kaggo Patrick Mugumbule n'abalala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...