
Entaana omwaziikiddwa eyabadde omukulu w'ekika ky'e Nseenene eya fuuti 15, wano ng'Abataka basseeyo ku ddaala okumugalamiza obulungi
Bya Lilian Nalubega
Omutaka George Nsozi Kalibbala Kalibbala 62, abadde omukulu w'ekika ky'Enseenene yaziikiddwa ku butaka bw'ekika kino e Nsiisi mu Busujju Ssaabasajja Kabaka n'amutendereza olw'obujjumbize bw'abadde nabwo mu kuweereza Ekika kye n'Obwakabaka.
Obubaka bwa Ssaabasajja bwamusomeddwa minisita we ow'ensonga z'ebyobuwangwa, embiri n'ennono e Mmengo David Kyewalabye Male nga yayogedde ku mugenzi ng'abadde omujjumbize era akoze obuteebalira ng'aweereza Ekika kye ate nga ne mu nkiiko z'Abataka abadde teyeeganya bwatyo n'asaasira abazzukulu olw'okuviibwako Jjajjaabwe.

Kyewalabye nga tannasoma bubaka bwa Kabaka yasoose kuwabula Bakungubazi nti, Omutaka tafa oba okukisa omukono wabula ‘yeesittala n'agwa' ate nga ye Kabaka ‘akisa mukono' olwo Nnamasole n'ab'olulyo olulangira bo boogerwako nga ‘abaseerera'.
Abakulu b'ebika y'abakubirizza okuteekawo ennaku ez'okulamaganga ku butaka buli mwaka kyongere okusembeza abazzukulu ate nga n'oluusi Kabaka akyayinzanga okusiima n'alamaga ku butaka bw'aba asazeewo.
Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Busujju, Mark Jjingo Kaberenge II ye yasomye obubaka bwa Katikkiro ng'ono yajjukizza abantu nga Obuganda bwe bugenda nga buseeseetuka era n'abakubiriza okussa essira ku ntanda omutanda gy'abasibirira buli olukedde ng'ayagala beegatte nga bakola olw'okwekulaakulanya.

Sipiika w'olukiiko lwa Buganda, Nelson Kawalya yeebazizza abantu abaakoze okulaba nga Omutaka aziikibwa mu kitiibwa.
Okuziika
Ssentebe w'olukiiko olwategese okuziika Omutaka Kalibbala, Omutaka Patrick Kisekka Ddungu yagambye nti lwayise mu mitendera egy'ennono ng'omutaka yaziikiddwa mu mbugo 112
era nga omulambo gwe gwasituddwa ku kannyo akaawundiddwa obulungi n'embugo era nga baatindizze akagendo akawerako okutuuka gye yaziikiddwa.
Ab'emituba 12 nga bonna baabadde bambadde kkanzu enjeru nga beesibye ebimyu ate mu bigere nga tebambadde ngatto be baasitudde omufu.

Ku ntaana eyabadde eya ffuuti 15 baataddeyo ddaala okusobola okukkayo era nga bakira abantu abaakung'aanye okuziika basindikagana wakati mu kuyoogaana nga batya okugwaayo. Abataka ab'emituba basse mu ntaana okulinda omufu era nga waliwo abaalinnye ku ddaala ne ku bifunvu ebyalekeddwaamu okuyambako omufu okutuuka ku baabadde mu ntaana wansi obulungi.
omulambo baagussizza mu ntaana na nfuvu ezaabadde empanvu ddala kumpi ffuuti 40 buli limu, n'oluvannyuma ne babikka embugo endala ku mufu olwo ne balyoka bavaayo okuziika.

Enkola eno yawuniikirizza abantu bangi nga bakira balabwako nga bakwata ebigenda mu maaso ku masimu.
Okutuuza Omutaka Nsozi Kalibbala Adnan 4, ku bukulembeze
Lyabadde ssanyu wakati mu kukuba enduulu n'engalo ng'abazzukulu mu Kika ky'e Nseenene baayanirizza Jjajjaabwe omuggya, Omutaka Adnan Nsozi Kalibbala eyabalagiddwa amangu ng'omutaka George Nsozi aziikiddwa ku Lwokuna.

Abataka abakulu b'obusolya nga bakulembeddwa Omutaka Kayiira Gajuule beetabye ku mukolo guno era ne basumikira Omutaka okuba omukozi n'okwagala Kabaka we n'Ekika.