TOP
  • Home
  • Buganda
  • Engeri Mayiga gye yasensulidde akakiiko ensonga za Buganda ku ttaka n'amatiza abakatuulako

Engeri Mayiga gye yasensulidde akakiiko ensonga za Buganda ku ttaka n'amatiza abakatuulako

Added 26th April 2018

Ab’akakiiko nabo bamwetondedde nti tebalangirangako kuggyawo ttaka lya mayiro.

 Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’ayogera mu kakiiko eggulo. Emabega y’omu ku bakozi abayamba ku kakiiko.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’ayogera mu kakiiko eggulo. Emabega y’omu ku bakozi abayamba ku kakiiko.

BYA ALICE NAMUTEBI

Ab’akakiiko nabo bamwetondedde nti tebalangirangako kuggyawo ttaka lya mayiro.

Mayiga yakulembedde ekibinja ky’abakungu okuva e Mmengo okwabadde Omulangira David Wasajja, Ssaabawolereza w’e Mmengo David Mpanga, amyuka Katikkiro owookusatu Apollo Makubuya, Omutaka Gajuule n’abalala.

Baayanjulidde ssentebe w’akakiiko k’ebyettaka omulamuzi Catherine Bamugemereire ekiwandiiko kya miko 18 mwe baamusabidde abannyonnyole baani abaamuwa amagezi era abaaleeta ekiteeso eky’okuggyawo ettaka lya mayiro.

Mayiga yasoose kusomesa kakiiko ebyafaayo bya Buganda mwe yannyonnyoledde nti Obwakabaka bubaddewo emyaka egisoba mu 800 nga bufugibwa ba Kabaka era nga tewali ntalo ne bwe kituuka ku ttaka omuli erya mayiro n’ensikirano.

Yagambye, “Oweekitiibwa kyankuba wala bwe nasoma lipooti yo gye wawa Pulezidenti Museveni ng’ogamba nti ettaka lya mayiro liggyibwewo era gye mpitaayita abantu bagamba nti ekigendererwa ky’akakiiko kyandiba nga kyali kya kunyigiriza Buganda na kugiggyako ttaka lyayo”.

Yayongedde nti, “ekizibu ky’ettaka si kuggyawo mayiro era bwe muba mulowooza mayiro y’ereese obuzibu, kano mu kagudde kubanga tewali bujulizi ku kino n’abantu bagyagala nnyo.

Ettaka lya mayiro lya njawulo era lyannyikira mu ngeri gye tutambuzaamu ensonga z’ettaka mu Buganda lwaki ne Amin bwe yawera Obwakabaka mu 1975, ministule y’ebyettaka yasigala ekyagaba ebyapa bya mayiro era nga bikkirizibwa mu mateeka.

Kati bw’ogamba nti wasigalewo ttaka lya nsikirano (Customary), erya liizi, n’ery’obwan-nannyini (freehold) naye erya mayiro liwerebwe oba ligattibwe mu nkola zino essatu mu kifo kya mayiro waakiri liyitibwe mayiro ey’ensikirano oba mayiro ya liizi ogenda kuba oleese enkola empya etemanyiddwa mu Buganda ne mu mateeka era kiba kitegeeza nti n’amateeka galina okukyuka!

MAYIRO BW’EGGYIBWAWO KIKI EKIDDAKO?

Mayiga yabuuzizza nti singa mayiro eggyibwawo kiki ekiddako eri abo abalina ebyapa bya mayiro? Biba byakusazibwamu nandiki!

Yajjukizza nti bw’otunuulira endagaano ya 1900 eyagabanya ettaka, Kabaka wa Buganda ye yekka akyalina ebyapa mu mannya ge, abalala baagenda babikyusa.

Nti kati bw’oggyawo ebyapa bya mayiro kaba ng’akakodyo k’okuggyako Buganda ettaka ate nga mu Uganda yonna Buganda y’erina ettaka abantu lye basinga okwettanira olw’ebbeeyi yaalyo.

Yalabudde nti n’ekiteeso kya gavumenti okuggyako abantu ettaka lyabwe ne basasulwa oluvannyuma, Buganda tekkiriziganya nakyo kubanga nako kakodyo okunyigiriza Buganda erina ettaka eriri ku katale.

Yagambye ensonga enkulu erina okukolebwa yaakutumbula nkola ya ‘Kyapa mu ngalo’ ku buli muntu abeere ku ttaka nga mugumu nti alina ekiwandiiko ekikakasa obwannannyini. Naye ensonga y’okuggyawo mayiro egenda kwongera kuleeta buzibu mu kifo ky’okubumalawo.

“Bwe muba mugamba nti ettaka lya mayiro lye liremesezza ebibuga okukulaakulana kino mbasekeredde kubanga ebizimbe eby’amaanyi omuli amalwaliro, amasomero n’enguudo byakolebwa wakati wa 1940- 1970 nga mayiro weeri naye lwaki abakulembeze mu biseera ebyo baasobola okubikulaakulanya!

Ebimu ku bizibu Uganda bye tutubiddemu ku ttaka kwe kudibya etteeka lya Buganda erya ‘‘Bbusuulu and nvujjo law’. Edda omuntu bwe yaweebwanga ekibanja, ng’awa obusuulu n’envujjo.

Okugeza bw’aba ku kibanja alimirako mmwaanyi, nga buli lw’akungula alina okuwa omutongole emmwaanyi ezigya mu bunene bw’ekibanja era nga zino zituuka n’ewa Kabaka.

Naye kati nnannyini ttaka talina ngeri gy’afuna mu muntu alina yiika z’emmwaanyi ku ttaka lye y’ensonga lwaki afuna omugagga alina emmundu n’amutunza ettaka ye n’abeegoberako”.

Katikkiro bwe yakkaatirizza. Yasabye Gavumenti efube okutereeza enkwata ya ssente za ‘Land fund’ egende ng’egula bannannyini ttaka abasenze bafune obuweerero era bawandiisibwe bafune ebyapa era efube okulaba ng’amateeka ge yateekawo naddala ku ttaka gateekebwa mu nkola era gagonderwa.

Yasabye buli kitundu kiweebwe omukisa okwekolera ku nsonga zaakyo ez’ettaka kubanga be bamanyi obuwonvu n’obukko bwazo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...