TOP

Mukulize abaana mu mpisa - Nnabagereka

Added 6th October 2019

NNAABAGEREKA Sylivia Nagginda asoomoozezza abazadde okukomya okwogera nti abaana babalemeredde wabula beenenye bokka.

  Nnaabagereka ng’atuuka ku Hotel Africana mu Kampala. Ku kkono ye Dr. Nankindu Kavuma n’abakungu abalala.

Nnaabagereka ng’atuuka ku Hotel Africana mu Kampala. Ku kkono ye Dr. Nankindu Kavuma n’abakungu abalala.

Bino yabyogeredde ku Hotel Africana ku Lwokutaano nga October 4, 2019 ku mukolo gw'okujjukira olunaku lw'omwana omuwala mu nsi yonna wansi w'omulamwa ogugamba nti "Okusibusa obuntubulamu ku lw'okukomya okufumbiza abaana abatanneetuuka."

"Omwana okukulemerera ebiseera ebisinga kiva ku butamuteekamu mpisa mu buto bwe.

Tugambibwa nti okuva omwana lw'azaalibwa okutuuka emyaka etaano, ekiseera ekyo kikulu nnyo okulaba nti abaana tubasigamu ensigo y'obuntubulamu.

Oluusi tutandika bamaze okusoma ne tugamba nti abaana bannemeredde ng'ate mu myaka we yali awulirira tewamukwatako," Nnaabagereka bwe yategeezezza.

Yeebazizza gavumenti olw'amateeka g'etaddewo okutumbula omwana wa Uganda n'agamba nti okwongera ku maanyi gano yasse omukago n'ekitongole kya World Vision okulaba nga bakuza abaana ab'omugaso eri eggwanga.

Minisita w'abakyala, ebintu ebigasiza awamu abantu ba Buganda ne ofiisi ya Nnaabagereka, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma yawadde amagezi abaana abavudde mu masomero ag'enjawulo mu disitulikiti mukaaga eza Buganda n'abalala nti basaanye okutegeezanga aboobuyinza mu bitundu byabwe bwe wabeerawo abantu abagezaako okusimira ettaka ku biruubirirwa byabwe .

Atwala ekitongole kya World Vision mu ggwanga, Jason Evans yategeezezza nti basanyufu okutta omukago n'ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation era bakimanyi nti obukulembeze bw'ennono bukola kinene mu kutumbula n'okugunjula empisa ennungi mu baana n'bantu.

Ate ye Kamiisona w'abaana mu minisitule y'ekikula ky'abantu n'enkulaakulana mu ggwanga, Fred Ngabirano yategeezezza nti, eggwanga lifiirwa obutitimbe bw'ensimbi olw'abaana abafumbirwa nga tebanneetuuka bwatyo n'asaba Nnaabagereka asiime bakwatagane bamalewo ekizibu kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...