TOP
  • Home
  • Buganda
  • Ebyabadde mu nsisinkano ya Kabaka ne Sheikh Ndirangwa

Ebyabadde mu nsisinkano ya Kabaka ne Sheikh Ndirangwa

Added 8th October 2018

KABAKA Ronald Mutebi II asisinkanye Supreme Mufti Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa mu Lubiri e Mmengo ne boogera ku nsonga z’enkulaakulana n’okugatta abantu.

 (wakati) ng’ali ne Supreme Mufti Sheikh Ndirangwa (ku ddyo) eyamusisinkanye mu Lubiri e Mmengo. Ku kkono ye Sheikh Hamidu Kateregga akulira ebyeddiini e Kibuli.

(wakati) ng’ali ne Supreme Mufti Sheikh Ndirangwa (ku ddyo) eyamusisinkanye mu Lubiri e Mmengo. Ku kkono ye Sheikh Hamidu Kateregga akulira ebyeddiini e Kibuli.

Kabaka yasiimye enkola Ndirangwa gye yatandise ng'agenda akunga abantu ab’enzikiriza zonna okukolagana obulungi.

Ensisinkano eno yabaddewo wiiki ewedde era ensonda zaategeezezza nti Kabaka yagambye Ndirangwa ayongere n’amaanyi mu kukunga abantu ku nsonga z’okulwanyisa obwavu n’okuwa obubaka obuyamba mu nkulaakulana.

Ensisinkano eno eyabadde ey’ekyama kyategeerekese nti Kabaka yategeezezza Sheikh Ndirangwa nti kikulu abantu ab’enzikiriza ez’enjawulo okukolagana obulungi kubanga bonna bantu ba Katonda.

Ndirangwa yatandikawo enkola eno ng'agenda alambula amakanisa ne Klezia gy’asisinkanira abakulembeze b’enzikiriza zino ne babaako bye bateesaako.

Gye buvuddeko Ndirangwa yasisinkanye Dr. Yonna Lwanga owa Orthodox e Namungoona n’oluvannyuma n’akyalira ekkanisa ya St. Andrews e Kasubi.

Ssaabadinkoni Eric Kasule yasiimye enkola ya Ndirangwa gye yayogeddeko ng'egenda okuyamba okutandikawo essuula empya wakati w'Abasiraamu n'abantu ab’enzikiriza endala.

Ye Ndirangwa yagambye nti Abasiraamu n'Abakristu bonna bantu ba Katonda noolwekyo tebasaanidde kwawukana lwa buntu butono era n’abasaba okuba nga bannabbi.

Mu nteekateeka eno ey’okutalaaga amasinzizo ne poliisi, Ndirangwa awerekerwako bannakyewa b’Obusiraamu abakulemberwa Hajji Badru Sagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...