Ennyumba ezimbibwa ku butaka bw'ekika ky'eng'onge e Bweza mu Busujju
Bya Lilian Nalubega
Mu kaweefube wa Ssaabasajja ow'okulambula Obutaka bw'ebika eby'enjawulo mu Masaza gy'aba asiimye okulabikako, ebika ebisibuka mu Busujju biri mu keetalo okulaba nga bibaako enteekateeka ey'enjawulo gye biteekawo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II w'anaagendera asange nga byetegese.
Omwami wa Kabaka atwala essaza lino, Mark Jjingo Kaberenge II yategeezezza nti Ssaabasajja waakulabikako mu Busujju nga November 23, omwaka guno Obwakabaka bwe bunaaba bukuza olunaku lw'Abavubuka olwa buli mwaka.

Omutaka Kayiira Gajuule
Ebimu ku bikolebwa mu Ssaza mu kiseera kino kwe kuzimba ofiisi y'Essaza ekizimbe ekyali kyatandikibwako emyaka mingi emabega, n'okuzimba ekisaawe ky'Essaza ku mbuga y'e Ggombolola y'e Maanyi n'okuzzaawo ebibira ebyatemwa mu Ssaza nga baakusookera ku mbuga z'Ebika.
Bukedde yatuuseeko ku mbuga y'Ekika ky'e Ngonge mu Busujju ng'eno Omutaka Mathias Kaboggoza Muwanga Weesizeeki Kinkumu Kitumba Kisolo Ssebyoto 37, twamusanze ali mu keetalo okuyooyoota embuga ye.
Yagambye nti, essira kati asinze kulissa ku kulaba ng'amaliriza ennyumba y'Obutaka gye yagambye nti okusinziira ku nteekateeka eyakolebwa amanyi nti bw'eneeba ewedde yaakusitula omutindo gw'Obutaka.

Omutaka Mathias Kaboggoza Kisolo awazimbibwa ennyumba y'ekika kye
"Ffe tetunnategeezebwa kyokka tutya okutusanga nga tetwetegese, tulina okulindirira omugole n'ettaala zaffe nga zijjudde amafuta aleme okutuyitako," Kisolo bwe yagambye.
Okulambula kwa Kabaka kwa makulu era kuyamba abazzukulu okumanya ensibuko zaabwe era abangi bakwatibwako ne bakwasizaako bajjajjaabwe Abataka ate era n'okukulaakulanya ekitundu nga bakola n'okulongoosa mu nkola eya Bulungibwansi.
"Abazzukulu mbakubiriza nti, mu kaweefube ono tulina kukwatira wamu newankubadde nga tetunnamanya ddi Ssaabasajja Kabaka lw'agenda kutulambula kyokka tulina kukakasa nti embuga yaffe ebeera eky'okulabirako eri abalala.

Omwami wa Kabaka ow'essaza Busujju, Mark Jjingo Kaberenge II
Twetaaga ensimbi enkalu n'ebikozesebwa kubanga tulina okuzimba okumaliriza ennyumba y'Obutaka egenda mu maaso kyokka nga tulina n'okuzimba ekigango, enju z'abaweereza, ate tusseewo ne pulojekiti ezitali zimu.
Omukubiriza w'olukiiko lw'Abataka, Omutaka Kayiira Gajuule yagambye nti mu kiseera kino embuga z'ebika yonna gye ziri zirina kuba nga ziyooyootebwa okukuuma ekitiibwa ky'obutaka.