
Abayizi nga basanyusa abaabadewo nga batwala oluwalo lwabwe ku Bulange
Bya Lilian Nalubega
Katikkiro Charles Peter Mayiga atikkudde amasomero oluwalo n'asaba abasomesa okuyigiriza abayizi be basomesa okwekkiririzaamu ate n'okufaayo okubeera ab'obuvunaanyizibwa mu biseera byabwe eby'omu maaso.
"Nga tulafuubanira okuzza Buganda ku ntikko, tulina okuba n'omusingi omugumu nga tutandikira mu baana bano emiti emito," Katikkiro Mayiga bwe yagambye. Yategeezezza nti, tetusobola kutwala Buganda ku ntikko nga abaana balaba abakola ebitali bya buntubulamu nga bavunaanibwa eno bali mu ssanyu.
Yagambye nti, buvunaanyizibwa bwa buli muntu okuzza Buganda ku ntikko n'abawa ekyokulabirako eky'omu maka gye bava n'engeri gye bawaamu bakadde baabwe ekitiibwa.

Yabakubirizza okwewala okukwatibwa akawuka ka siriimu era n'asaba abasomesa okubamanyisa akabi akali mu kwetaba mu bikolwa eby'obulabe gye bali.
Yabasabye okweggyamu ensonyi ezibafuula ebisekererwa nga bakuze n'ayogera ku ngeri abaana gye bayigamu emize egy'obulabe omuli okwelowoozaako bokka n'obukenuzi n'ategeeza nti, obwanga abagunjuzi b'emiti emito balina kubutunuuliza ku ngeri ya kubutangira okubasensera.
Abakola ebigezo abazadde n'abasomesa yabakubirizza obutayamba baana be basomesa okukoppa ate abayizi n'abasaba okweggyamu emize egyo basobole okusoma obulungi ate babeere ab'omugaso gye bujja.
Yeebazizza bannannyini masomero okuleeta abaana okumanya ebifa e Mmengo gye yagambye nti, y'ensibuko yaabwe.

Minisita w'ebyenjigiriza e Mmengo, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma abakulira amasomero, abayizi, abasomesa n'abazadde yabasabye bulijjo okuwagira enteekateeka z'Obwakabaka ate n'okussa mu nkola eky'okubangula abaana mu nnono zaabwe.
Amasomero ag'enjawulo ge gaawaddeyo oluwalo nga ku gano St. Janan Schools amatabi aga Kabalagala ne Bbombo gaawaddeyo 12,000,000/-, ate aba Mumyuka Wakiso ne bawaayo 1,500,000/- okuwagira enteekateeka z'Obwakabaka.