
Nabagereka ( ku kkono), Polof. Kagonyera ne Polof. Badru Kateregga ku mukolo.
Nnaabagereka yagambye nti ensangi zino abantu abayivu bangi baweddemu obuntubulamu n'okubulwa empisa ez'omu bantu n'agamba nti basaba ekisaakaate kibabangule.
"Okubeera omuyivu kirungi era kikulu, naye n'okubeera n'empisa ez'omu bantu kya makulu nnyo ensangi zino noolwekyo nkizudde ng'abantu baffe bangi beetaaga ekisaakaate basobole okubangulwa mu nsonga ezitali zimu," Nabagereka bwe yategeezezza.
Yagambye nti ekisaakaate tekigenda kusosola mu mawanga wabula kigenda kubeera kya buli muntu ayagala okubangulwa.
Ku ludda lw'abaatikkiddwa omwabadde abaafunye diguli esooka, eyookubiri ne dipulooma, Nnaabagereka yabakuutidde okufaayo okussa mu nkola ebibasomeseddwa basobole okutumbula eggwanga lyabwe.
Yasabye Gavumenti okuyamba ku matendekero g'obwannannyini ge yayogeddeko ng'agakoze omulimu omulungi eri abaana b'eggwanga era agasaana okukwatirwako mu byensimbi n'okugawa ettaka kwe gasobola okuzimba amatendekero amalala.
Akulira Yunivasite eno, Polof. Mondo Kagonyera yagambye nti aliwo abayizi bangi abagenda mu matendekero aga waggulu kyokka ne bavaayo nga tebalina kye bayizeeyo olw'okugulirira ebibuuzo.
"Abayizi bangi ensangi zino bafaayo nnyo okufuna obubonero obutali bwabwe okusinga okussaayo omwoyo kw'ebyo ebibasomesebwa bafune obwabwe obutuufu," Kagonyera bwe yagambye.
Polof. Ssaalongo Badru Kateregga omutandisi era omumyuka w'akulira Yunivasite eno yeebazizza Nnaabagereka olw'enteekateeka y'okutandika ekisaakaate ky'abakulu n'amusaba kitandikire ku Yunivasite ye era ne yeeyama okuyamba okulaba nga kitambula bulungi.
Kateregga yategeezezza nti gano ge matikira gaabwe ag'omulundi ogwe 16 ne yeebaza Katonda olw'obusobozi bw'abawadde okukuuma omutindo gwa Yunivasite n'okugigaziya.
Kateregga yagambye nti abayizi abaatikiddwa baabadde 3,352. Okusinziira ku Kateregga, abayizi 2,017 kw'abo abaatikiddwa babadde balenzi, ate abawala nga bali 1,335.
Nga bavudde mu Uganda, Tanzania, Kenya, Rwanda, Somalia, South Sudan n'awalala.
Ku bayizi ba Rwanda abataasobodde kubaawo olw'ensalo ezaggalwa, Kateregga yagambye nti tekyabalobedde kutikkirwa kubanga baabadde baateekeddwa dda mu katabo k'abalina okufuna diguli zaabwe ne dipulooma omwaka guno.