TOP
  • Home
  • Buganda
  • Emyaka 5 egya Katikkiro Mayiga: Ebituukiddwaako n'ebikyagaanyi okuggwa

Emyaka 5 egya Katikkiro Mayiga: Ebituukiddwaako n'ebikyagaanyi okuggwa

Added 14th May 2018

Katikkiro Charles Peter Mayiga awezezza emyaka etaano ng’akutte Ddamula n’atuuka ku buwanguzi obuwerako wakati mu kusoomoozebwa.

Katikkiro Charles Peter Mayigang'akutte 'Ddamula'

Katikkiro Charles Peter Mayigang'akutte 'Ddamula'

Obwakatikkiro bwa Mayiga bwatandika nga May 12, 2013 ng’adda mu bigere bya Ying. JB Walusimbi kyokka Ssaabasajja Kabaka yamukwasa Ddamula mu butongole nga May 29, 2013.

Mu kwogera kwe okwasookera ddala, mu Lukiiko lwa Buganda nga June 14, 2013, yasengeka ensonga ssemansonga ez’okutandikirako; Okukuuma Nnamulondo, Okugabana Obuyinza ne Gavumenti eya wakati mu nkola eya Federo, Okununula Ettaka n’ensalo za Buganda yonna gye ziyitira, Okukunga abantu okukola obutaweera, n’okuzzaawo Obumu.

Mu Ssemasonga zino, Mayiga mwe yaggya emirimu gye yeetuma okukolako mu bwangu okuli; Okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi n’ag’e Wamala, okutereeza enzirukanya y’emirimu, okumaliriza ekizimbe ekiri mu luggya lwa Bulange, ensimbi Buganda z’ebanja gavumenti eya wakati, okukola ku bakulembeze ab’ensikirano ab’ekimpatiira n’enteeseganya ku Byaffe Ng’ayita mu nkola ez’enjawulo okuli;

Ettoffaali, Oluwalo, Okukiika embuga, Mayiga akumyekumye abantu ba Buganda okwenyigira mu kuvujjirira emirimu gy’Obwakabaka nga batoola ssente.

Ekimu ku bivudde mu kino z’ensimbi ezisukka mu buwumbi obutaano ze baasonda okumaliriza ekizimbe Masengere kati ekikolebwa emirimu egy’enjawulo.

Mayiga afudde ofiisi y’Obwakatikkiro bwa Buganda essibwamu Ekitiibwa mu Buganda ne Uganda yonna. Yenna aligiddamu alina okwesiba ebbiri kuba mu bintu bingi ajja kuba agerageranyizibwa ku Mayiga.

Ebirala bingi abikoze kyokka mu kusoomoozebwa okutali kumu naddala bwe kituuka ku kumaliriza amasiro g’e Kasubi ng’abamusojja bagamba nti yasanga omulimu guno gusondeddwaako ensimbi bwatyo n’asuubiza okugumaliriza mu 2014.

We twogerera omulimu gukyalemye. Abantu baasonda ensimbi z’ettofaali nga zino zaakozesebwa okuzimba bbugwe ku masiro, enju Muzibu-azaalampanga omugalamidde Bassekabaka we gwatuukira 2016 nga yeetaaga ensimbi obuwumbi bubiri n’ekitundu okumaliriza.

Gavumenti ye yalina okuwaayo ensimbi zino kyokka tezibawanga ng’abakungu mu minisitule y’ebyobulambuzi beekwasa obusongasonga ne batuuka n’okugamba mbu basooke babalage ensaasaanya y’ensimbi z’ettofaali ku mulimu guno bwe yali! Ng’ayogerako ne Bukedde gye buvuddeko, omwogezi w’Obwakabaka Noah Kiyimba yagamba nti,

“Bannaffe abo beekwasa bwekwasa kubanga ensaasaanya twagibawa ate ekirala omulimu gw’amasiro mu kusooka gwalowoozebwa nti gwa kutambula mangu naye oluvannyuma ne kizuulwa nti gwetaaga obukugu n’obugumiikiriza kubanga tegulinga kuzimba nsiisira.”

MAYIGA ATEEBA GGOOLO ESOOKA

1 Emu ku ggoolo Mayiga gye yasooka okuteeba, ye Kabaka ne Museveni okuteeka omukono ku ndagaano y’Obwasseruganda nga August 1, 2013. Eno yali ekwata ku EBYAFFE Buganda by’emaze ebbanga ng’ebanja. Wabula emyaka etaano bukya eteekebwako mukono gigenda kuwera nga bitono ebyakatuukirizibwa;- Museveni yaakakomyawo ebyapa nga 280, ensimbi ezibanjibwa mu kuliyirira Obwakabaka nga Muteesa House- London, Poloti 52 ku luguudo Kampala awali kati ekizimbe King Fahd, emmotoka za Rolls Royce tezisasulwanga, ebitongole bya gavumenti ne disitulikiti zikyagaanye okusasula obusuulu ku bizimbe by’amasaza era wadde mu March 2018, Museveni yateekawo olukiiko lwa Baminisita okukola ku ‘BYAFFE’, enkiiko tezituula.

2 Mayiga akyalina okukola okugumya abamu ku bantu ba Buganda abeeralikirivu nti endagaano eno yaleetera abantu e Bugerere, Buluuli ne Kooki okwagala okwekutula ku Buganda. Amasaza abiri agasooka Kabaka asobodde okugalambula kyokka emyaka etaano gigenda kuwera nga tannalambula Kooki.

3 Mu December 2016 Omumbejja Kyamulabi yavaawo bubi naye ng’amulanga okuyingira mu nsonga z’Abalangira. Ab’Olulyo olulangira balowooza nti tebalabiriddwa bulungi ensonga ebobbya Katikkiro omutwe era abamu omusango ne bagussa ku Mayiga, kyokka ate abantu be bamu be bagamba nti Katikkiro talina kuyingira mu nsonga zaabwe.

4 Okusoomoozebwa okulala kuli ku Bataka abakulu b’obusolya abalowooza nti nabo emirundi mingi balekeddwa ebweru. Bangi ku bo balowooza nti buli ekisalibwawo bonna balina okwebuuzibwako so ng’ate emirundi egimu bamu na bamu abeebuuzibwako. Dr. Adam Kimala Nsubuga nga Katikkiro w’ekika ky’Emmamba eyawummula agamba nti “ Abataka balekeddwa emabega mu bintu bingi naddala okusalawo ku bikolebwa okutwala Buganda mu maaso.

KYAPA MU NGALO EFUNA OKUWAKANYIZIBWA

KYAPA MU NGALO nkola Mayiga gye yaleeta okutaasa ettaka lya Buganda yafunamu okuwakanyizibwa ng’abantu batya enkola ya liizi ey’emyaka 49.

Israel Mayengo eyaliko Minisita mu Ofiisi ya Katikkiro wa Buganda agamba nti enkola y’okutunda ettaka lya Buganda mu nkola ya liizi yeetaaga okwongera okukubamu ttooci, obutaleka bantu ba Buganda nga mombooze.

Ebitongole okuli BUCADEF, BICUL, Nnamulondo Investments Ltd wamu n’ebirala bizziddwaamu amaanyi kyokka ate waliwo ebirala nga K2- Kkampuni y’Obwakabaka ey’amasimu ng’eno mu February 2018 yavudde ku mpewo.

Ate kyo ekittavvu ky’abavubuka ki Essuubiryo Zambogo SACCO nakyo kitagala!

Peter Mulira ng’ono yaliko Minisita w’Obwegassi e Mmengo agamba nti, “Katikkiro akoze bingi mu bbanga lino kyokka yandikoze bingi singa enkola ya Buganda eyaliwo eddawo.

Abantu bangi balina endowooza nti Buganda yakula lwa ttaka lyokka naye n’obulunzi bw’aliko.

Noolwekyo Katikkiro asaanye asse essira ku kuzzaawo obulimi, obuyonjo mu maka, okuzimba amasomero g’ebyemikono saako n’obukolero obutonotono okugeza Buganda yalina faamu e Jjeza, ebyo tubizzeewo.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...