
Yoana Batista Sserwanja Ssemanobe bw'abadde afaanana
Bya Lilian Nalubega
Omutaka Yoana Batista Sserwanja Ssemanobe, afudde oluvannyuma lw'okulwalira ebbanga.
Ssemanobe n'ono y'akola emikolo egikulemberamu okutikkirwa kwa Kabaka e Naggalabi yafa ku Lwamukaaga lwa wiiki ewedde mu ddwaaliro e Nsambya gye yasoose okujjanjabirwa obulwadde bwa sukaali ne puleesa.

Omutaka Kimbowa Mukalazi nga n'ono y'omu ku bakola emikolo egy'enjawulo yategeezezza nti, Ssemanobe eyafudde ku myaka 85, ye yakola emikolo ku Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwe yali atikkirwa e Naggalabi.
Omulambo gw'omugenzi gukyakuumirwa mu ddwaaliro e Nsambya okutuusa ku Lwokutaano lwe gujja okuggyibwayo gutwalibwe mu makaage e Buddo - Naggalabi wabeerewo okusabira omugenzi ku olwo.
Mu kiseera kino abakungubazi bakumye olumbe mu maka g'omugenzi e Naggalabi era Obwakabaka akadde konna bwa kwanjulira Obuganda enteekateeka z'okuziika omugenzi mu bujjuvu.