TOP
  • Home
  • Buganda
  • Nnabagereka akubirizza abazadde okuteekateeka abaana mu kifo ky'okubateekerateekera

Nnabagereka akubirizza abazadde okuteekateeka abaana mu kifo ky'okubateekerateekera

Added 30th June 2018

NNABAGEREKA Sylivia Nagginda akubiriza abazadde okussa essira ku kuteekateeka abaana okusinga okubateekerateekera.

Bino abyogeredde Butto - Bweyogerere mu Munisipali y'e Kira mu Kyadondo bw'abadde akuliddemu omukolo gw'okukwasa abayizi abawanguzi mu kivvulu ky'ennyimba ne katemba ekitegekebwa Obwakabaka bwa Buganda buli mwaka ng'omukolo ku mulundi guno guyindidde gubadde Ku Luyanzi College emisana leero ku Lwomukaaga.

Nnabagereka era akubirizza abazadde okuyigiriza abaana baabwe olulimi Oluganda saako n'okubakuliza mu nneeyisa ey'obuntubulamu.

Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda, Amb. Emmanuel Ssendaula yeebazizza Minisitule y'ebyenjigiriza e Mmengo olw'enteekateeka y'okutumbula ebitone by'abayizi kati emyaka 13 be ddu.

Ye minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza e Mmengo, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma ategeezezza nti ekivvulu ky'omwaka guno kibumbujjidde wansi w'omulamwa ogugamba nti 'Omwana ateekeddwateekeddwa obulungi mpagi mu kukuza Buganda.

St. Lawrence S.S Ssonde - Kyaggwe lye lyasinze mu mpaka za Ssiniya ne liddirirwa St. Andrew Kaggwa Gombe High School Kawaala ate St. John Paul Mugwanya Complex okuva e Buddu ne lisinga mu masomero ga Pulayimale ne liddirirwa Kitende Modern Junior School okuva e Busiro nga gonna gakwasiddwa engabo n'ensimbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Minisita Nakiwala Kiyingi a...

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu...

Poliisi ereese Ikara

GOOLOKIPPA Tom Ikara asaze bakyampiyoni Vipers SC ne URA FC ekikuubo bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri...

Hajji Farooq Ntege akubye a...

MUNNABYABUFUZI Hajji Farooq Ntege akubye enkata abasiraamu be ggombolola ya ‘Makindye West’ bwa bawadde lukululana...

President Museveni

Pulezidenti Museveni akoze ...

Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu Magye ga UDPF

Brig.Flavia Byekwaso alondeddwa okwogerera amagye ga UPDF

Brig. Flavia Byekwaso alond...

UPDF elonze Brig Gen Flavia Byekwaso mu kifo ky'omwogezi wa UPDF ekibaddemu Brig. Gen. Richard Karemire ate Karemire...