TOP

Abakulembeze b'Abalokole basisinkanye Katikkiro

Added 11th October 2019

Abalokole abeegattira mu kibiina kya National Fellowship of Born Again Pentecostal Churches in Uganda basisinkanye Katikkiro Mayiga ne bamusaba abalambike ennono w'ekoma ku busamize

 Omusumba Joshua Lwere ng'alaga Katikkiro Mayiga obukulembeze bwabwe bwe butambula

Omusumba Joshua Lwere ng'alaga Katikkiro Mayiga obukulembeze bwabwe bwe butambula

Bya Lilian Nalubega

Abasumba b'abalokole abeegattira mu kibiina kya National Fellowship of Born Again Pentecostal Churches in Uganda basisinkanye katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ne bamutegeeza nga bwe bali abantu abalafuubanira enkulaakulana mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu nga noolwekyo baagala nkolagana eya nnamaddala n'Obwakabaka.

Bano baakulembeddwaamu Ssaabalabirizi Joshua Lwere ng'ensisinkano eno yabadde mu Bulange e Mmengo.

 basumba bwe baabadde basaba nga tebannatandika kwogeramu ne atikkiro ayiga wakati Abasumba bwe baabadde basaba nga tebannatandika kwogeramu ne Katikkiro Mayiga (wakati)

 

Kino kyaddiridde Omulabirizi wa Southern Region, Leonard Sserwadda okusisinkana Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi bwe yali mu ssaza lye e Buddu gye buvuddeko n'amubuuza ku ngeri omuntu gy'ayinza okwawula wakati w'abalokole abatuufu n'abatali, engeri gye balina okulung'amyamu abavubuka abangi be balina mu kkanisa zaabwe ate era n'abategeeza nga bw'ayagala okubamanya obulungi.

Kabaka yalagidde Katikkiro Mayiga okuwuliriza ensonga zaabwe era nga baamunnyonnyodde nga bwe bali abantu abatambulira ku mateeka, abalina obukulembeze obulung'amu era abalina ebigendererwa ebyesigamiziddwa ku nkulaakulana n'okusibusa obuntubulamu mu bantu.

Ssaabalabirizi Lwere yayanjulidde Katikkiro nga bwe balina pulojekiti ennyingi ze bakola omuli obulimi n'obulunzi eziruubirira okuggya abantu mu bwavu, era nti balafuubanira okusibusa empisa mu bantu ate n'okufuba okumalawo obuli bw'enguzi mu bantu n'okubangawo enkolagana ne bannabyabufuzi eneemalawo embeera embi mu buweereza bwabwe.

Katikkiro Mayiga yagambye nti, Kabaka taliiko nzikiriza gye yalagira esibirwe ebweru era n'abategeeza nti, Obwakabaka tebulina mutawaana nabo kasita baba nga bawa Kabaka ekitiibwa.

 atikkiro ayiga nganyumyamu nabagenyi be oluvannyuma lwensisinkano Katikkiro Mayiga ng'anyumyamu n'abagenyi be oluvannyuma lw'ensisinkano

 

Yabasabye okukubiriza abavubuka okukola bave mu kulera engalo babaggyemu n'endowooza egamba nti, ekizibu okigonjoola na kusaba kwokka nga tebakoze.

Yabakubirizza era bongere okulung'amya bannabyabufuzi okukomya embeera ey'okugwang'ana mu bulago wabula bayige okutegeeragana.

Ku ky'okutyoboola ennono, Katikkiro yabasabye okumanya obukulu bw'okwabya ennyimbe n'okukuuma ennono nti kubanga kikulu nga ssinga bityoboolwa n'eggwanga lidda emabega.

Wabula nabo baamutegeezezza nga bwe bamanyi obukulu bw'ennono kyokka nga baagala kumanya ennono w'ekoma ku busamize n'ebikolwa bya sitaani.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...