TOP
  • Home
  • Buganda
  • Nnaalinya Namikka ayimbuddwa okuva e Luzira

Nnaalinya Namikka ayimbuddwa okuva e Luzira

Added 21st May 2017

Nnaalinya Namikka ayimbuddwa okuva e Luzira

 Nnaalinnya Namikka

Nnaalinnya Namikka

NNAALINNYA w’Amasiro g’e Kasubi, Beatrice Namikka ayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’okumusasulira ebbanja lyonna ery’obukadde 27, ezaabadde zimusibisizza.

Abambejja n’Abalangira, baakedde kweyiwa ku kkooti enkulu mu Kampala ku Lwokutaano nga balinda Namikka era bwe zaaweze essaawa 3:00 ez’oku makya, Namikka n’aleetebwa mu bbaasi y’amakomera n’abasibe abalala.

Ye n’abantu be baagenze ew’omulamuzi Flavia Nassuuna Matovu, ne basasula ssente zonna obukadde 27 ezibadde zimubanjibwa, n’ateebwa era obwedda abambejja bagamba nti ekikolwa ky’okusiba Namikka tekyakoleddwa mu mutima mulungi wabula kyagendereddwaamu kumuweebuula. Ensonda zaategeezezza nti Kabaka yasiimye n’awaayo ssente zonna okusobozesa Namikka okuyimbulwa obunnambiro.

Ku Lwokuna, Nnaalinnya Namikka yakwatiddwa bawannyondo ba kkooti, oluvannyuma lw’okuggya ssente obukadde 24 ku bakyala babiri; Juliet Namiiro ne Faridah Kinene ab’e Matugga bwe yabaguza ettaka ery’empewo eriweza yiika nnamba eriri ku kyalo Katadde mu Wakiso, ku Plot 17 Block 94 Kyaddondo.

Baasoose kufuna kiragiro kya kkooti oluvannyuma lw’okugitegeeza nti baawa Namikka ssente obukadde 24 ng’abaguza ettaka eryo ze baamusasulira mu masiro e Kasubi, nga waaliwo n’omulangira Namugala Mawanda, nti kyokka oluvannyuma ne bakizuula nti ettaka lino teryali lya Namikka, lyali lya ssenga we. Okuva olwo babadde bamubanja ssente zaabwe nga takkiriza na kubasisinkana, bbo kwe kwekubira enduulu mu kkooti enkulu.

Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu, kwe kuyisa ekiragiro ekimukwata olw’okulemererwa okusasula Juilet Namiiro ne Faridah Kinene ssente ze yabatwalako.

Ekiragiro kyayita mu April wa 2017 kyokka ne batamufuna, kwe kuyisa ekirala ekyafulumiziddwa nga May 11, 2017 ekyayisiddwa omulamuzi Flavia Nassuuna Matovu. Bawannyondo ba kkampuni ya WAKA Associates, baakutte Namikka ne bamutwala mu maaso g’omulamuzi Nassuuna n’amusindika e Luzira oluvannyuma lw’okulemererwa okusasula ssente 27,154,200/- ezimubanjibwa, kyokkan’ayimbulwa ku Lwokutaano. Wabula bawannyondo ba WAKA Associates baagambye nti bakyamubanja ssente ze baakozesezza okumunoonya n’okumukwata kyokka baabadde tebannazibalirira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba KCCA nga basiba sseng’enge ku kibangirizi.

KCCA yeddizza ekibangirizi ...

ABAVUBUKA e Kamwokya ababadde bawambye ekibangirizi ky’ettaka lya KCCA basobeddwa bw’ekizinzeeko n’ekikubako olukomera...

Nanyonga (owookubiri ku, kkono) ne Mmeme nga bazannya KCCA.

Meeme ne Nanyonga: Omu yazi...

RUTH Meeme ne Racheal Nanyonga babasi ba mupiira. Bazanyiddeko ku ttiimu y’eggwanga (She Cranes), era bawangudde...

Lagu (ku ddyO), Spice Diana ne Rema Namakula.

Omusawo awabudde ku bagenda...

ABASAWO bawabudde ku baagala okutonera omuyimbi Evelyn Lagu ensigo basooke babakebere. Ku mukolo gw’okwoza emmotoka...

Rev Kisakye

Okusiiba si kwa nnaku 40 zokka

ABAKKIRIZA abeenyigira mu kusiiba okw’ennaku 40 babuuliriddwa okwongera okubeera n’okukkiriza mu Katonda nti yekka...

Fr. Kabanda.

Ekkubo ly'omusaalaba libeer...

NG’OGGYEEKO Olwokutaano Olutukuvu olutambuzibwako ekkubo ly’omusaalaba, mu kisiibo tulagirwa okutambuza ekkubo...