
John Musiitwa omutongole wa Kabaka ku kizinga ky'e Nkose e Kalangala
Bya Lilian Nalubega
Omwami wa Kabaka mu muluka gw'e Buggala e Kalangala yennyamidde olw'abavubi ku kizinga kino b'agamba nti bali ku ttaka lya Kabaka kyokka nga tebasobola kuwagira nteekateeka ze ezibangibwawo okutwala Buganda mu maaso.
John Musiitwa, omutongole ow'omuluka gw'e Buggala ku kizinga e Nkose mu Kalangala yagambye nti abantu mu kitundu kino naddala abatali baganda bangi era nga enfuna yaabwe nnungi bw'ogeraageranya ku bantu abali ku lukalu kyokka tebajjumbira nteekateeka ezikolebwa okutwala ekitundu kyabwe mu maaso.
"Omuluka guno gukolebwa ebizinga 12, nga ku bino tumanyi bulungi nti ekizinga Kakyungwa ne Bukwiri eryo ttaka lya Kabaka lye tumanyi ffe obulungi ate erisigadde Gavumenti etugamba nti lya bibira kyokka kyennyamiza okulaba ng'abali ku ttaka lino buli omu akola kwebeezaawo awatali kulowooza ku kutwala kitundu mu maaso.
Ate era enfunda nnyingi tusabye Mmengo naddala ekitongole kya Kabaka ekya Buganda Land Board okutuyamba kyerule empenda z'ettaka lya Kabaka ku bizinga bino 12 ng'abakulembeze tumanye bulungi obuvunaanyizibwa bwaffe we bukoma era n'okukola enteekateeka ennung'amu eri abantu baffe.
Tumanyi bulungi nti, tusobola okubaako enkulaakulana gye tuteekawo n'eyamba abantu ababeera mu kitundu ate ne Buganda okutwalira awamu," Musiitwa bwe yagambye.
Yanokoddeyo ekizibu kye yagambye nti, kinyiga abantu kumpi mu bizinga 12 eky'okuba nga tebalina ddwaaliro lya gavumenti ng'abantu basanga obuzibu okutindigga eng'endo okutuuka awayinza okufunirwa obujjanjabi.
"Bw'oba tolina lyato n'olwala oba n'olwaza kikwetaagisa okuba ne 15,000/- okusasula entambula ku lyato erikuggya ku kizinga ekimu okugenda ku kirala ate bw'osanga nga gaawummudde oba nga si biseera byago bya kutambula obeerawo n'obulwadde bwo era tofuna bujjanjabi.
"Abantu bangi bafa olw'obutaba na malwaliro kumpi ate abakyala nabo bangi bazaalira mu bamulerwa n'abamu ne bafiirwa obulamu," Musiitwa bwe yagambye.
Yakubirizza abatuuze mu kitundu kino okukuuma omutindo gw'obuyonjo n'okwewala ebikolwa ebiyinza okubaleetera akawuka ka siriimu.