TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Mmamba banjulidde Katikkiro Mayiga Ssemanobe omuggya

Ab'e Mmamba banjulidde Katikkiro Mayiga Ssemanobe omuggya

Added 11th October 2019

Gabunga n'ab'ekika ky'emmamba banjulidde Katikkiro Peter Mayiga Ssemanobe omuggya mu Bulange e Mmengo n'abakuutira okukuuma ennono

 Ssemanobe Paul Kizito omuggya ne lubuga we Rose Nakkazi abaayanjuliddwa Kaikkiro Mayiga

Ssemanobe Paul Kizito omuggya ne lubuga we Rose Nakkazi abaayanjuliddwa Kaikkiro Mayiga

Bya Lilian Nalubega

Omutaka Zziikwa Mubiru Gabunga ayanjulidde Katikkiro Charles Peter Mayiga Omutaka Ssemanobe omuggya Paul Kizito ng'ono y'azze mu bigere by'omugenzi Yoana Batista Sserwanja Ssemanobe eyaseerera ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde.

Omukolo guno gwabadde mu Bulange e Mmengo oluvannyuma lw'abataka mu kika ky'e Mmamba nga bakulemberwamu ow'essiga Kaggwe e Buggwe okukola emikolo gyonna emitongole ku mutaka ono e Buddo Naggalabi era n'atuuzibwa.

 mutaka abunga ngayanjulira atikkiro ayiga semanobe omuggya aul izito e mengo Omutaka Gabunga ng'ayanjulira Katikkiro Mayiga, Ssemanobe omuggya Paul Kizito e Mmengo

 

Gabunga yategeezezza Katikkiro Mayiga nti, nga ekika baayise mu nnono okutuuza Ssemanobe Paul Kizito nga kati ye Ssemanobe owa 26, era ng'obuvunaanyizibwa bwe kwe kukuuma olusozi Naggalabi Buddo ate n'okutuukiriza emikolo egy'ennono egimuvunaanyizibwako. Era ne bamuteerako ne Rose Nakkazi okuba lubuga we.

"Emikolo gyonna n'okuwabulwa mu ngeri ey'enjawulo tubikoze nga minisita ow'ennono Kyewalabye Male atulung'amya era yatukakasizza nga Ssemanobe omugenzi bw'alina okuziikibwa mu nkola ey'ennono eyasalibwawo okuziikibwamu abataka nga naffe gye tugoberera kati," Omutaka Zziikwa Mubiru Gabunga bwe yagambye.

 atikkiro ayiga ku kkono ngabuuza omutaka aggwe eyatuuzizza semanobe Katikkiro Mayiga (ku kkono) ng'abuuza omutaka Kaggwe eyatuuzizza Ssemanobe

 

Katikkiro Mayiga ng'ayogera yagambye nti, obuvunaanyizibwa bw'omutaka Ssemanobe tebukoma ku kukola mikolo ku Mulangira alya eng'oma wabula n'okukuuma embuga Naggalabi nga ssinga n'abaasooka baagiragajjalira nga n'omugenzi Sserwanja kw'ali ekitiibwa kyalwo n'amakulu g'omukolo guno tebyandibaddewo.

"Wadde nga waaliwo abaagezaako okunyaga Naggalabi, tukimanyi nti, omugenzi Sserwanja Ssemanobe abadde musajja muvumu era omukozi ng'alwaniridde ettaka lino okulaba nga ne kaakati weeriri. Ekikulu kaakati si matikkira gokka kubanga tomanyi na ddi lwe gagenda kuddamu kubeerawo wabula okulabirira olusozi olwo," Mayiga bwe yakkaatirizza.

 atikkiro ayiga nganyumyamu nabemmamba abaawerekedde semanobe ku ulange e mengo Katikkiro Mayiga ng'anyumyamu n'ab'emmamba abaawerekedde Ssemanobe ku Bulange e Mmengo

 

Yabakalaatidde okukuuma ennono y'obusika gye yagambye nti, ya nnono okukira endala nga eno era y'etulung'amya ne mukumanya eby'edda olwo ne tumanya ne we tuyimiridde.

Yayongedde n'akalaatira Ssemanobe okukola ebikolwa ebirungi ng'atuukiriza ebikolwa ebirungi asobole okunaazaako abantu be amaziga.

 abunga ku ddyo katikkiro we ne semanobe omuggya ku kkono nga bawuliriza atikkiro Gabunga (ku ddyo), katikkiro we ne Ssemanobe omuggya (ku kkono) nga bawuliriza Katikkiro

 

" Oyo lubuga akuweereddwa ye muwi w'amagezi asooka, noolwekyo mwebuuzeeko era tobangako ky'okola nga tomwebuuzizzaako," Katikkiro bwe yakkaatirizza.

Paul Kizito Ssemanobe owa 26 mutabani w'Omutaka Vincent Kiwanuka n'omukyala Jane Naggujja ab'e Buddo. Yazaalibwa nga October 16, 1969 nga kati wa myaka 50.

 bamu ku bataka bebika ebyenjawulo abaawerekeddeko omutaka abunga e mengo Abamu ku bataka b'ebika eby'enjawulo abaawerekeddeko omutaka Gabunga e Mmengo

 

Amaziga gaweddewo ke tufunye Ssemanobe

Agnes Nambalirwa: Tuli basanyufu era kati amaziga gaweddewo tufunye omutaka ali mu nnono ate gwe tusuubira okukola n'amaanyi kubanga akyali muvubuka.

 gnes ambalirwa Agnes Nambalirwa

 

Hajji Ismael Nsubuga Nsambu: Ekifo omutaka Kizito ky'atuuziddwaamu kikulu mu kika ate ne mu Buganda okutwalira awamu noolwekyo alina kutandikira ku kukuuma obutaka obumukwasiddwa eby'abasika ebikyase nga batunda ebya bannaabwe abyewale.

 smael subuga Ismael Nsubuga

 

Margaret Nakyondwa: Kya kitiibwa okubeera ku mukolo nga guno kubanga ebikoleddwa mbadde sibirabangako ate ne ntuuka n'ewa Katikkiro ne Ndaba omutaka ayanjulwa atya embuga. Ng'enda kubinyumiza abatabaddeewo ate n'abaana bange.

argaret akyondwaMargaret Nakyondwa

 

Joy Namutebi Mukalazi: Omutaka mbaddewo ng'atuuzibwa era ayisiddwa mu nnono awatali kusika mugwa noolwekyo nsaba abali mu nnono okukola ebibasuubirwamu.

 oy amutebi alanzi Joy Namutebi Mukalazi

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...