TOP

Tugenda kulwanyisa ebiswaza obuwangwa

Added 7th October 2019

Abataka balemedde ku ky'okulwanyisa abaswaaza obuwangwa n'ennono bya Buganda naddala ku mikolo gy'okwanjula

Omutaka Kayiira Gajuule (owookubiri ku kkono) n'Abataka nga baliko bye bateesa mu lukiiko

Omutaka Kayiira Gajuule (owookubiri ku kkono) n'Abataka nga baliko bye bateesa mu lukiiko

Bya Lilian Nalubega

Abataka abakulu b'obusolya bongedde okuluma n'ogwa waggulu mu kaweefube waabwe okulaba nga baddamu okunnyikiza ennono mu bazzukulu.

Bano bategese omusomo ogw'omulundi ogwokuna ku nnono nga ku luno baakwetooloolera ku mulamwa ogugamba nti, ‘Amaka aganywedde gawa Buganda ekitiibwa'.

Omukubiriza w'olukiiko lw'Abataka, Omutaka Kayiira Gajuule era nga ye mukulu w'ekika ky'Embogo yagambye nti, newankubadde emyaka gigenda giyitawo nga n'emiramwa buli mwaka gikyuka si baakulagajjalira egyo egiba giyise era nga baakulondoola enneeyisa n'empisa z'abazzukulu okulaba nga bituukana n'ennono zaabwe.

 bataka oluvannyuma lwolukiiko lwabwe Abataka oluvannyuma lw'olukiiko lwabwe

 

"Okugeza twalina omulamwa ku kwanjula n'okwanjulwa era twawalirizibwa n'okuleeta abamu ku boogezi ku lukiiko lwaffe olutegeka n'okulondoola okukakasa nga wabaawo ebikyuka. Enkola ey'abako okuzibiza obudde ku buko, okuzinirayo n'abalala nga baali batuuse n'okwenywegererayo tusuubira nti, zigenda zikendeera," Omutaka Kayiira bwe yagambye.

Yakikkaatirizza nti, n'emiramwa emirala ng'okwabya ennyimbe egyayogerwako emabega girondoolwa.

Wassiddwaawo akakiiko akateekateeka omusomo guno nga kakulemberwa omutaka Kayiira Gajuule n'abalala okuli omutaka Kidimbo, Ssaababiito w'e Kibulala, Nankere, Muteesasira, muka Ssekabaka Kintu Sharifah Kirimuttu, Katikkiro wa Kisolo, Kireega, Muteesasira, Ssaalongo Kawuki, Sonko Kavi, Daniel Lutwama n'abalala.

Bano baakubiriziddwa okutegeka omusomo oguli ku mutendera ogwa waggulu era nga kw'olwo baakufulumya n'ekitabo ekigenda okulambika abantu ku nkola ey'okwanjula n'okwanjulwa ng'eno ye yali mu mulamwa ogw'omwaka oguwedde.

Omusomo gwakubeerawo nga October 18, 2019 mu Lubiri e Mmengo.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.