TOP
  • Home
  • Buganda
  • Bajeti ya Buganda eya 2018/19 ya buwumbi 96

Bajeti ya Buganda eya 2018/19 ya buwumbi 96

Added 10th July 2018

BUGANDA eyisizza embalirira ya buwumbi 96, ey’omwaka gw’ebyensimbi 2018/2019 ng’eno etadde essira ku kusereka enju Muzibu Azaala Mpanga mu masiro e Kasubi.

  Minisita w’e Mmengo Wagwa Nsibirwa.

Minisita w’e Mmengo Wagwa Nsibirwa.

BUGANDA eyisizza embalirira ya buwumbi 96, ey’omwaka gw’ebyensimbi 2018/2019 ng’eno etadde essira ku kusereka enju Muzibu Azaala Mpanga mu masiro e Kasubi.

Embalirira era etadde essira mu kwongera amaanyi mu ndabirira y’emirimu gya Kabaka, enteekateeka ya ‘Mmwaanyi Terimba’ n’obulimi bw’emmere.

Omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa ye yagyanjudde mu lutuula olw’omusanvu olw’Olukiiko lwa Buganda olwa 25 olwatudde e Bulange - Mmengo eggulo n’ategeeza nti Obwakabaka bwakussaawo kkampuni ya yinsuwa, nga bajja kussaawo ne bboodi egenda okutunda emmwaanyi n’okufuula embuga z’amasaza n’amagombolola ebifo eby’okwekulaakulanya.

“Mu mbalirira eno, okuddukanya emirimu gy’Enkuluze kuteereddwaako 8,571,729,000/-, Muzibu Azaala Mpanga e Kasubi 1,200,000,000/- ate okuddaabiriza Twekobe 450,000,000/- Emikolo n’Enkiiko z’Obwakabaka 902,088,000/- , eby’empuliziganya 12,477,263,209/-, okuddaabiriza amasiro amalala n’ebifo eby’ennono kuteereddwaako omugatte gwa 666,000,000/-,” Nsibirwa bwe yategeezezza ng’asoma embalirira mu lukiiko olwakubiriziddwa sipiika Nelson Kawalya.

Okutumbula olulimi Oluganda kuweereddwa 23,200,000/- ate okuluhhamya obukulembeze mu bika 261,700,000/-.

Ebinaakolebwa mu kuggusa enkola ya Federo 1,872,411,100/-, okulabirira ettaka 8,500,000,000/- ate okuddaabiriza n’okuddukanya ebizimbe by’Obwakabaka 3,803,418,659/- Nsibirwa yategeezezza nti Obwakabaka bwakweyongera mu nteekateeka z’okusiga ensimbi n’okwekulaakulanya nga bakolaebintu eby’enjawulo okuli okukola ekisenge ky’amawulire (Press Room), 150,000,000/-, okutandika ekittavvu kya Buganda (Mengo Finance Company) 1,000,000/-, okutandika Weerinde (Buganda Insurance Company) 5,000,000,000/-, okuzimba ekisaawe ky’omupiira e Njeru 2,000,000,000/- n’ebintu ebirala ng’okusiga ensimbi biweereddwa 20,195,487,909/-.

Mu kutumbula eby’obulambuzi, Mmengo eteeseteese okukola pulaani ey’okukulaakulanya ennyanja ya Kabaka 100,000,000/-, okulabirira n’okuteekateeka ebyobulambuzi, pulaani y’ekyalo eky’ebyobuwangwa e Katabi - Busiro, okumaliriza ebibumbe, okuteeka amaanyi mu mwoleso gwa Buganda, empaka z’obwannalulungi n’ebirala nga byonna awamu biwereddwa 1,154,234,400/-.

Eby’enjigiriza biweereddwa 16,812,636,567/-, ebyobulamu 3,725,637,884/- omuli okuddukanya eddwaaliro ly’e Nsangi n’okugula ambyulensi ey’oku mazzi n’ensiisira by’ebyobulamu, abavubuka 1,305,039,000/-, Bulungibwansi n’ekikula ky’abantu 283,055,000/- n’okukola ku nsonga z’abantu ba Buganda ebweru wa Buganda ne Uganda 31,600,000/- ng’essira ligenda kuteekebwa ku kulambula abantu abali mu Ankole, okutereeza obukulembeze bw’e Mbale, Busoga ne Busia.

Ensimbi zino zisuubirwa okuva mu bintu eby’enjawulo okuli 4,500,000,000/- bazisuubira okuva ku buwumbi 172, Mmengo z’ebanja Gavumenti eya wakati ng’omwaka oguwedde yali esuubira okugisasulako obuwumbi bubiri wabula n’etezibawa.

Ebirala ebisuubirwa okuvaamu ssente y’envujjo, busuulu n’ekkanzu ku ttaka, obusuulu okuva mu bizimbe, ebyemizannyo, Bannamikago, ettoffaali, eky’oku nywa ky’Engule nga wano Nsibirwa yasabye Gavumenti esasuze kkampuni ezikola ebintu nga biva wano omusolo gwa kyenkanyi, eby’obulambuzi n’ebirala.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yasinzidde mu Lukiiko luno n’asaba Gavumenti okuggyawo omusolo oguyitiridde ku ‘Mobile Money’ ogusasuza abantu ku nsimbi z’ezimu eziwaanyisiganyiza emikono, emirundi esatu era kino olukiiko ne lukiyisa ng’ekiteeso. “Bingi ebituukiddwaako omwaka oguwedde nga biraga nti waliwo okugenda mu maaso.

Mu kiseera kino eky’ebijaguzo eby’emyaka 25 nga Kabaka Mutebi II ali ku Nnamulondo ya Buganda, nsaba abantu ba Buganda mwenna mulage amaanyi nga mwenyigira mu bikujjuko ate n’okujja mu bungi mu Lubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...