
Bakatikkiro b'ebika mu lukiiko lwe baabaddemu
Bya Lilian Nalubega
Bakatikkiro b'ebika mu Buganda balayidde nga bwe batagenda kusirika busirisi ng'ebika byabwe byongera okusereba ne bategeeza nti, kino ky'ekiseera okwegatta basalire wamu amagezi okubitumbula.
Baabadde mu lukiiko lwabwe olwa buli mwezi olwatudde mu kigo ky'ekika ky'Effumbe ku luguudo Kabakanjagala ku Lwokusatu.

Ssentebe w'olukiiko luno, Omutaka Patrick Kisekka Ddungu yagambye nti nga bakatikkiro b'ebika abamanyiddwa obulungi nga balina okussa mu nkola ebikolebwa mu bika kuba gye bakoma okugayaala n'ebika bye bakulembera bizing'ama.
"Tulina kuba bumu, tukolere wamu era tufube okulaba ng'ebika byaffe bitambulira ku musingi gwe gumu. Tekiggya kukola makulu ng'ekika ekimu kigenda mu maaso kyokka ekirala nga kisigalira ate ng'ebika bye bikola Obuganda," Kisekka bwe yagambye. Yakubirizza bakatikkiro okujjumbira enteekateeka z'olukiiko olubagatta eziruubirira okusitula embeera zaabwe ng'abantu ate n'ebika.

Mu lukiiko lwe lumu bakatikkiro bakubye ttooci mu kibiina kyabwe eky'okuwola n'okutereka kye baatandikawo ekya Bataka Abaagalana Sacco ne bategeeza nti bakatikkiro bangi balemye okumanya amakulu gaakyo era ssentebe waabwe Kisekka n'abasaba okujjumbira okweterekera n'okwewola beekulaakulanye.
Katikkiro w'ekika ky'e Ngeye, Omutaka Ssebunnya Bbunwe mu lukiiko luno mwe yaweeredde bakatikkiro banne amagezi buli omu okukunga bakatikkiro b'amasiga, emituba, ennyiriri, n'abazzukulu abalala mu bika okwegatta ku Sacco eno eyagunjibwawo n'ekigendererwa ekigatta ebika.