
Katikkiro Mayiga ng'akwasa aboogezi b'oku mikolo satifikeeti gye baaguze
Bya Lilian Nalubega
Abantu ba Kabaka okuva mu Ssaza ly'e Buluuli n'e Ssese bakiise embuga mu nkola ey'oluwalo lwange ne bawaayo ensimbi ezisobye mu 6,000,000/-.
Bano beegattiddwaako aba Toyota Uganda abaakulembeddwamu Joweria Butene abaawaddeyo ebyuma ebikebera obulwadde bwa siikoseero 200 bye baakwasizza Katikkiro Charles Peter Mayiga naye oluvannyuma eyabikwasizza aba Central Public Laboratories abakola omulimu guno.

Omukolo ogwabadde mu bimuli bya Bulange gwetabiddwaako aba Ssuubiryo Zambogo SACCO abaakulemberwamu Dr. Peter Kibuuka eyabuulidde abantu obukulu bw'okutereka ensimbi, abatuuze, okuva mu ggombolola Musaale. Wabinyonyi abaakulembeddwa Muky. Nankumba baawadde 2,000,000/-. Abalala baavudde mu Ggombolola Mumyuka Kakooge, mumyuka Nakasongola, aba ggombolola Kalongo, ne Ssaabaddu Nabiswera. Abalala kwabaddeko abakyala abeegattira mu kibiina kya Ffenna ku Nnaabagereka.
Abas Lunninze, omukubiriza w'olukiiko lw'Essaza Buluuli ku lwa Kimbugwe, yagumizza Katikkiro ng'ensi bw'esobola okuwakanya by'ayogera nti, kyokka tesobola kuwakanya bikolwa bye nga kino akyolekedde mw'ebyo by'akoze mu bbanga lye yaakamala ku bwa Katikkiro. Baamwanjuludde nga Kimbugwe bw'azimbye ofiisi ya mizigo esatu, bayingizza amazzi ag'emidumu mu Lubiri lwa Kabaka n'okulusibako bbugwe era ne beebaza Kabaka olw'okubasoosowaza n'abawa amazzi amayonjo.

Katikkiro ng'akwasa abakyala ba FFenna ku Nnaabagereka ekirabo
Katikkiro Charles Peter Mayiga yabakubirizza obutasuulirira bulimi bw'emmwaanyi n'ebitooke kubanga tewali mulimu gutali muzibu ng'abamu bwe batya obulimi.
Yasiimye abaami b'e Buluuli be yagambye nti, bamalirivu abatatya kutiisibwatiisibwa olw'ebyo bye bakoze okuteekawo ofiisi z'essaza e Buluuli kyokka n'abawa amagezi bakole bye bakkiririzaamu beewale ababasoomooza.
"Abantu mbagamba nti, Buganda lwazi ate teri kitakya..." Katikkiro bwe yagambye.
Yakyukidde aboogezi b'oku mikolo be yayise ababaka ba Buganda n'abakubiriza okunnyikiza empagi za Buganda kw'erina okutambulira nga balung'amya abantu ku mpisa zaabwe.